LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g16 Na. 2 lup. 3-7
  • Bayibuli Kitabo Butabo Ekirungi?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bayibuli Kitabo Butabo Ekirungi?
  • Zuukuka!—2016
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Bayibuli Etuyamba Okumanya Engeri y’Okweyisaamu n’Okuba n’Enkolagana Ennungi ne Katonda
  • Bayibuli Eraga Ensonga Lwaki Abantu Babonaabona
  • Bayibuli Etuwa Essuubi
  • Tusobola Okwesiga Amagezi Bayibuli g’Ewa ku Kituufu n’Ekikyamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2024
  • Ekitabo Ekibikkula Okumanya Okukwata ku Katonda
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
  • Ddala Amawulire Amalungi Gava eri Katonda?
    Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
Zuukuka!—2016
g16 Na. 2 lup. 3-7
Omusajja ng’asoma Bayibuli

OMUTWE OGULI KUNGULU

Bayibuli Kitabo Butabo Ekirungi?

Bayibuli yamalirizibwa okuwandiikibwa emyaka nga 2,000 emabega. Okuva olwo wabaddewo ebitabo ebirala bingi ebizze biwandiikibwa naye ne biva ku mulembe oba ne bisaanawo. Naye si bwe kibadde ku Bayibuli. Lowooza ku bino wammanga.

  • Wabaddewo abantu bangi ab’amaanyi abafubye okulaba nti Bayibuli esaanawo. Ng’ekyokulabirako, ekitabo ekiyitibwa An Introduction to the Medieval Bible kigamba nti wakati w’ekyasa ekya 13 ne 15, mu nsi ezimu omuli abantu abangi abeeyita Abakristaayo, “kyali kitwalibwa ng’ekivve okusoma oba okubeera ne Bayibuli eri mu lulimi lwonna olwogerwa abantu aba bulijjo.” Abantu abavvuunulanga Bayibuli mu nnimi ezoogerwa abantu aba bulijjo oba abo abaakubirizanga abantu okusoma Bayibuli baateekanga obulamu bwabwe mu kabi era abamu battibwa.

  • Wadde nga Bayibuli ebadde n’abalabe bangi, kye kitabo ekisinze okusaasaana mu bantu mu byafaayo byonna. Bayibuli ng’obuwumbi butaano ze zaakakubibwa mu nnimi ezisukka mu 2,800. Mu butuufu, Bayibuli eyawukana nnyo ku bitabo ebirala, gamba ng’eby’obufirosoofo, ebya ssaayansi, n’ebirala, ebitasaasaana nnyo mu bantu era ebiva amangu ku mulembe.

  • Bayibuli ekoze kinene nnyo mu kukuuma ennimi ezimu mw’evvuunuddwa era n’okuyamba ennimi ezimu okukula. Enzivvuunula ya Bayibuli eya Martin Luther ey’Olugirimaani yakola kinene nnyo mu kuzimba olulimi Olugirimaani. Kigambibwa nti enzivuunula ya Bayibuli eyitibwa King James eyasooka “eyinza okuba nga kye kitabo ekikyasinzeeyo okuyamba mu kuzimba” olulimi Olungereza.

  • Bayibuli “erina kinene nnyo ky’ekoze ku mbeera z’abantu b’omu Bulaaya n’Amerika, ku nzikiriza n’empisa zaabwe, ku bitabo byabwe, ku mateeka gaabwe, ku by’obufuzi byabwe, ne ku bintu ebirala bingi.”​—The Oxford Encyclopedia of the Books of the Bible.

Ebyo bye bimu ku bintu ebifuula Bayibuli okuba ekitabo eky’enjawulo ennyo. Naye lwaki abantu bangi bettanira Bayibuli? Lwaki abantu bangi batadde obulamu bwabwe mu kabi olwa Bayibuli? Ezimu ku nsonga lwaki kiri kityo ze zino: Bayibuli erimu amagezi amalungi agatuyamba okumanya engeri y’okweyisaamu n’okufuna enkolagana ennungi ne Katonda. Bayibuli era etuyamba okumanya ensonga lwaki abantu babonaabona. Ate era Bayibuli esuubiza nti ebizibu byonna bijja kuggwaawo era n’eraga n’engeri gye bijja okuggwaawo.

MANYA NA BINO

Bayibuli embikkule

Bayibuli erimu ebitabo 66 era yawandiikibwa mu bbanga lya myaka nga 1,600.

Katonda yakozesa abantu nga 40 okuwandiika Bayibuli, nga mu bano mwalimu abalimi, abavubi, abalamuzi, bakabaka, n’abayimbi.

Ensonga enkulu Bayibuli gy’eyogerako ekwata ku Bwakabaka bwa Katonda, ng’eno gavumenti ey’omu ggulu ejja okufuga ensi. (Danyeri 2:44; 7:13, 14) Obwakabaka obwo bujja kumalawo ebintu ebibi byonna, okubonaabona, n’okufa. Abantu bonna bajja kuba bafugibwa Omufuzi omu, Yakuwa Katonda.​—1 Abakkolinso 15:24-26.

Bayibuli Etuyamba Okumanya Engeri y’Okweyisaamu n’Okuba n’Enkolagana Ennungi ne Katonda

Obuyigirize bwa mugaso. Naye ng’omukuŋŋaanya w’olupapula lw’amawulire mu Canada oluyitibwa Ottawa Citizen bwe yagamba, ‘Omuntu okuba ne diguli oba dipuloma si kye kiraga nti asobola okusalawo mu ngeri ey’amagezi.’ Okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa ekibiina ekiyitibwa Edelman, abantu bangi abayivu, nga mw’otwalidde n’abakungu ba gavumenti n’abo abakulira abasuubuzi, bakumpanya era babba, ekiviiriddeko abantu obutabeesiga.

Bayibuli eyamba abantu okumanya engeri gye basaanidde okweyisaamu n’engeri gye bayinza okufuna enkolagana ennungi ne Katonda. Etuyamba “okutegeera eby’obutuukirivu n’eby’obwenkanya, enkola yonna ey’ebintu ebirungi.” (Engero 2:9) Ng’ekyokulabirako, omusajja omu ow’emyaka 23 gwe tujja okuyita Stephen, yasibibwa mu kkomera erimu mu Poland. Ng’ali mu kkomera, yatandika okuyiga Bayibuli n’okukolera ku magezi agagirimu. Yagamba nti: “Kati ntegeera kye kitegeeza ‘okussa ekitiibwa mu bazadde.’ Era njize n’okufuga obusungu bwange.”​—Abeefeso 4:31; 6:2.

Stephen afuba okukolera ku magezi agali mu Engero 19:11 awagamba nti: “Obutegeevu bw’omuntu bukkakkanya obusungu bwe, era bw’abuusa amaaso ensobi y’omulala kimulungiya.” Kati Stephen bw’ayolekagana n’embeera emusoomooza, afuba okugikwata mu bukkakkamu n’okukolera ku misingi gya Bayibuli. Agamba nti: “Nkirabye nti Bayibuli kye kitabo ekisingayo okubaamu amagezi ag’omuganyulo.”

Lumu omukazi omu eyali tayagala Bajulirwa ba Yakuwa yavuma Maria, omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, mu lujjudde era n’aleetawo akajagalalo. Naye mu kifo kya Maria okuvuma omukazi oyo, ye yasigala mukkakkamu era n’atamubula n’agenda. Omukazi oyo yawulira bubi olw’engeri gye yali yeeyisizzaamu era oluvannyuma yasalawo okunoonya Abajulirwa ba Yakuwa. Nga wayise omwezi nga gumu, omukazi oyo yaddamu okulaba Maria, n’amugwa mu kifuba era n’amwetondera. Omukazi oyo yakiraba nti Maria yeeyisa bulungi olw’okuba akolera ku bulagirizi bwa Bayibuli. Biki ebyavaamu? Omukazi oyo awamu n’ab’eŋŋanda ze bataano baatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa.

Yesu yakiraga nti ebyo ebiva mu magezi omuntu g’akolerako bye biraga nti malungi. (Lukka 7:35) Emisingi egiri mu Bayibuli mirungi nnyo! Omuntu bw’agikolerako, ebivaamu biba birungi. ‘Gigeziwaza atalina bumanyirivu, gisanyusa omutima, era giwa omuntu ekitangaala,’ n’amanya engeri ennungi ey’okweyisaamu n’engeri gy’ayinza okufuna enkolagana ennungi ne Katonda.​—Zabbuli 19:7, 8.

Bayibuli Eraga Ensonga Lwaki Abantu Babonaabona

Abasawo bwe baba banoonyereza ku bulwadde obw’amaanyi, bafuba okumanya ensibuko y’obulwadde obwo. Mu ngeri y’emu, kikulu nnyo okumanya ensibuko y’okubonaabona abantu kwe balimu leero. Bayibuli etuyamba okumanya ensibuko y’okubonaabona abantu kwe balimu, kubanga etubuulira ebyo ebyaliwo ku ntandikwa y’omuntu, ekiseera ebizibu bye tulimu leero we byatandikira.

Ekitabo ky’Olubereberye kiraga nti abantu baatandika okufuna ebizibu oluvannyuma lwa Adamu ne Kaawa okujeemera Katonda. Abantu abo abaasooka, beetulinkiriza ne beeteerawo emitindo egikwata ku kituufu n’ekikyamu, so ng’ate ekyo Katonda yekka y’alina obuyinza okukikola. (Olubereberye 3:1-7) Eky’ennaku kiri nti okuva olwo wabaddewo abantu bangi aboolese omwoyo gwe gumu ogwo ogwa kyetwala. Biki ebivuddemu? Abantu tebafunye mirembe na ssanyu, wabula wabaddewo obukuubagano, okunyigiriza, n’okuddirira mu mitindo gy’empisa. (Omubuulizi 8:9) Bayibuli egamba nti: “Omuntu talina buyinza kuluŋŋamya bigere bye.” (Yeremiya 10:23) Naye ekirungi kiri nti ebizibu abantu bye balimu n’obujeemu bwonna binaatera okukoma.

Bayibuli Etuwa Essuubi

Bayibuli eraga nti olw’okuba Katonda ayagala nnyo abo abamugondera ng’Omufuzi waabwe, tajja kuleka bintu bibi kweyongera kubaawo. Ababi bajja kwolekagana n’ebyo ebiva mu makubo gaabwe amabi. (Engero 1:30, 31) Ku luuyi olulala, Bayibuli egamba nti: “Abawombeefu balisikira ensi, era baliba basanyufu nnyo kubanga walibaawo emirembe mingi.”​—Zabbuli 37:11.

Bayibuli embikkule ng’eri kumpi n’ekikopo ekirimu kaawa

“Katonda ayagala abantu aba buli ngeri okulokolebwa era bategeerere ddala amazima.”​—1 Timoseewo 2:3, 4

Katonda ajja kuleeta emirembe mu nsi yonna okuyitira mu “Bwakabaka” bwe. (Lukka 4:43) Obwakabaka bwa Katonda ye gavumenti ejja okufuga ensi yonna era okuyitira mu gavumenti eyo Katonda ajja kukiraga nti y’agwanidde okufuga abantu. Yesu yakiraga nti Obwakabaka bwa Katonda bujja kutereeza ensi bwe yatuyigiriza okusaba nti: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi.”​—Matayo 6:10.

Abo abanaafugibwa Obwakabaka bwa Katonda bajja kuba bakola Katonda by’ayagala, era Katonda gwe bajja okutwala ng’Omufuzi waabwe, so si omuntu omulala yenna. Wajja kuba tewakyali bantu balya nguzi, ab’omululu, era wajja kuba tewakyali bizibu bya byanfuna, obusosoze mu mawanga, n’entalo. Abantu bonna mu nsi bajja kuba bumu, nga bafugibwa gavumenti emu, era nga bagoberera emitindo gy’empisa gye gimu.​—Okubikkulirwa 11:15.

Bwe tuba ab’okuyingira mu nsi eyo empya, twetaaga okuyigirizibwa. Mu 1 Timoseewo 2:3, 4 tusoma nti: “Katonda ayagala abantu aba buli ngeri okulokolebwa era bategeerere ddala amazima.” Amazima ago gazingiramu ebintu ebiri mu Bayibuli, bye tuyinza okuyita, ssemateeka w’Obwakabaka, kwe kugamba, amateeka n’emitindo abantu abanaafugibwa Obwakabaka obwo bye bajja okugoberera. Ebimu ku bintu ebiri mu ssemateeka oyo bisangibwa mu kuyigiriza kwa Yesu okw’oku Lusozi. (Matayo, essuula 5-7) Ng’osoma essuula ezo esatu, gezaako okukuba akafaananyi olabe engeri obulamu bwe buliba ng’abantu bonna ku nsi bakolera ku kubuulirira kwa Yesu okwo.

Ddala kyanditwewuunyisizza nti Bayibuli kye kitabo ekikyasinzeeyo okusaasaana mu bantu mu nsi yonna? Nedda! Ebyo ebiri mu Bayibuli byaluŋŋamizibwa Katonda. Era okuba nti Bayibuli etuuse ku bantu bangi nnyo kiraga nti Katonda ayagala abantu ab’amawanga gonna n’ennimi zonna okuyiga ebimukwatako basobole okufuna emikisa Obwakabaka bwe gye bujja okuleeta.​—Ebikolwa 10:34, 35.

EmmunyeenyeEkifaananyi ekiri ku lupapula 5

Bayibuli eraga nti waliwo amateeka agafuga obwengula

EKITABO EKIYAMBA ABANTU OBUTALIMBIBWALIMBIBWA

Ekitabo ekiyitibwa Encyclopedia of Science and Religion kigamba nti “edda abantu abamu baalowoozanga nti obwengula buwaniriddwa bakatonda abakola ebintu akapaalo nga tebalowooza.” Naye Bayibuli eraga nti waliwo amateeka agafuga obwengula. Ng’ekyokulabirako, emyaka nga 3,500 emabega, Bayibuli yayogera ku ‘mateeka agafuga eggulu n’ensi.’ (Yobu 38:33) Yeremiya 31:35 woogera ku ‘mateeka agafuga omwezi n’emmunyeenye.’ Abantu abassaayo omwoyo ku bigambo ebyo ebiri mu Bayibuli baakuumibwa ne batatwalirizibwa bulombolombo obw’obulimba n’okusinza okw’obulimba.​—Yobu 31:26-28; Isaaya 47:1, 13.

EKITABO EKYESIGIKA

Abawandiisi ba Bayibuli baali beesimbu ne bwe kyatuuka ku kuwandiika ku nsobi zaabwe. Ng’ekyokulabirako, Kabaka Dawudi bwe yayenda ku mukazi ayitibwa Basuseba, mu bwesimbu yagamba nti: “Nnakola ekibi mu maaso ga [Katonda].” (Zabbuli 51:4) Emirundi ebiri omutume Yokaana yayogera ku nsobi gye yakola bwe yavunnama okusinza malayika. Malayika yamugamba nti: “Weegendereze! Ekyo tokikola! . . . Sinza Katonda!” (Okubikkulirwa 19:10; 22:8, 9) Wadde nga bangi ku bawandiisi ab’edda tebaayoleka bwesimbu ng’obwo, bo abawandiisi ba Bayibuli baali beesimbu.

EKITABO EKIYAMBA ABANTU OKUTEBENKERA MU BIROWOOZO

Ebintu Bayibuli by’etukubiriza okukola bituyamba okutebenkera mu birowoozo. Ng’ekyokulabirako, etukubiriza okwoleka ekisa n’okusonyiwa abalala. Abeefeso 4:32 wagamba nti: “Naye mubeerenga ba kisa buli muntu eri munne, nga musaasiragana, nga musonyiwagana.”

Ekitabo ekimu ekyawandiikibwa eddwaliro lya Mayo Clinic, mu Amerika, kyagamba nti: “Bw’otosonyiwa, ggwe osinga okukosebwa.” Ekitabo ekyo era kyagamba nti okusonyiwa kiyamba omuntu “okuba n’enkolagana ennungi n’abalala, okutebenkera mu birowoozo, obuteeraliikirira nnyo, obutaba na bukyayi; obutatawaanyizibwa ntunnunsi; obutennyamira nnyo; obutakozesa bubi mwenge; n’obutakozesa biragalalagala.”

EKITABO EKIDDAMU EBIBUUZO EBISINGA OBUKULU MU BULAMU

Omwana ali mu lubuto

Omwana ng’ali mu lubuto

Ssaayansi asobola okuddamu ebibuuzo bingi abantu bye beebuuza, naye era waliwo by’atasobola kuddamu. Ekitabo ekiyitibwa Biotechnology—Changing Life Through Science, kigamba nti: “Bannasayansi abasinga obungi, abasawo, n’abafirosoofo bakkiriza nti ssaayansi tasobola kuddamu bibuuzo ebikwata ku mpisa n’enneeyisa y’abantu, oba ebibuuzo ebikwata ku ddiini.”

  • SSAAYANSI ASOBOLA okutuyamba okumanya ebibalo ebikwata ku mateeka agafuga obwengula, naye tasobola kutubuulira nsonga lwaki obwengula weebuli era n’ensonga lwaki waliwo amateeka agabufuga.

  • SSAAYANSI ASOBOLA okunnyonnyola engeri ebitundu ebisobozesa omuntu okuzaala gye bikolamu, naye tasobola kuyamba bantu kusalawo mu ngeri ey’amagezi bwe kituuka ku by’okwegatta.

  • SSAAYANSI ASOBOLA okunnyonnyola engeri omwana gy’akulamu mu lubuto, naye tasobola kuyamba bantu kusalawo mu ngeri ey’amagezi bwe kituuka ku kuggyamu embuto.

Bayibuli etuyamba okumanya ekituufu ku nsonga ezo ne ku nsonga endala enkulu nnyingi, mu ngeri eyo n’etuyamba “okutegeera eby’obutuukirivu n’eby’obwenkanya, enkola yonna ey’ebintu ebirungi.”​—Engero 2:9.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share