LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb17 Febwali lup. 8
  • Yamba Abaana Bo Okuba n’Okukkiriza Okunywevu mu Katonda

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yamba Abaana Bo Okuba n’Okukkiriza Okunywevu mu Katonda
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
  • Similar Material
  • Funa Obukakafu
    Zuukuka!—2021
  • Amagezi Amalala Agayamba Amaka
    Zuukuka!—2018
  • Waliwo Ekisobola Okukuyamba
    Zuukuka!—2020
  • Baasobola Okweggyamu Obusosoze
    Zuukuka!—2020
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
mwb17 Febwali lup. 8

LIVING AS CHRISTIANS

Yamba Abaana Bo Okuba n’Okukkiriza Okunywevu mu Katonda

Ebitonde birangirira ekitiibwa kya Yakuwa. (Zb 19:1-4; 139:14) Kyokka, ensi ya Sitaani ereetera abantu okulowooza nti Katonda si ye yatonda ebintu. (Bar 1:18-25) Oyinza otya okuyamba abaana bo baleme kutwalirizibwa ndowooza ng’eyo? Okuviira ddala nga bakyali bato, bayambe okukitegeera nti Yakuwa gyali era nti abafaako. (2Ko 10:4, 5; Bef 6:16) Fuba okutegeera kye balowooza ku ebyo bye bayigirizibwa ku ssomero, era okozese ebintu ebitali bimu Yakuwa by’atuwadde osobole okubatuuka ku mitima.​—Nge 20:5; Yak 1:19.

Taata ayigiriza abaana be ebikwata ku bitonde; abaana mu kibiina nga bayigirizibwa nti ebintu tebyatondebwa; Bavubuka Banno Kye Bagamba—Okukkiririza mu Katonda

MULABE VIDIYO, BAVUBUKA BANNO KYE BAGAMBA​—OKUKKIRIRIZA MU KATONDA, OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:

  • Bwe kituuka ku kukkiririza mu Katonda, abantu bangi balina ndowooza ki enkyamu?

  • Ku ssomero gy’osomera babayigiriza ki ku nsonga eyo?

  • Kiki ekikukakasa nti Yakuwa gyali?

  • Oyinza otya okuyamba omuntu okukkiriza nti Katonda ye yatonda ebintu byonna?

EBIRALA BY’OSOBOLA OKUKOZESA:

• Ebitundu ebiri ku JW.ORG ebirina omutwe, “Bye Njiga mu Bayibuli” (Abaana ab’emyaka 3 n’okukka wansi)

• Vidiyo, Beera Mukwano gwa Yakuwa​—“Yakuwa Ye Yatonda Ebintu Byonna”

• Ebitundu ebifulumira mu magazini ya Zuukuka! “Kyajjawo Kyokka?”

• Ebitundu eby’okujjuzaamu ebiri ku JW.ORG, “Lwaki Nzikiririza mu Katonda?”

• Ebitundu ebiri ku JW.ORG ebirina omutwe, “Byatondebwa oba Byajjawo Byokka?” (ebitundu bina)

• Ebitundu ebiri ku JW Broadcasting ebirina omutwe, “Bye Boogera ku Nsibuko y’Obulamu”

• Vidiyo erina omutwe, The Wonders of Creation Reveal God’s Glory

• Akatabo Was Life Created?

• Akatabo Is There a Creator Who Cares About You?

Brocuwa The Origin of Life​—Five Questions Worth Asking

The Origin of Life—Five Questions Worth Asking

Akatabo kano okusingira ddala kaategekebwa kuyamba abavubuka Abajulirwa ba Yakuwa abali mu masomero agayigiriza nti Katonda si ye yatonda ebintu, wabula nti byajja bifuukafuuka. Kasobola n’okuweebwa abo abaagala okufuna obukakafu obulaga nti eriyo Omutonzi.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share