LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Yeremiya 25:17
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 17 Awo ne nzigya ekikopo mu mukono gwa Yakuwa ne nnywesa amawanga gonna Yakuwa gye yantuma,+

  • Yeremiya 25:19
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 19 oluvannyuma nnanywesa Falaawo kabaka wa Misiri n’abaweereza be, abaami be, n’abantu be bonna,+

  • Yeremiya 46:13
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 13 Bino bye bigambo Yakuwa bye yagamba nnabbi Yeremiya ebikwata ku kujja kwa Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni okulumba ensi ya Misiri:+

  • Ezeekyeri 29:19
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 19 “Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba, ‘Nebukadduneeza* kabaka wa Babulooni+ ŋŋenda kumuwa ensi ya Misiri, era ajja kutwala eby’obugagga byayo era agiggyemu omunyago mungi; ebyo bye bijja okuba empeera y’eggye lye.’

  • Ezeekyeri 30:4
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    •  4 Misiri ejja kulumbibwa n’ekitala, era Esiyopiya ejja kutya nnyo abantu bwe banattibwa mu Misiri;

      Obugagga bwayo butwaliddwa, era emisingi gyayo gimenyeddwa.+

  • Ezeekyeri 30:18
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 18 Ekizikiza kijja kukwata mu Tapanesi bwe nnaamenyerayo ebikoligo bya Misiri,+ era amaanyi Misiri ge yeenyumiririzaamu gajja kuggwaawo.+ Ebire bijja kubikka Tapanesi, era abantu abali mu bubuga bwakyo bajja kutwalibwa mu buwambe.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share