-
Okuva 37:25, 26Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
25 Awo n’akola ekyoto eky’obubaani+ mu mbaawo z’omuti gwa sita. Enjuyi zaakyo ennya zaali zenkanankana; obuwanvu yali omukono gumu, obugazi omukono gumu, n’obugulumivu emikono ebiri. Amayembe gaakyo gaali ga muti gumu nakyo.+ 26 Yakibikkako zzaabu omulongoofu kungulu ne ku njuyi zaakyo zonna ne ku mayembe gaakyo, era yakissaako omuge ogwa zzaabu.
-