-
Okubala 28:6, 7Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
6 Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku,+ ekiweebwayo okuba evvumbe eddungi* ekyalagirwa ku Lusozi Sinaayi, ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro, 7 awamu n’ekiweebwayo eky’eby’okunywa ekigenderako, nga kimu kya kuna ekya yini ku buli ndiga ento ennume.+ Eky’okunywa eky’omwenge ojja kukiyiwa mu kifo ekitukuvu okuba ekiweebwayo eri Yakuwa eky’eby’okunywa.
-