Yoswa
4 Eggwanga lyonna olwamala okusomoka Yoludaani, Yakuwa n’agamba Yoswa nti: 2 “Londa abasajja 12 okuva mu bantu, omusajja omu omu okuva mu buli kika,+ 3 obalagire nti, ‘Mulonde amayinja 12 mu makkati ga Yoludaani, mu kifo bakabona we baabadde bayimiridde,+ mugatwale mugateeke mu kifo kye munaasulamu ekiro kya leero.’”+
4 Awo Yoswa n’ayita abasajja 12 be yali alonze mu Bayisirayiri, omusajja omu omu okuva mu buli kika, 5 n’abagamba nti: “Mugende mu maaso g’Essanduuko ya Yakuwa Katonda wammwe wakati mu Yoludaani, era buli omu ku mmwe asitule ejjinja ku kibegaabega kye, ng’omuwendo gw’ebika by’Abayisirayiri bwe guli, 6 gabe akabonero mu mmwe. Abaana* bammwe bwe bababuuzanga mu biseera eby’omu maaso nti, ‘Lwaki mwateeka wano amayinja gano?’+ 7 mubagambanga nti: ‘Amayinja gano kijjukizo kya lubeerera eri abantu ba Isirayiri,+ kubanga amazzi ga Yoludaani gaalekera awo okukulukuta mu maaso g’essanduuko+ ey’endagaano ya Yakuwa. Essanduuko y’endagaano bwe yali ng’esomosebwa, Omugga Yoludaani gwalekera awo okukulukuta.’”
8 Awo abaana ba Isirayiri ne bakolera ddala nga Yoswa bwe yabalagira. Baalonda amayinja 12 wakati mu Yoludaani, ng’omuwendo gw’ebika by’Abayisirayiri bwe gwali, nga Yakuwa bwe yali agambye Yoswa. Baagatwala ne bagateeka mu kifo we baali bagenda okusula.
9 Yoswa era yateeka amayinja 12 wakati mu Yoludaani, mu kifo bakabona abaali basitudde essanduuko y’endagaano we baayimirira,+ era gakyaliwo n’okutuusa leero.
10 Era bakabona abaali basitudde Essanduuko baasigala bayimiridde wakati mu Yoludaani okutuusa byonna lwe byamala okukolebwa Yakuwa bye yali alagidde Yoswa okugamba abantu okukola, okutuukana n’ebyo byonna Musa bye yali alagidde Yoswa. Mu kiseera ekyo abantu baali banguwa okusomoka. 11 Abantu bonna bwe baamala okusomoka, bakabona ne basomoka n’Essanduuko ya Yakuwa ng’abantu balaba.+ 12 Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ab’ekika kya Manase baakulemberamu Abayisirayiri nga balinga eggye eryetegekedde olutalo,+ nga Musa bwe yali abalagidde.+ 13 Abasirikale nga 40,000 abaalina eby’okulwanyisa baasomoka mu maaso ga Yakuwa ne batuuka mu ddungu lya Yeriko.
14 Ku lunaku olwo, Yakuwa yagulumiza Yoswa mu maaso g’Abayisirayiri bonna,+ era baamussangamu nnyo ekitiibwa* ekiseera kyonna eky’obulamu bwe, nga bwe bassanga ekitiibwa mu Musa.+
15 Awo Yakuwa n’agamba Yoswa nti: 16 “Lagira bakabona abeetisse essanduuko+ ey’Obujulirwa bave mu Yoludaani.” 17 Awo Yoswa n’alagira bakabona nti: “Muve mu Yoludaani.” 18 Bakabona abaali beetisse essanduuko+ y’endagaano ya Yakuwa bwe baava wakati mu Yoludaani ne balinnya ku lukalu, amazzi ga Yoludaani ne gaddamu okukulukuta era ne ganjaala+ nga bwe kyabanga.
19 Abantu baava mu Yoludaani ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi ogw’olubereberye, ne basiisira e Girugaali+ ku nsalo ya Yeriko ey’ebuvanjuba.
20 Amayinja 12 ge baggya mu Yoludaani, Yoswa yagasimba e Girugaali.+ 21 Awo n’agamba Abayisirayiri nti: “Mu biseera eby’omu maaso, abaana bammwe bwe bababuuzanga nti, ‘Amayinja gano gategeeza ki?’+ 22 Mubagambanga nti, ‘Abayisirayiri baasomoka Omugga Yoludaani nga balinga abayita ku lukalu+ 23 Yakuwa Katonda wammwe bwe yakaliza amazzi g’Omugga Yoludaani basobole okugusomoka, nga Yakuwa Katonda wammwe bwe yakola ku Nnyanja Emmyufu, bwe yagikaliza tusobole okugisomoka.+ 24 Yakikola amawanga gonna mu nsi galyoke gamanye nti omukono gwa Yakuwa gwa maanyi,+ era mulyoke mutyenga Yakuwa Katonda wammwe.’”