Amazima Ogafudde Gago?
“Mukyusibwenga olw’okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mukemenga bwe biri Katonda by’ayagala, ebirungi, ebisanyusa, ebituufu.”—ABARUUMI 12:2.
1, 2. Lwaki si kyangu okubeera Omukristaayo ow’amazima leero?
OKUBEERA Omukristaayo ow’amazima mu nnaku zino ez’oluvannyuma—“ebiro eby’okulaba ennaku”—si kyangu. (2 Timoseewo 3:1) Mazima ddala omuntu okusobola okugoberera ekyokulabirako kya Kristo, ateekwa okuwangula ensi. (1 Yokaana 5:4) Jjukira Yesu kye yayogera ku kkubo ly’Ekikristaayo: “Muyingire mu mulyango omufunda: kubanga omulyango mugazi n’ekkubo eridda mu kuzikirira ddene, n’abo abayitamu bangi. Kubanga omulyango mufunda n’ekkubo eridda mu bulamu lya kanyigo, n’abo abaliraba batono.” Era yagamba: “Omuntu bw’ayagala okungoberera, yeefiirize yekka, yeetikkenga omusaalaba gwe [“omuti gwe ogw’okubonyaabonya,” NW] buli lunaku, angoberere.”—Matayo 7:13, 14; Lukka 9:23.
2 Oluvannyuma lw’okuzuula ekkubo ery’akanyigo eridda mu bulamu, okusoomooza Omukristaayo kw’aba nakwo kwe kusigala mu kkubo eryo. Lwaki okwo kuba kusoomooza? Lwa kuba okwewaayo kwaffe n’okubatizibwa bituleetera okulumbibwa ebikolwa bya Setaani eby’obukalabakalaba oba enkwe ze enneekusifu. (Abaefeso 6:11) Yeetegereza obunafu bwaffe era n’agezaako okubukozesa ng’ayagala okutunafuya mu by’omwoyo. Ate oba, yagezaako okunafuya Yesu, kati olwo lwaki ffe yanditulese?—Matayo 4:1-11.
Obukodyo bwa Setaani obw’Obukalabakalaba
3. Setaani yaleetera atya Kaawa okubuusabuusa?
3 Akakodyo akamu Setaani kaakozesa kwe kutuleetera okubuusabuusa. Anoonya obunafu mu ky’okulwanyisa kyaffe eky’eby’omwoyo. Okuviira ddala ku ntandikwa, yakozesa akakodyo ako ku Kaawa, ng’amubuuza: “Bw’atyo bwe yayogera Katonda nti Temulyanga ku miti gyonna egy’omu lusuku?” (Olubereberye 3:1) Mu ngeri endala, Setaani yali agamba, ‘Ddala kisoboka nti Katonda yabawa etteeka ng’eryo? Yandibaganyi ekintu ekirungi ennyo ng’ekyo? Mazima ddala, Katonda amanyi nti ku lunaku lw’olilya ku muti ogwo, amaaso go galizibuka era ojja kubeera nga Katonda, ng’omanyi ekirungi n’ekibi!’ Setaani yamuleetera okubuusabuusa era n’alindirira ebinaavaamu.—Olubereberye 3:5.
4. Abamu leero bayinza kubuusabuusa ki?
4 Setaani akozesa atya akakodyo kano leero? Singa tulagajjalira okusoma Baibuli, okwesomesa ffekka, okusaba, n’obuweereza bwaffe obw’Ekikristaayo n’enkuŋŋaana, tuyinza okutwalirizibwa okubuusabuusa kw’abalala. Ng’ekyokulabirako: “Tumanya tutya nti gano ge mazima Yesu ge yayigiriza?” “Ddala zino ze nnaku ez’enkomerero? Ndaba, twatuuka dda mu kyasa 21.” “Kalumagedoni anaatera okutuuka oba akyali wala nnyo?” Singa tufuna okubuusabuusa ng’okwo, kiki kye tuyinza okukola okukuvvuunuka?
5, 6. Tuteekwa kukola ki singa tufuna okubuusabuusa?
5 Yakobo yawa okubuulirira okuganyula bwe yawandiika: “Oba ng’omuntu yenna ku mmwe aweebuuka mu magezi, asabenga Katonda atamma awa bonna so takayuka; era galimuweebwa. Naye asabenga mu kukkiriza, nga taliiko ky’abuusabuusa: kubanga abuusabuusa afaanana ng’ejjengo ery’ennyanja eritwalibwa empewo ne lisuukundibwa. Kubanga omuntu oyo talowoozanga ng’aliweebwa ekintu kyonna eri Mukama waffe; omuntu ow’emyoyo ebiri, atanywera mu makubo ge gonna.”—Yakobo 1:5-8.
6 Kati olwo tuteekwa kukola ki? Tusaanidde ‘okusabanga Katonda’ okufuna okukkiriza n’okutegeera era n’okutuyamba okwongera amaanyi mu kwesomesa ffekka ku bikwata ku bibuuzo byonna oba okubuusabuusa. Era tuyinza okusaba obuyambi okuva eri abo abanywevu mu kukkiriza, nga tetubuusabuusa n’akamu nti Yakuwa ajja kutuwa obuyambi bwe twetaaga. Yakobo era yagamba: “Kale mujeemulukukirenga Katonda; naye mulwanenga ne Setaani, naye anaabaddukanga. Musembererenga Katonda, naye anaabasembereranga mmwe.” Yee, okubuusabuusa kwe tuyinza okubeera nakwo kuyinza okuggwaawo bwe tusemberera Katonda okuyitira mu kuyiga n’okusaba.—Yakobo 4:7, 8.
7, 8. Bintu ki ebimu ebiyinza okusinziirwako okumanya okusinza Yesu kwe yayigiriza era baani abatuukiriza ebintu bino?
7 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku kibuuzo: Tumanya tutya nti tugoberera okusinza Yesu kwe yayigiriza? Okusobola okukiddamu, kiki kye tuteekwa okulowoozaako? Baibuli egamba nti Abakristaayo ab’amazima bateekwa okwagalana bokka na bokka. (Yokaana 13:34, 35) Bateekwa okutukuza erinnya lya Katonda, Yakuwa. (Isaaya 12:4, 5; Matayo 6:9) Era bateekwa okumanyisa erinnya eryo.—Okuva 3:15; Yokaana 17:26.
8 Ekintu ekirala ekyawulawo okusinza okw’amazima kwe kussa ekitiibwa mu Kigambo kya Katonda, Baibuli. Kye kitabo eky’enjawulo ekiraga engeri za Katonda n’ebigendererwa bye. (Yokaana 17:17; 2 Timoseewo 3:16, 17) Ate era, Abakristaayo ab’amazima balangirira Obwakabaka bwa Katonda ng’ekyo kyokka ekinaaleeta obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwe ku nsi. (Makko 13:10; Okubikkulirwa 21:1-4) Beeyawula okuva ku by’obufuzi by’ensi eno ebyonoonefu n’obulamu bwayo obwonoona. (Yokaana 15:19; Yakobo 1:27; 4:4) Baani leero abatuukiriza ebintu bino? Ebiriwo biraga nti eky’okuddamu kiri kimu kyokka—Abajulirwa ba Yakuwa.
Kiba Kitya Singa Okubuusabuusa Kusigalawo?
9, 10. Kiki kye tuyinza okukola okuvvuunuka okubuusabuusa?
9 Kiba kitya singa twesanga nga tubuusabuusa? Kiki kye twandikoze? Kabaka Sulemaani ow’amagezi awa eky’okuddamu: “Mwana wange, bw’onokkirizanga ebigambo byange, n’oterekanga ebiragiro byange ewuwo; n’okutega n’oteganga okutu kwo eri amagezi n’ossangayo omutima gwo eri okutegeera; weewaawo, bw’onookaabiranga okumanya, n’oliriranga okutegeera. Bw’onooganoonyanga nga ffeeza, n’ogakenneenyanga ng’eby’obugagga ebyakwekebwa; kale lw’olitegeera okutya Mukama, n’ovumbula okumanya [okukwata ku] Katonda.” (Italiki zaffe)—Engero 2:1-5.
10 Ekyo si kirowoozo ekyewuunyisa? Singa tuli beetegefu okussaayo omwoyo ku magezi ga Katonda, tujja ‘kuvumbula okumanya okukwata ku Katonda.’ Yee, tusobola okufuna okumanya okukwata ku Mukama Afuga Byonna singa tuli beetegefu okutwala by’ayogera ng’eby’omuwendo. Ekyo kitegeeza okutuukirira Yakuwa mu kusaba n’okwesomesa. Eby’omuwendo ebiri mu Kigambo kye biyinza okumalawo okubuusabuusa kwonna n’okutuyamba okulaba ekitangaala ky’amazima.
11. Omuweereza wa Erisa yabuusabuusa atya?
11 Ekyokulabirako eky’enkukunala ku ngeri okusaba gye kwayambamu omuweereza wa Katonda eyali atya era ng’abuusabuusa kisangibwa mu 2 Bassekabaka 6:11-18. Omuweereza wa Erisa teyalina kutegeera kwa bya mwoyo. Yali tayinza kutegeera nti bamalayika ab’omu ggulu baaliwo okuyamba nnabbi wa Katonda, eyali azingiziddwa eggye ly’Abasuuli. Mu kutya, omuweereza yagamba: “Zitusanze, mukama wange! [T]unaakola tutya?” Erisa yayanukula atya? “Totya: kubanga abali naffe bangi okusinga abali nabo.” Naye omuweereza yandimatidde atya? Yali tasobola kulaba bamalayika ab’omu ggulu.
12. (a) Okubuusabuusa kw’omuweereza kwamalibwawo kutya? (b) Tuyinza tutya okuvvuunuka okubuusabuusa kwonna kwe tuyinza okuba nakwo?
12 “Erisa n’asaba n’ayogera nti Mukama wange, nkwegayiridde, omuzibule amaaso ge alabe. Awo Mukama n’azibula amaaso g’omulenzi; n’alaba: awo, laba, olusozi nga lujjudde embalaasi n’amagaali ag’omuliro ageetoolodde Erisa.” Mu ngeri eyo, Yakuwa yaleetera omuweereza okulaba eggye ery’omu ggulu eryali likuuma Erisa. Kyokka, tetusaanidde kusuubira buyambi ng’obwo okuva eri Katonda leero. Jjukira nti omuweereza wa nnabbi teyalina Baibuli mu bulambirira ey’okusoma asobole okunyweza okukkiriza kwe. Ffe tulina Baibuli. Singa tugikozesa bulungi, mu ngeri y’emu okukkiriza kwaffe kuyinza okunywezebwa. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okufumiitiriza ku bintu eby’enjawulo ebyogera ku Yakuwa mu lukiiko lwe olw’omu ggulu. Bino bitukakasiza ddala nti Yakuwa alina entegeka ey’omu ggulu eyamba abaweereza be mu mulimu gw’eby’enjigiriza okwetooloola ensi yonna leero.—Isaaya 6:1-4; Ezeekyeri 1:4-28; Danyeri 7:9, 10; Okubikkulirwa 4:1-11; 14:6, 7.
Weekuume Enkwe za Setaani!
13. Setaani akozesa ngeri ki okugezaako okutunafuya n’okutuggya mu mazima?
13 Engeri endala Setaani z’akozesa okutunafuya mu by’omwoyo n’okutuggya mu mazima ze ziruwa? Emu ku zo, bwe bugwenyufu obw’engeri ezitali zimu. Mu nsi ya kakyo kano eyeemalidde ennyo ku by’okwetaba, obwenzi oba obukaba bifuuse ebintu ebya bulijjo eri omulembe ogwagala ennyo eby’amasanyu ogumaliridde okusanyuka ka kibe ki. Firimu, ttivvi, ne vidiyo bitumbula obulamu ng’obwo. Eby’obugwenyufu bicaase ku mikutu gy’eby’empuliziganya naddala ku Internet. Abo abatunuulira ebifaananyi eby’obugwenyufu nga baagala okumanya ebibikwatako baba boolekedde okukemebwa.—1 Abasessaloniika 4:3-5; Yakobo 1:13-15.
14. Lwaki Abakristaayo abamu batwaliriziddwa enkwe za Setaani?
14 Olw’okwagala okumanya ennyo ekigenda mu maaso, Abakristaayo abamu boonoonye ebirowoozo n’emitima gyabwe nga balaba eby’obugwenyufu. Bakkirizza okugwa mu mutego gwa Setaani. Okukola ekyo kibaviiriddemu okuddirira mu by’omwoyo. Abalinga abo balemereddwa okusigala nga ‘baana bato eri obubi.’ Tebafuuse ‘bakulu mu kutegeera.’ (1 Abakkolinso 14:20) Buli mwaka, enkumi n’enkumi bagwa mu kabi olw’obutanywerera ku misingi n’emitindo gy’Ekigambo kya Katonda. Balagajjalidde okwambala “eby’okulwanyisa byonna ebya Katonda.”—Abaefeso 6:10-13; Abakkolosaayi 3:5-10; 1 Timoseewo 1:18, 19.
Kye Tulina Tukitwale ng’Eky’Omuwendo
15. Lwaki abamu bayinza okukisanga nga kizibu okusiima obusika bwabwe obw’eby’omwoyo?
15 “Mulitegeera amazima, n’amazima galibafuula ba ddembe,” bw’atyo Yesu bwe yagamba. (Yokaana 8:32) Abajulirwa abasinga obungi baali balina okulekayo enneeyisa yaabwe n’eddiini bye baagobereranga. N’olwekyo, bayinza okusiima amangu eddembe amazima ge lireeta. Ku luuyi olulala, abavubuka abamu abakuziddwa abazadde abali mu mazima bayinza okukisanga nga kizibu okusiima obusika bwabwe obw’eby’omwoyo. Tebabeerangako kitundu ky’eddiini ey’obulimba oba eky’ensi eno eyeemalidde ku bya masanyu, okwekamirira amalagala, n’obugwenyufu. N’ekivaamu, bayinza okulemererwa okulaba enjawulo ey’amaanyi wakati w’olusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo n’ensi ya Setaani ennyonoonefu. Abamu bayinza n’okukemebwa okugenda okulega ku butwa bw’ensi balabe kye bafiiriddwa!—1 Yokaana 2:15-17; Okubikkulirwa 18:1-5.
16. (a) Bibuuzo ki bye tuyinza okwebuuza? (b) Biki bye tuyigirizibwa era bye tukubirizibwa okukola?
16 Mazima ddala kitwetaagisa okwokya engalo zaffe okusobola okumanya obulumi n’okubonaabona? Tetuyinza kuyigira ku bibi ebituuse ku balala? Kitwetaagisa okudda mu “bitosi” by’ensi eno okulaba obanga tulina kye tusubiddwa? (2 Peetero 2:20-22) Peetero yajjukiza Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka abaaliko mu nsi ya Setaani: “Ebiro ebyayita byayinza okutumala okukolanga ab’amawanga bye baagala, n’okutambuliranga mu bwenzi, okwegomba, okwekamirira omwenge, ebinyumu, obutamiivu, n’okusinza ebifaananyi okw’omuzizo.” Mazima ddala tekitwetaagisa kwenyigira mu ‘bukaba bw’ensi obutalabwanga’ okumanya obulamu obw’obugwenyufu bwe bufaanana. (1 Peetero 4:3, 4) Okwawukana ku ekyo, tuyigirizibwa emitindo gya Yakuwa egya waggulu mu Kingdom Hall zaffe, ebifo omuyigirizibwa Baibuli. Era tukubirizibwa okukozesa obusobozi bwaffe obw’okutegeera okukakasa nti tulina amazima era bwe tutyo ne tufuula amazima agaffe.—Yoswa 1:8; Abaruumi 12:1, 2; 2 Timoseewo 3:14-17.
Erinnya Lyaffe Si Kipande Bupande
17. Tuyinza tutya okubeera Abajulirwa ba Yakuwa abalungi?
17 Singa tufuula amazima agaffe, tujja kugabuulira abalala buli lwe kiba kisaanira. Kino tekitegeeza nti tujja kugezaako okugakaka ku abo abatayagala kuyiga. (Matayo 7:6) Wabula, tetujja kutya kumanyibwa ng’Abajulirwa ba Yakuwa. Singa omuntu alaga nti ayagala okuyiga ng’abuuza ekibuuzo mu bwesimbu oba ng’akkiriza ekitabo ekyesigamiziddwa ku Baibuli, tujja kubeera beetegefu okumubuulira essuubi lyaffe. Kya lwatu, kino kitegeeza nti buli kiseera tubeera n’ebitabo ka tube nga tuli mu kifo ki—awaka, ku mulimu, ku ssomero, ku maduuka, oba mu bifo eby’okwesanyusaamu.—1 Peetero 3:15.
18. Okwemanyisa ng’Abakristaayo kiyinza kitya okubeera eky’omuganyulo mu bulamu bwaffe?
18 Bwe twemanyisa ng’Abakristaayo, tunywezebwa okuva ku kulumba kwa Setaani okw’akabi. Singa wabaawo embaga ya Ssekukkulu oba akalulu mu ofiisi, bakozi banaffe bajja kugamba, “Mumuveeko oyo. Ali omu ku Bajulirwa ba Yakuwa.” Olw’ensonga y’emu, abantu bayinza okwewala okusaaga mu ngeri ey’obuwemu nga we tuli. Bwe kityo, bwe twoleka ennyimirira yaffe ey’Ekikristaayo kiba kyamuganyulo nnyo mu bulamu bwaffe, era ng’omutume Peetero bwe yagamba: “Era ani anaabakolanga obubi, bwe munaanyiikiranga obulungi? Naye newakubadde nga mubonyaabonyezebwa olw’obutuukirivu, mulina omukisa.”—1 Peetero 3:13, 14.
19. Tumanya tutya nti tuli wala nnyo mu nnaku ez’oluvannyuma?
19 Omuganyulo omulala ogw’okufuula amazima agaffe guli nti tujja kuba bamativu nti ddala zino ze nnaku ez’oluvannyuma ez’embeera z’ebintu. Tujja kumanya nti obunnabbi bwa Baibuli bungi butuukirizibwa mu kiseera kyaffe.a Okulabula kwa Pawulo nti “mu nnaku ez’oluvannyuma ebiro eby’okulaba ennaku birijja” kukakasibwa ebintu eby’entiisa ebyaliwo mu kyasa ekyayita. (2 Timoseewo 3:1-5; Makko 13:3-37) Gye buvuddeko awo, ekitundu mu lupapula lw’amawulire ekikwata ku kyasa 20 kyalina omutwe ogugamba nti “Kirijjukirwa ng’Omulembe gw’Obutali Bugunjufu.” Ekitundu kyagamba: “1999 gwafuuka omwaka ogwasingirayo ddala okubaamu ettemu mu kitundu eky’okubiri eky’ekyasa ekyasingirayo ddala okubaamu ettemu.”
20. Kati kye kiseera okukola ki?
20 Kati si kiseera kya kulonzalonza. Emikisa gya Yakuwa gyeyolese bulungi ku mulimu gw’okuyigiriza Baibuli ogusingirayo ddala obunene ogwali gukoleddwa mu nsi yonna ng’obujulirwa eri amawanga gonna. (Matayo 24:14) Fuula amazima agago, era gabuulire abalala. Ebiseera byo eby’omu maaso eby’olubeerera byesigamye ku ky’okola kati. Okuddirira tekijja kukuweesa mikisa gya Yakuwa. (Lukka 9:62) Wabula, kino kiseera ‘eky’okunywera, obutasagaasagana, bulijjo okubeera n’eby’okukola bingi mu mulimu gwa Mukama waffe, nga tumanyi nti okufuba kwaffe si kwa bwereere mu Mukama waffe.’—1 Abakkolinso 15:58.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba Omunaala gw’Omukuumi, aka Febwali 1, 2000, empapula 6, 7. Obutundu 13-18 buwa obujulizi bwa mirundi mukaaga obulaga nti okuva mu 1914 tubadde tuli mu nnaku ez’enkomerero.
Ojjukira?
• Tuyinza tutya okuvvuunuka okubuusabuusa?
• Biki bye tuyinza okuyiga okuva ku kyokulabirako ky’omuweereza wa Erisa?
• Kukemebwa ki eri obugwenyufu kwe tuteekwa okwekuuma buli kiseera?
• Lwaki twandyemanyisizza ng’Abajulirwa ba Yakuwa?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 19]
Obutayosa kuyiga Baibuli n’okusaba biyinza okutuyamba okuvvuunuka okubuusabuusa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]
Omuweereza wa Erisa yavvuunuka okubuusabuusa kwe yalina bwe yafuna okwolesebwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]
Tuyigirizibwa emitindo gya Yakuwa egya waggulu mu “Kingdom Hall” ng’eno ey’omu Benin