Ekyamateeka
20 “Bw’ogendanga mu lutalo okulwana n’abalabe bo n’olaba nga bakusinza embalaasi n’amagaali g’olutalo, n’abasirikale, tobatyanga, kubanga Yakuwa Katonda wo eyakuggya mu nsi ya Misiri ali wamu naawe.+ 2 Bwe munaabanga munaatera okutandika okulwana, kabona anaasemberanga n’ayogera eri abantu.+ 3 Anaabagambanga nti, ‘Wulira ggwe Isirayiri, munaatera okutandika okulwana n’abalabe bammwe. Temutenguka mitima. Temubatya era temutekemuka wadde okukankana, 4 kubanga Yakuwa Katonda wammwe agenda nammwe okulwanyisa abalabe bammwe era abalokole mmwe.’+
5 “Abaami nabo banaayogeranga eri abantu ne babagamba nti, ‘Ani ku mmwe azimbye ennyumba naye nga tannagiyingira mu butongole? Addeyo ewuwe; si kulwa ng’afiira mu lutalo omulala n’agiyingira mu butongole. 6 Ani ku mmwe eyasimba ennimiro y’emizabbibu naye nga tannakungula ku bibala byamu? Addeyo ewuwe; si kulwa ng’afiira mu lutalo omulala n’abikungula. 7 Ani ku mmwe ayogereza omukazi naye nga tannamuwasa? Addeyo ewuwe;+ si kulwa ng’afiira mu lutalo omulala n’amuwasa.’ 8 Era abaami banaabuuzanga abantu nti, ‘Ani ku mmwe atidde era atekemuse?+ Addeyo ewuwe aleme kuleetera baganda be kutya nga ye bw’atidde.’*+ 9 Abaami bwe banaamalanga okwogera eri abantu, banaalondanga abakulu b’eggye okukulembera abantu.
10 “Bw’onoosembereranga ekibuga okulwana nakyo, onookibuuliranga by’onoosinziirangako okuba mu mirembe nakyo.+ 11 Bwe kinaakuddangamu mu ngeri eraga nti kyagala okuba mu mirembe naawe era ne kikuggulirawo enzigi zaakyo, abantu bonna abanaakibangamu banaabanga babo; onoobakozesanga emirimu egy’obuddu era banaakuweerezanga.+ 12 Naye bwe kinaagaananga okuba mu mirembe naawe, era ne kisalawo okulwana naawe, okizingizanga. 13 Yakuwa Katonda wo alikiwaayo mu mukono gwo era ottanga n’ekitala buli musajja akirimu. 14 Naye abakazi n’abaana n’ensolo ne byonna ebinaabeeranga mu kibuga, omunyago gwakyo gwonna, onoobyetwaliranga;+ era onoolyanga omunyago gw’abalabe bo Yakuwa Katonda wo b’anaabanga akugabudde.+
15 “Bw’otyo bw’onookolanga ebibuga byonna ebikuli ewala ennyo ebitali bibuga bya mawanga gano agakuli okumpi. 16 Naye mu bibuga by’amawanga gano Yakuwa Katonda wo by’akuwa ng’obusika, tolekangamu kiramu na kimu ekissa omukka,+ 17 wabula ozikiririzanga ddala Abakiiti, n’Abaamoli, n’Abakanani, n’Abaperizi, n’Abakiivi, n’Abayebusi,+ nga Yakuwa Katonda wo bw’akulagidde; 18 baleme okubayigiriza okukola ebintu byabwe byonna eby’omuzizo bye bakolera bakatonda baabwe, ne mwonoona mu maaso ga Yakuwa Katonda wammwe.+
19 “Bw’onoozingizanga ekibuga osobole okukiwamba era ng’obadde okirwanyisa okumala ennaku nnyingi, emiti gyakyo togigaluliranga mbazzi n’ogisaanyaawo. Onoogiryangako naye togitemanga.+ Omuti gw’oku ttale muntu olyoke oguzingize? 20 Omuti gwokka gw’omanyi nti teguliibwako bibala gw’onoosaanyangawo; onoogutemanga n’okola ekikomera ku kibuga ekirwana naawe, okutuusa lw’onookiwamba.