-
Yeremiya 34:2, 3Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
2 “Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba, ‘Genda ogambe Kabaka Zeddeekiya+ owa Yuda nti: “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Ŋŋenda kuwaayo ekibuga kino mu mukono gwa kabaka wa Babulooni, era ajja kukyokya omuliro.+ 3 Tojja kusimattuka mu mukono gwe, kubanga ojja kukwatibwa oweebweyo gy’ali.+ Ojja kulaba kabaka wa Babulooni maaso ku maaso, naye ajja kwogera naawe maaso ku maaso, era ojja kugenda e Babulooni.’+
-
-
Yeremiya 37:8Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
8 era Abakaludaaya bajja kukomawo balwanyise ekibuga kino, bakiwambe, era bakyokye omuliro.”+
-