LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Yeremiya 28
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Yeremiya ne nnabbi ow’obulimba Kananiya (1-17)

Yeremiya 28:1

Marginal References

  • +2Sk 24:17; 2By 36:10
  • +Yos 11:19; 2Sa 21:2

Yeremiya 28:2

Marginal References

  • +Yer 27:4, 8

Yeremiya 28:3

Footnotes

  • *

    Oba, “lubiri lwa.”

Marginal References

  • +2Sk 24:11, 13; Yer 27:16; Dan 1:2

Yeremiya 28:4

Marginal References

  • +2Sk 24:8; 25:27; Yer 37:1
  • +2Sk 23:36; 24:6
  • +2Sk 24:12, 14; Yer 24:1

Yeremiya 28:6

Footnotes

  • *

    Obut., “myaka gy’ennaku.”

Yeremiya 28:10

Marginal References

  • +Yer 27:2

Yeremiya 28:11

Marginal References

  • +Yer 28:4

Yeremiya 28:13

Marginal References

  • +Yer 27:2

Yeremiya 28:14

Marginal References

  • +Ma 28:48; Yer 5:19
  • +Yer 27:6; Dan 2:37, 38

Yeremiya 28:15

Marginal References

  • +Yer 28:1
  • +Yer 14:14; 23:21; 27:15; Ezk 13:3

Yeremiya 28:16

Marginal References

  • +Ma 13:5; 18:20; Yer 29:32

General

Yer. 28:12Sk 24:17; 2By 36:10
Yer. 28:1Yos 11:19; 2Sa 21:2
Yer. 28:2Yer 27:4, 8
Yer. 28:32Sk 24:11, 13; Yer 27:16; Dan 1:2
Yer. 28:42Sk 24:8; 25:27; Yer 37:1
Yer. 28:42Sk 23:36; 24:6
Yer. 28:42Sk 24:12, 14; Yer 24:1
Yer. 28:10Yer 27:2
Yer. 28:11Yer 28:4
Yer. 28:13Yer 27:2
Yer. 28:14Ma 28:48; Yer 5:19
Yer. 28:14Yer 27:6; Dan 2:37, 38
Yer. 28:15Yer 28:1
Yer. 28:15Yer 14:14; 23:21; 27:15; Ezk 13:3
Yer. 28:16Ma 13:5; 18:20; Yer 29:32
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Yeremiya 28:1-17

Yeremiya

28 Mu mwaka ogwo gwennyini, ku ntandikwa y’obufuzi bwa Kabaka Zeddeekiya+ owa Yuda, mu mwaka ogw’okuna, mu mwezi ogw’okutaano, nnabbi Kananiya mutabani wa Azzuli ow’e Gibiyoni+ yayogera nange mu nnyumba ya Yakuwa mu maaso ga bakabona n’abantu bonna, n’aŋŋamba nti: 2 “Bw’ati Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, bw’agamba, ‘Nja kumenya ekikoligo kya kabaka wa Babulooni.+ 3 Mu bbanga lya myaka* ebiri, nja kukomyawo mu kifo kino ebintu byonna eby’omu nnyumba ya Yakuwa, Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni bye yaggya mu kifo kino n’abitwala e Babulooni.’”+ 4 “‘Ate era nja kukomyawo mu kifo kino Kabaka Yekoniya+ owa Yuda, mutabani wa Yekoyakimu,+ n’ab’omu Yuda bonna abaatwalibwa mu buwaŋŋanguse e Babulooni,’+ Yakuwa bw’agamba, ‘kubanga ŋŋenda kumenya ekikoligo kya kabaka wa Babulooni.’”

5 Awo nnabbi Yeremiya n’ayogera ne nnabbi Kananiya mu maaso ga bakabona n’abantu bonna abaali bayimiridde mu nnyumba ya Yakuwa. 6 Nnabbi n’agamba nti: “Amiina!* Yakuwa k’akole bw’atyo! Yakuwa k’atuukirize ebigambo by’oyogedde akomyewo okuva e Babulooni ebintu by’omu nnyumba ya Yakuwa n’ab’omu Yuda bonna abaawaŋŋangusibwa! 7 Kyokka wulira obubaka buno bwe nkutegeeza ggwe n’abantu bonna. 8 Edda ennyo bannabbi abaatuusookawo nze naawe, baalagulanga ku nsi nnyingi ne ku bwakabaka obw’amaanyi ebikwata ku ntalo, obutyabaga, n’endwadde. 9 Singa nnabbi alagula nti wajja kubaawo emirembe era ekigambo kya nnabbi oyo ne kituukirira, olwo kimanyibwa nti Yakuwa ye yatuma nnabbi oyo.”

10 Awo nnabbi Kananiya n’aggya ekikoligo ku nsingo ya nnabbi Yeremiya n’akimenya.+ 11 Kananiya n’ayogera mu maaso g’abantu bonna nti: “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Mu bbanga lya myaka ebiri, bwe ntyo bwe nja okuggya ekikoligo kya Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni ku nsingo z’amawanga gonna nkimenye.’”+ Awo nnabbi Yeremiya n’avaawo n’agenda.

12 Nnabbi Kananiya bwe yamala okuggya ekikoligo ku nsingo ya nnabbi Yeremiya n’akimenya, Yakuwa n’agamba Yeremiya nti: 13 “Genda ogambe Kananiya nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Omenye ekikoligo eky’omuti+ naye mu kifo kyakyo ojja kukola ekikoligo eky’ekyuma.” 14 Kubanga bw’ati Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, bw’agamba: “Nja kuteeka ekikoligo eky’ekyuma ku nsingo y’amawanga gano gonna gaweereze Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni, era gateekwa okumuweereza.+ N’ensolo ez’omu nsiko nja kuzimuwa.”’”+

15 Awo nnabbi Yeremiya n’agamba nnabbi Kananiya+ nti: “Wuliriza ggwe Kananiya! Yakuwa si y’akutumye, naye oleetedde abantu bano okwesiga eby’obulimba.+ 16 Kale bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Laba! Ŋŋenda kukuggya ku nsi. Omwaka guno ogenda kufa, kubanga okubirizza abantu okujeemera Yakuwa.’”+

17 Bw’atyo nnabbi Kananiya n’afa mu mwaka ogwo, mu mwezi ogw’omusanvu.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share