-
Okubala 4:31, 32Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
31 Bino bye balinanga okusitula+ mu buweereza bwabwe obukwata ku weema ey’okusisinkaniramu: fuleemu+ za weema entukuvu, emiti+ gyayo, empagi+ zaayo, obutoffaali bwayo obulimu ebituli,+ 32 empagi+ ez’oluggya olwetooloddewo, obutoffaali+ bwazo obulimu ebituli, enninga+ zaazo, emiguwa gyazo, ne byonna ebikozesebwa ku bintu bino, ne byonna ebikwata ku buweereza buno. Buli omu ojja kumuwanga ebintu by’alina okusitula.
-