LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g21 Na. 3 lup. 8-9
  • Bannassaayansi Bye Batasobola Kutubuulira

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bannassaayansi Bye Batasobola Kutubuulira
  • Zuukuka!—2021
  • Similar Material
  • Munnasayansi Annyonnyola Ebikwata ku Nzikiriza Ye
    Zuukuka!—2016
  • Engeri Ssaayansi gy’Atuganyulamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Obulamu Bwatandika Butya?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Yamba Abaana Bo Okuba n’Okukkiriza Okunywevu mu Katonda
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
See More
Zuukuka!—2021
g21 Na. 3 lup. 8-9
Omusomesa wa ssaayansi ng’akubaganya ebirowoozo n’abamu ku bayizi be.

Bannassaayansi Bye Batasobola Kutubuulira

Bannassaayansi balabika nga beekenneenyezza ebintu byonna ebikwata ku nsi n’obwengula. Kyokka waliwo ebibuuzo bingi bye batasobola kuddamu.

Ssaayansi asobodde okutuyamba okumanya engeri obwengula, ensi, n’ebiramu ebigiriko gye byajjawo? Eky’okuddamu kiri nti nedda. Abamu bagamba nti bannassaayansi abeekenneenya ebikwata ku bwengula basobola okutubuulira engeri obwengula n’ensi gye byajjawo. Kyokka profesa omu eyeekenneenya ebikwata ku bwengula ayitibwa Marcelo Gleiser, era abuusabuusa obanga eriyo Katonda, agamba nti: “Tetusobodde kunnyonnyola wa obwengula gye bwava.”

Ate era magazini eyitibwa Science News eyogera bw’eti ku wa obulamu gye bwava: “Kiyinza obutasoboka kumanyira ddala engeri ebiramu ebiri ku nsi gye byajjawo: Enjazi ezisinga obungi awamu n’ebisigalira by’ebisolo n’ebimera ebyandibadde bitulaga ekyo ekyaliwo ng’ensi yaakatandika okubaawo tebikyaliwo.” Ebigambo ebyo biraga nti bannassaayansi tebannasobola kutuddamu kibuuzo kino, Obwengula, ensi, n’ebiramu ebigiriko byajjawo bitya?

Naye oyinza okwebuuza, ‘Bwe kiba nti ebintu ebiramu ebiri ku nsi byatondebwa, ani yabitonda?’ Era oyinza okuba nga wali weebuuzizzaako ebibuuzo nga bino: ‘Bwe kiba nti eriyo Omutonzi alina okwagala era alina amagezi amangi, lwaki aleka abantu be yatonda okubonaabona? Lwaki waliwo amadiini mangi agayigiriza ebikontana? Lwaki abo abagamba nti basinza Katonda bakola ebintu ebibi?’

Ssaayansi tasobola kutuddamu bibuuzo ebyo. Naye ekyo tekitegeeza nti tetusobola kufuna byakuddamu mu bibuuzo ebyo. Mu butuufu, abantu bangi bwe basomye Bayibuli basobodde okufuna eby’okuddamu ebimatiza.

Bw’oba oyagala okumanya ensonga lwaki bannassaayansi abamu abasomye Bayibuli bakkiriza nti eriyo Omutonzi eyatonda ebintu byonna, genda ku jw.org/lg. Yingizaamu ebigambo bino: “Bye boogera ku nsibuko y’obulamu.”

Baafuna Obukakafu Okuva mu Bayibuli ne mu Ssaayansi

Georgiy N. Koidan, munnassaayansi

“Emirundi mingi omulimu gwange guzingiramu ‘okugattagatta awamu ebintu eby’enjawulo’ ne nkola obuntu obusirikitu obuyitibwa molecule. Mu kukola obuntu buno obusirikitu oyita mu mitendera egy’enjawulo, era bw’obaako omutendera gw’obuuse, byonna by’oba okoze byonooneka. Wadde ng’omulimu guno si mwangu, bw’ogugeraageranya ku mitendera akatoffaali gye kayitamu okukola obuntu obwo obutono obuyitibwa molecule, mwangu. Ekyo kyandeetera okukkiriza nti wateekwa okuba nga waliwo Munnassaayansi Omukugu ennyo asinga bonna, era ng’oyo ye Mutonzi.

“Bwe nnasoma Bayibuli nnakiraba nti kitabo kya njawulo nnyo. Bayibuli yaggwa okuwandiikibwa emyaka nga 2,000 emabega, naye nkiraba nti amagezi agagirimu gakyali ga muganyulo nnyo ne leero. Ebyo by’eyogera ku kumalawo obutakkaanya mu maka, ku mirimu, ne wakati waffe ne baliraanwa baffe, bikolera ddala. Nnakiraba nti amagezi ng’ago gateekwa okuba nga gava eri Oyo asingira ewala abantu.”

Yan-Der Hsuuw, munnassaayansi

“Eggi ly’omukazi bwe limala okufuna enkwaso y’omusajja, litandika okwegabanyamu obutoffaali obw’enjawulo. Obutoffaali obwo bugenda bukyuka, obumu ne bufuuka obusimu, obulala ne bufuuka ebinywa, obulala amagumba, obulala omusaayi, n’ebintu ebirala, okusobola okuvaamu omuntu. Mu butuufu n’okutuusa kati tetumanyi bulungi ngeri butoffaali gye bugenda nga bwegabanyaamu ne buvaamu omuntu. Ekyo kyandeetera okukiraba nti wateekwa okuba nga waliyo Omutonzi ow’amagezi ennyo.

“Ebyo Bayibuli by’eyogera ku ngeri omwana gy’akulamu mu lubuto lwa nnyina, nga bwe kiragibwa mu Zabbuli 139:15, 16, ndaba ng’ekwataganira ddala n’ebyo bannassaayansi bye bazudde mu myaka egyakayita. Okuba nti zabbuli eyo yawandiikibwa dda nnyo kyokka ng’omuwandiisi waayo yasobola okunnyonnyola mu ngeri entuufu engeri omwana gy’akulamu mu lubuto lwa nnyina, kindaga nti Omutonzi ateekwa okuba nga ye yamusobozesa.”

Laba vidiyo Rocío Picado Herrero: A Chemistry Teacher Explains Her Faith. Omutwe gwa vidiyo eyo gunoonye ku jw.org.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share