LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Zabbuli 38
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Essaala y’oyo eyeenenyezza ensobi ze

        • “Nnina ennyiike era ndi mwennyamivu nnyo” (6)

        • Yakuwa awulira abo abamulindirira (15)

        • “Ekibi kyange kyali kinneeraliikiriza” (18)

Zabbuli 38:1

Marginal References

  • +Yer 10:24

Zabbuli 38:2

Marginal References

  • +Zb 32:4

Zabbuli 38:3

Footnotes

  • *

    Obut., “Tewali kitundu kyonna kiramu mu mubiri gwange.”

Marginal References

  • +Zb 6:2; 41:4; 51:8

Zabbuli 38:4

Marginal References

  • +Ezr 9:6; Zb 40:12

Zabbuli 38:7

Footnotes

  • *

    Obut., “Ekiwato kyange kyonna kyokerera.”

Marginal References

  • +Zb 38:3

Zabbuli 38:8

Footnotes

  • *

    Oba, “Mpuluguma.”

Zabbuli 38:10

Marginal References

  • +Zb 6:7

Zabbuli 38:12

Marginal References

  • +2Sa 16:7; Zb 62:4

Zabbuli 38:13

Marginal References

  • +2Sa 16:11
  • +Zb 39:2, 9

Zabbuli 38:15

Marginal References

  • +2Sa 16:12; Zb 123:2
  • +Zb 138:3

Zabbuli 38:17

Marginal References

  • +Zb 77:2

Zabbuli 38:18

Marginal References

  • +Zb 32:5
  • +Zb 51:3

Zabbuli 38:19

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “Abo abampalana awatali nsonga bangi.”

Zabbuli 38:21

Marginal References

  • +Zb 22:11; 35:22

Zabbuli 38:22

Marginal References

  • +Zb 27:1; 62:2; Is 12:2

General

Zab. 38:1Yer 10:24
Zab. 38:2Zb 32:4
Zab. 38:3Zb 6:2; 41:4; 51:8
Zab. 38:4Ezr 9:6; Zb 40:12
Zab. 38:7Zb 38:3
Zab. 38:10Zb 6:7
Zab. 38:122Sa 16:7; Zb 62:4
Zab. 38:132Sa 16:11
Zab. 38:13Zb 39:2, 9
Zab. 38:152Sa 16:12; Zb 123:2
Zab. 38:15Zb 138:3
Zab. 38:17Zb 77:2
Zab. 38:18Zb 32:5
Zab. 38:18Zb 51:3
Zab. 38:21Zb 22:11; 35:22
Zab. 38:22Zb 27:1; 62:2; Is 12:2
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Zabbuli 38:1-22

Zabbuli

Zabbuli ya Dawudi; ya kujjukiza.

38 Ai Yakuwa, tonnenya ng’oli musunguwavu,

Era tongolola ng’oliko ekiruyi.+

 2 Obusaale bwo bunfumitidde ddala munda,

Era omukono gwo gunnyigiriza.+

 3 Omubiri gwange gwonna gulwadde* olw’obusungu bwo.

Mu magumba gange temuli mirembe olw’ekibi kyange.+

 4 Ensobi zange zeetuumye ku mutwe gwange;+

Ziringa omugugu omuzito, siyinza kuzeetikka.

 5 Ebiwundu byange biwunya era bitanye

Olw’obusirusiru bwange.

 6 Nnina ennyiike era ndi mwennyamivu nnyo;

Mbeera munakuwavu okuzibya obudde.

 7 Munda yange mwokya;*

Omubiri gwange gwonna gulwadde.+

 8 Nsannyaladde era mmenyesemenyese;

Nsinda* olw’obulumi obw’omu mutima gwange.

 9 Ai Yakuwa, byonna bye njagala biri mu maaso go,

Era okusinda kwange tekukukwekeddwa.

10 Omutima gwange gukuba nnyo era amaanyi gampeddemu.

Ekitangaala ky’amaaso gange kiweddewo.+

11 Bannange ne mikwano gyange banneewala olw’ekirwadde kye nnina,

Era banywanyi bange tebasembera we ndi.

12 Abo abanoonya obulamu bwange bantega emitego,

Abo abaagala okunkola ekikyamu boogera eby’akabi;+

Boogera eby’obulimba okuzibya obudde.

13 Naye okufaananako kiggala, siwuliriza;+

Okufaananako omuntu atayogera, siyasamya kamwa kange.+

14 Nfuuse ng’omuntu atawulira,

Atalina ky’asobola kwogera okwewozaako.

15 Ai Yakuwa, ggwe gwe nnalindirira,+

Era wanziramu, Ai Yakuwa Katonda wange.+

16 Kubanga nnagamba nti: “Ka baleme kusanyukira nnaku yange

Wadde okunneekulumbalizaako ng’ekigere kyange kiseeredde.”

17 Nnabulako katono okugwa,

Era nnalinga mu bulumi ekiseera kyonna.+

18 Nnayatula ensobi yange;+

Ekibi kyange kyali kinneeraliikiriza.+

19 Abalabe bange balamu era ba maanyi,*

Abo abankyawa awatali nsonga beeyongedde obungi.

20 Mu birungi bansasulamu bibi;

Bafuuse balabe bange olw’okuba nkola ebirungi.

21 Tonjabulira Ai Yakuwa.

Ai Katonda, tombeera wala.+

22 Yanguwa onnyambe,

Ai Yakuwa, obulokozi bwange.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share