-
Eby’Abaleevi 27:11, 12Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
11 Bw’eneebanga ensolo etali nnongoofu+ etakkirizibwa kuweebwayo nga ssaddaaka eri Yakuwa, anaagiyimirizanga mu maaso ga kabona. 12 Kabona anaabaliriranga omuwendo ogugigyaamu ng’asinziira ku bulungi bwayo oba obubi bwayo. Eneebanga ya muwendo ogwo kabona gw’agibaliriddemu.
-
-
Eby’Abaleevi 27:18Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
18 Naye bw’anaawangayo ettaka lye oluvannyuma lwa Jjubiri, kabona anaabaliriranga omuwendo oguligyaamu ng’asinziira ku myaka eginaabanga gisigaddeyo okutuuka ku mwaka gwa Jjubiri oguddako; omuwendo omugereke gunaakendeezebwangako.+
-