-
Okubala 3:30, 31Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
30 Omwami w’ennyumba ya bakitaabwe b’empya z’Abakokasi yali Erizafani mutabani wa Wuziyeeri.+ 31 Baalina obuvunaanyizibwa obw’okulabirira Essanduuko,+ n’emmeeza,+ n’ekikondo ky’ettaala,+ n’ebyoto,+ n’ebintu+ ebikozesebwa mu kuweereza mu kifo ekitukuvu, n’olutimbe,+ n’emirimu gyonna egikwata ku bintu ebyo.+
-
-
Okubala 4:15Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
15 “Alooni ne batabani be bajja kumalirizanga okubikka ku kifo ekitukuvu+ ne ku bintu byonna eby’omu kifo ekitukuvu ng’abantu basitula okugenda, era oluvannyuma abaana ba Kokasi bajja kujjanga babisitule,+ naye tebakwatanga ku kifo ekitukuvu baleme okufa.+ Abaana ba Kokasi be balina obuvunaanyizibwa obw’okusitula ebintu ebyo ebya weema ey’okusisinkaniramu.
-