10 Awo Baluki n’asoma mu muzingo ebigambo bya Yeremiya ng’abantu bonna bawulira. Yabisoma mu ddoboozi ery’omwanguka mu nnyumba ya Yakuwa, mu kisenge kya Gemaliya+ mutabani wa Safani+ omukoppolozi, mu luggya olw’eky’engulu awayingirirwa ku mulyango omuggya ogw’ennyumba ya Yakuwa.+