LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g21 Na. 3 lup. 10-13
  • Bayibuli ky’Egamba

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bayibuli ky’Egamba
  • Zuukuka!—2021
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ebintu byatondebwa mu mitendera ki ku nsi?
  • Kiki Bayibuli ky’Etagamba?
  • Katonda Yatandika Ddi Okutonda Obwengula?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Obulamu Bwatandika Butya?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Bayibuli Ekwatagana ne Ssaayansi?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Ani Eyakutonda?
    Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!
Zuukuka!—2021
g21 Na. 3 lup. 10-13

Bayibuli ky’Egamba

“Bino bye byafaayo by’eggulu n’ensi mu kiseera we byatonderwa.” (Olubereberye 2:4) Mu bigambo ebyo, Bayibuli etubuulira engeri ensi gye yajjawo. Ebyo Bayibuli by’egamba bikwatagana n’ebyo bannassaayansi bye bazudde? Ka tulabe.

Ku Lubereberye: Eggulu n’ensi bitondebwa

Ensi n’obwengula bibaddengawo ekiseera kyonna?

Olubereberye 1:1 wagamba nti: “Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi.”

Ng’emyaka gya 1950 teginnatuuka, bannassaayansi bangi baali bagamba nti ensi n’obwengula bibaddengawo ekiseera kyonna. Naye okusinziira ku bizuuliddwa, bannassaayansi bangi kati bakkiriza nti ensi n’obwengula birina entandikwa.

Ensi yali efaanana etya mu kusooka?

Olubereberye 1:2, 9 walaga nti ensi bwe yali yaakatondebwa, “yali yeetabuddetabudde era nga njereere,” ng’ejjudde mazzi.

Bannassaayansi bye bazudde bikkiriziganya n’ebigambo ebyo. Munnassaayansi ayitibwa Patrick Shih yagamba nti ensi we yasookera okubaawo, “teyaliimu mukka gwa oxygen . . . era ng’erabika bubi.” Magazini emu ekwata ku by’omu bwengula egamba nti: “Okunoonyereza okwakakolebwa kulaga nti mu kusooka ensi yali ejjudde mazzi era nga kyenkana tewaaliwo lukalu.”

Nkyukakyuka ki eyaliwo mu bbanga eryetoolodde ensi?

Olubereberye 1:3-5 wagamba nti ekitangaala ekitonotono we kyasookera okutuuka ku nsi, ensibuko y’ekitangaala ekyo yali tesobola kulabibwa ku nsi. Waayitawo ekiseera enjuba n’omwezi ne biryoka biba nga bisobola okulabibwa obulungi ku nsi.​—Olubereberye 1:14-18.

Bayibuli tegamba nti ebintu byonna ebiri ku nsi ne mu bwengula byatondebwa mu nnaku mukaaga zokka ez’essaawa 24

Ekitongole ekimu eky’omu Amerika ekinoonyereza ku mbeera y’obudde kyagamba nti mu kusooka ekitangaala kyali tekisobola kutuuka bulungi ku nsi kubanga “waaliwo olufu olwali luziyiza ekitangaala okutuuka obulungi ku nsi. Oluvannyuma olufu olwo lwaggwaawo, eggulu erya bbulu ne lirabika.”

Ebintu byatondebwa mu mitendera ki ku nsi?

1​—Olunaku Olusooka: Ekitangaala ekitonotono kitandika okulabika ku nsi.​—Olubereberye 1:3-5

2​—Olunaku olw’Okubiri: Amazzi agaali gajjudde ensi gaawulwamu ebitundu bibiri ne wabaawo ebbanga wakati waago.​—Olubereberye 1:6-8

3​—Olunaku olw’Okusatu: Amazzi gakendeerako, olukalu ne lulabika.​—Olubereberye 1:9-13

4​—Olunaku olw’Okuna: Enjuba n’omwezi byali bisobola okulabibwa ku nsi.​—Olubereberye 1:14-19

5​—Olunaku olw’Okutaano: Katonda atonda ebitonde eby’omu nnyanja n’ebinyonyi, era abiwa obusobozi bw’okuzaala byale.​—Olubereberye 1:20-23

6​—Olunaku olw’Omukaaga: Ensolo ez’oku lukalu zitondebwa, era ku nkomerero y’olunaku olwo Katonda atonda omusajja n’omukazi abaasooka.​—Olubereberye 1:24-31

Olubereberye 1:20-27 wagamba nti ebyennyanja, ebinyonyi, ensolo, bye byasooka okutondebwa oluvannyuma abantu ne balyoka batondebwa. Bannassaayansi nabo bagamba nti ebyennyanja bye byasooka okubaawo, oluvannyuma ensolo ne zibaawo, era abantu baabaawo luvannyuma nnyo.

Bayibuli tegamba nti ebintu ebiramu tebisobola kukyukamuko mu nfaanana yaabyo oluvannyuma lw’ekiseera

“Ebyo Bayibuli by’eyogera mu Olubereberye essuula 1 bitono nnyo, naye kyewuunyisa okulaba nti bikwatagana bulungi n’ebyo bannassaayansi bye bazudde.”​—Gerald L. Schroeder, munnassaayansi.

Kiki Bayibuli ky’Etagamba?

Abantu abamu bagamba nti Bayibuli tekwatagana n’ebyo bannassaayansi bye bazudde. Kyokka abagamba bwe batyo baba tebategeera bulungi ekyo kyennyini Bayibuli ky’egamba.

Bayibuli tegamba nti ensi n’obwengula bibaddewo okumala emyaka 6,000 gyokka. Mu kifo ky’ekyo, egamba nti ensi n’obwengula byatondebwa “ku lubereberye.” (Olubereberye 1:1) Bayibuli teraga buwanvu bwa kiseera ekyo.

Bayibuli tegamba nti ebintu byonna ebiri ku nsi ne mu bwengula byatondebwa mu nnaku mukaaga zokka ez’essaawa 24. Mu kifo ky’ekyo, oluusi Bayibuli ekozesa ekigambo “olunaku” okutegeeza ebiseera ebitali bimu. Ng’ekyokulabirako, eraga nti okutondebwa kw’ebintu byonna ebiri ku nsi mu ‘nnaku’ omukaaga ez’okutonda ezoogerwako mu Olubereberye essuula 1, kwaliwo “ku lunaku Yakuwaa Katonda lwe yatonderako ensi n’eggulu.” (Olubereberye 2:4) N’olwekyo, buli lumu ku “nnaku” omukaaga Katonda ze yamala ng’atonda ebintu ku nsi ne mu bwengula kiyinza okuba nga kyali kiseera kiwanvu ddala.

Bayibuli tegamba nti ebintu ebiramu tebisobola kukyukamuko mu nfaanana yaabyo oluvannyuma lw’ekiseera. Ekitabo ky’Olubereberye kigamba nti ensolo zaatondebwa “okusinziira ku bika byazo.” (Olubereberye 1:24, 25) Ekigambo “ebika” kiraga nti ebintu eby’ekika ekimu biyinza okubaamu ebika ebirala eby’enjawulo. Ebigambo ebyo era biraga nti ebintu ‘eby’ekika’ ekimu ebiri mu kitundu kye kimu biyinza okubaamuko enkyukakyuka oluvannyuma lw’ekiseera.

Olowooza otya?

Nga bwe tulabye, Bayibuli ennyonnyola mu ngeri ennyangu era etegeerekeka obulungi, engeri ensi n’obwengula gye byajjawo, engeri ensi gye yali erabikamu mu kusooka, era n’engeri ebintu ebiramu gye byajjawo. Kyandiba nti Bayibuli etubuulira mazima bw’egamba nti waliwo eyatonda ebintu ebyo? Ekitabo ekiyitibwa Encyclopædia Britannica kigamba nti: “Eky’okuba nti ensi n’obwengula tebyajjawo byokka, kikwatagana bulungi n’ebyo abanoonyereza bye bazudde.”b

Lowooza ku Kino:

Soma Olubereberye 1:1–2:4. Geraageranya ekyo Bayibuli ky’egamba mu nnyiriri ezo n’ebyo enfumo ez’edda kye zigamba. Ng’ekyokulabirako, Abababulooni bakkirizanga nti ebiramu ebiri ku nsi byakolebwa okuva mu mulambo gwa katonda omukazi ne mu musaayi gwa katonda omusajja. Abamisiri ab’edda bakkirizanga nti katonda eyali ayitibwa Ra ye yatonda abantu ng’akozesa amaziga. Ate mu China, abamu bakkirizanga nti ensi n’ebintu ebigiriko byava mu mulambo gw’omuntu omuwagguufu, era nti abantu baava mu nkukunyi ezaava mu mubiri gwe. Ebiri mu kitabo ky’Olubereberye biringa enfumo ezo? Oba bikwatagana n’ebyo bannassaayansi bye bazudde?

Laba vidiyo ey’eddakiika ennya erina omutwe, Ensi n’Obwengula Byatondebwa? Osobola okunoonya vidiyo eyo jw.org/lg.

a Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.

b Ekitabo Encyclopædia Britannica tekiwagira kya kuba nti ebintu byatondebwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share