LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Zabbuli 89
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Okuyimba ku kwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka

        • Endagaano ne Dawudi (3)

        • Ezzadde lya Dawudi lya kuwangaala emirembe gyonna (4)

        • Eyafukibwako amafuta ayita Katonda ‘Kitaawe’ (26)

        • Endagaano ya Dawudi ejja kunywezebwa (34-37)

        • Omuntu tayinza kusimattuka magombe (48)

Zabbuli 89:obugambo obuli waggulu

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

Marginal References

  • +1Sk 4:30, 31; 1By 2:6

Zabbuli 89:2

Footnotes

  • *

    Oba, “kubeerawo.”

Marginal References

  • +1By 16:41; Is 54:10

Zabbuli 89:3

Marginal References

  • +2Sa 7:8; 1Sk 8:16; Luk 1:32, 33
  • +Zb 132:11; Ezk 34:23; Kos 3:5; Yok 7:42

Zabbuli 89:4

Marginal References

  • +1By 17:11; Kub 22:16
  • +2Sa 7:12, 13; Beb 1:8

Zabbuli 89:6

Marginal References

  • +Zb 40:5; 71:19
  • +Yob 38:7

Zabbuli 89:7

Footnotes

  • *

    Oba, “mu lukuŋŋaana.”

Marginal References

  • +Is 6:2, 3
  • +Dan 7:9, 10

Zabbuli 89:8

Marginal References

  • +1Sa 2:2; Zb 84:12
  • +Ma 32:4

Zabbuli 89:9

Marginal References

  • +Yer 31:35
  • +Zb 65:7; 107:29

Zabbuli 89:10

Marginal References

  • +Is 30:7
  • +Kuv 14:26; 15:4
  • +Kuv 3:20; Ma 4:34; Luk 1:51

Zabbuli 89:11

Marginal References

  • +1Ko 10:26
  • +1By 29:11; Zb 50:12

Zabbuli 89:12

Marginal References

  • +Yos 19:22, 23
  • +Ma 3:8; Yos 12:1

Zabbuli 89:13

Marginal References

  • +Kuv 6:6
  • +Kuv 13:3
  • +Zb 44:3

Zabbuli 89:14

Marginal References

  • +Ma 32:4; Zb 71:19; Kub 15:3
  • +Kuv 34:6; Yer 9:24

Zabbuli 89:15

Marginal References

  • +Kbl 10:10; Zb 98:6

Zabbuli 89:17

Footnotes

  • *

    Obut., “Ejjembe lyaffe ligulumizibwa.”

Marginal References

  • +Zb 28:7
  • +1Sa 2:10

Zabbuli 89:18

Marginal References

  • +Zb 2:6

Zabbuli 89:19

Marginal References

  • +1Sa 18:14
  • +2Sa 7:8

Zabbuli 89:20

Marginal References

  • +Bik 13:22
  • +1Sa 16:12, 13; Bik 10:38

Zabbuli 89:21

Marginal References

  • +Zb 80:17; Is 42:1

Zabbuli 89:22

Marginal References

  • +1By 17:9

Zabbuli 89:23

Marginal References

  • +2Sa 3:1; 7:9
  • +Zb 110:1

Zabbuli 89:24

Footnotes

  • *

    Obut., “Era ejjembe lye lijja.”

Marginal References

  • +2Sa 7:15; 1By 17:13; Bik 13:34

Zabbuli 89:25

Footnotes

  • *

    Oba, “obuyinza bwe.”

Marginal References

  • +1Sk 4:21; Zb 72:8

Zabbuli 89:26

Marginal References

  • +2Sa 22:47; Zb 18:2

Zabbuli 89:27

Marginal References

  • +Zb 2:7; Beb 1:5
  • +1Ti 6:15; Kub 1:5; 19:16

Zabbuli 89:28

Marginal References

  • +Bik 13:34
  • +2Sa 23:5; Zb 89:34

Zabbuli 89:29

Marginal References

  • +Is 9:7; Yer 33:17; Beb 1:8

Zabbuli 89:32

Marginal References

  • +2Sa 7:14; 1Sk 11:14, 31

Zabbuli 89:33

Marginal References

  • +2Sa 7:15; 1Sk 11:32, 36

Zabbuli 89:34

Marginal References

  • +Yer 33:20, 21
  • +Yak 1:17

Zabbuli 89:35

Marginal References

  • +Kbl 23:19; Zb 132:11

Zabbuli 89:36

Marginal References

  • +2Sa 7:16, 17; Zb 72:17; Is 11:1; Yer 23:5; Yok 12:34; Kub 22:16
  • +Dan 7:14; Luk 1:32, 33

Zabbuli 89:38

Marginal References

  • +1By 28:9

Zabbuli 89:41

Marginal References

  • +Ma 28:37

Zabbuli 89:42

Footnotes

  • *

    Obut., “Owanise omukono gw’abalabe be ogwa ddyo.”

Marginal References

  • +Ma 28:25

Zabbuli 89:46

Marginal References

  • +Zb 13:1

Zabbuli 89:47

Marginal References

  • +Yob 7:7; Zb 39:5

Zabbuli 89:48

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

Marginal References

  • +Yob 30:23; Zb 49:7, 9

Zabbuli 89:49

Marginal References

  • +2Sa 7:12-15; Zb 132:11; Is 55:3

Zabbuli 89:50

Footnotes

  • *

    Obut., “engeri gye nsitulira mu kifuba kyange.”

Zabbuli 89:52

Marginal References

  • +Zb 41:13; 72:18

General

Zab. 89:obugambo obuli waggulu1Sk 4:30, 31; 1By 2:6
Zab. 89:21By 16:41; Is 54:10
Zab. 89:32Sa 7:8; 1Sk 8:16; Luk 1:32, 33
Zab. 89:3Zb 132:11; Ezk 34:23; Kos 3:5; Yok 7:42
Zab. 89:41By 17:11; Kub 22:16
Zab. 89:42Sa 7:12, 13; Beb 1:8
Zab. 89:6Zb 40:5; 71:19
Zab. 89:6Yob 38:7
Zab. 89:7Is 6:2, 3
Zab. 89:7Dan 7:9, 10
Zab. 89:81Sa 2:2; Zb 84:12
Zab. 89:8Ma 32:4
Zab. 89:9Yer 31:35
Zab. 89:9Zb 65:7; 107:29
Zab. 89:10Is 30:7
Zab. 89:10Kuv 14:26; 15:4
Zab. 89:10Kuv 3:20; Ma 4:34; Luk 1:51
Zab. 89:111Ko 10:26
Zab. 89:111By 29:11; Zb 50:12
Zab. 89:12Yos 19:22, 23
Zab. 89:12Ma 3:8; Yos 12:1
Zab. 89:13Kuv 6:6
Zab. 89:13Kuv 13:3
Zab. 89:13Zb 44:3
Zab. 89:14Ma 32:4; Zb 71:19; Kub 15:3
Zab. 89:14Kuv 34:6; Yer 9:24
Zab. 89:15Kbl 10:10; Zb 98:6
Zab. 89:17Zb 28:7
Zab. 89:171Sa 2:10
Zab. 89:18Zb 2:6
Zab. 89:191Sa 18:14
Zab. 89:192Sa 7:8
Zab. 89:20Bik 13:22
Zab. 89:201Sa 16:12, 13; Bik 10:38
Zab. 89:21Zb 80:17; Is 42:1
Zab. 89:221By 17:9
Zab. 89:232Sa 3:1; 7:9
Zab. 89:23Zb 110:1
Zab. 89:242Sa 7:15; 1By 17:13; Bik 13:34
Zab. 89:251Sk 4:21; Zb 72:8
Zab. 89:262Sa 22:47; Zb 18:2
Zab. 89:27Zb 2:7; Beb 1:5
Zab. 89:271Ti 6:15; Kub 1:5; 19:16
Zab. 89:28Bik 13:34
Zab. 89:282Sa 23:5; Zb 89:34
Zab. 89:29Is 9:7; Yer 33:17; Beb 1:8
Zab. 89:322Sa 7:14; 1Sk 11:14, 31
Zab. 89:332Sa 7:15; 1Sk 11:32, 36
Zab. 89:34Yer 33:20, 21
Zab. 89:34Yak 1:17
Zab. 89:35Kbl 23:19; Zb 132:11
Zab. 89:362Sa 7:16, 17; Zb 72:17; Is 11:1; Yer 23:5; Yok 12:34; Kub 22:16
Zab. 89:36Dan 7:14; Luk 1:32, 33
Zab. 89:381By 28:9
Zab. 89:41Ma 28:37
Zab. 89:42Ma 28:25
Zab. 89:46Zb 13:1
Zab. 89:47Yob 7:7; Zb 39:5
Zab. 89:48Yob 30:23; Zb 49:7, 9
Zab. 89:492Sa 7:12-15; Zb 132:11; Is 55:3
Zab. 89:52Zb 41:13; 72:18
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
  • 35
  • 36
  • 37
  • 38
  • 39
  • 40
  • 41
  • 42
  • 43
  • 44
  • 45
  • 46
  • 47
  • 48
  • 49
  • 50
  • 51
  • 52
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Zabbuli 89:1-52

Zabbuli

Masukiri.* Zabbuli ya Esani+ Omwezera.

89 Nnaayimbanga emirembe n’emirembe ku ngeri Yakuwa gy’alagamu okwagala okutajjulukuka.

Akamwa kange kanaamanyisanga obwesigwa bwo eri abantu b’emirembe gyonna.

 2 Kubanga ŋŋambye nti: “Okwagala okutajjulukuka kujja kuzimbibwa* emirembe gyonna;+

Onywezezza obwesigwa bwo mu ggulu.”

 3 Wagamba nti: “Nkoze endagaano n’oyo gwe nnalonda;+

Ndayiridde Dawudi omuweereza wange nti:+

 4 ‘Nja kunyweza ezzadde+ lyo emirembe n’emirembe,

Era nja kunyweza entebe yo ey’obwakabaka emirembe gyonna.’”+ (Seera)

 5 Eggulu litendereza ebyamagero byo, Ai Yakuwa,

Ekibiina ky’abatukuvu kitendereza obwesigwa bwo.

 6 Ani mu ggulu ayinza okugeraageranyizibwa ku Yakuwa?+

Ani mu baana ba Katonda+ alinga Yakuwa?

 7 Katonda atiibwa mu lukiiko* lw’abatukuvu;+

Wa kitiibwa era wa ntiisa eri abo bonna abamwetoolodde.+

 8 Ai Yakuwa Katonda ow’eggye,

Ani akwenkana amaanyi, Ai Ya?+

Obwesigwa bwo bukwetoolodde.+

 9 Ofuga obusungu bw’ennyanja;+

Amayengo gaayo bwe gatumbiira ogakkakkanya.+

10 Ofufuggazza Lakabu+ n’aba ng’omuntu attiddwa.+

Osaasaanyizza abalabe bo n’omukono gwo ogw’amaanyi.+

11 Eggulu liryo n’ensi yiyo;+

Ettaka ne byonna ebiririko+ ggwe wabikola.

12 Ggwe watonda obukiikakkono n’obukiikaddyo;

Taboli+ ne Kerumooni+ zitendereza erinnya lyo n’essanyu.

13 Omukono gwo gwa maanyi;+

Engalo zo zirina amaanyi;+

Omukono gwo ogwa ddyo gugulumiziddwa.+

14 Obutuukirivu n’obwenkanya gye misingi gy’entebe yo ey’obwakabaka;+

Okwagala okutajjulukuka n’obwesigwa biyimirira mu maaso go.+

15 Balina essanyu abo abamanyi okukuba emizira.+

Ai Yakuwa, batambulira mu kitangaala ky’amaaso go.

16 Basanyuka okuzibya obudde olw’erinnya lyo,

Era bagulumizibwa mu butuukirivu bwo.

17 Kubanga ggwe kitiibwa ky’amaanyi gaabwe,+

Era amaanyi gaffe gagulumizibwa* olw’okusiima kwo.+

18 Yakuwa ye nnannyini ngabo yaffe,

Omutukuvu wa Isirayiri ye nnannyini kabaka waffe.+

19 Mu kiseera ekyo, ng’oyitira mu kwolesebwa, wagamba abo abeesigwa gy’oli nti:

“Ow’amaanyi mmuwadde amaanyi;+

Ngulumizza oyo eyalondebwa mu bantu.+

20 Nzudde Dawudi omuweereza wange;+

Mmufuseeko amafuta gange amatukuvu.+

21 Engalo zange zijja kumuwanirira,+

Era omukono gwange gujja kumuwa amaanyi.

22 Tewali mulabe anaamuggyako musolo,

Era tewali muntu atali mutuukirivu anaamubonyaabonya.+

23 Nja kubetenta abalabe be mbaggye mu maaso ge,+

Era nja kutta abo abatamwagala.+

24 Obwesigwa bwange n’okwagala kwange okutajjulukuka biri naye,+

Era amaanyi ge gajja* kugulumizibwa mu linnya lyange.

25 Nja kuteeka omukono gwe* ku nnyanja,

N’omukono gwe ogwa ddyo ku migga.+

26 Ajja kunkoowoolanga nti: ‘Ggwe Kitange,

Katonda wange, Olwazi olw’obulokozi bwange.’+

27 Nja kumufuula omwana omubereberye,+

Asinga bakabaka b’ensi.+

28 Nja kumulaga okwagala kwange okutajjulukuka emirembe n’emirembe,+

N’endagaano gye nnakola naye terigwa butaka.+

29 Nja kunyweza ezzadde lye emirembe n’emirembe,

Era entebe ye ey’obwakabaka nja kugiwangaaza ng’eggulu.+

30 Abaana be bwe banaalekanga amateeka gange

Era ne batatambula nga bwe mbalagira,

31 Bwe banaamenyanga amateeka gange

Era ne batakwata biragiro byange,

32 Obujeemu bwabwe nja kububonerezanga n’omuggo+

Era nja kubonerezanga ensobi zaabwe nga nzikuba emiggo.

33 Naye sirirekayo kumulaga kwagala kwange okutajjulukuka,+

Era sirirema kutuukiriza kye nnasuubiza.

34 Sirimenya ndagaano yange,+

Wadde okukyusa ekyo emimwa gyange kye gyayogera.+

35 Mu butukuvu bwange ndayidde lumu ne mmala,

Dawudi sirimulimba.+

36 Ezzadde lye linaabeerawo emirembe n’emirembe;+

Entebe ye ey’obwakabaka enaawangaala ng’enjuba mu maaso gange.+

37 Ejja kunywezebwa emirembe n’emirembe ng’omwezi,

Ng’omujulirwa omwesigwa ali ku ggulu.” (Seera)

38 Naye omusudde eri era omwesambye;+

Osunguwalidde oyo gwe wafukako amafuta.

39 Olese endagaano gye wakola n’omuweereza wo;

Ojolonze engule ye n’ogisuula ku ttaka.

40 Omenye bbugwe we yenna ow’amayinja;

Ebigo bye obifudde bifunfugu.

41 Abayitawo bonna bamunyaga;

Afuuse kivume eri baliraanwa be.+

42 Abalabe be obawadde obuwanguzi;*+

Abamukyawa bonna obaleetedde okusanyuka.

43 Ozzizza emabega ekitala kye,

Tomuganyizza kuwangula lutalo.

44 Ekitiibwa kye okikomezza,

Era entebe ye ey’obwakabaka ogisudde wansi.

45 Okendeezezza ennaku z’obuvubuka bwe;

Omwambazza obuswavu. (Seera)

46 Ai Yakuwa, onootuusa wa okwekweka? Oneekweka mirembe na mirembe?+

Obusungu bwo buneeyongera okubuubuuka ng’omuliro?

47 Jjukira nti obulamu bwange bumpi!+

Abantu bonna wabatondera bwereere?

48 Waliwo omuntu omulamu ataliraba kufa?+

Asobola okwetaasa amaanyi g’amagombe?* (Seera)

49 Ebikolwa byo eby’edda eby’okwagala okutajjulukuka biruwa, Ai Yakuwa,

Bye walayirira Dawudi mu bwesigwa bwo?+

50 Jjukira, Ai Yakuwa, ebivumo bye bavuma abaweereza bo;

Jjukira engeri gye ngumira* ebivumo by’amawanga gonna;

51 Engeri abalabe bo gye boogedde obubi ku oyo gwe wafukako amafuta, Ai Yakuwa;

Engeri gye boogedde obubi ku ebyo byonna by’akoze.

52 Yakuwa atenderezebwe emirembe n’emirembe. Amiina era Amiina.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share