Etteeka ery’Omuwendo Ligasa Buli Muntu
“Kale byonna bye mwagala abantu okubakolanga mmwe, nammwe mubakolenga bo bwe mutyo.”—Matayo 7:12.
EBIGAMBO ebyo byayogerwa Yesu Kristo, kumpi emyaka nga nkumi bbiri emabega mu Kubuulirira kwe okw’Oku Lusozi okumanyiddwa ennyo. Okuva ku olwo, bingi byogeddwa era ne biwandiikibwa ku bigambo ebyo. Ng’ekyokulabirako, byogeddwako nga “ebisingayo obukulu mu Byawandiikibwa,” “ebiwumbawumbako obuvunaanyizibwa bw’Omukristaayo eri muliraanwa we,” ne “omusingi gw’empisa omukulu.” Ebigambo ebyo bimanyiddwa nnyo ne kiba nti byogerwako nga Etteeka Ery’Omuwendo.
Kyokka, Etteeka Ery’Omuwendo si lya Bakristaayo bokka. Abayudaaya, aba Buddha, n’abafirosoofo Abayonaani, bonna baayogera ku tteeka lino ery’omuwendo mu ngeri ezitali zimu. Ebimanyiddwa ennyo abantu b’omu nsi ez’Ebuvanjuba bye bigambo bya Confucius, abantu baayo gwe batwala okuba nti ye musajja eyasingayo obugezi n’okuyigiriza. Mu kitabo The Analects, nga ky’eky’okusatu ku bitabo ebina ebya Confucius, Etteeka ery’Omuwendo lyogerwako emirundi esatu. Emirundi ebiri ng’addamu ebibuuzo by’abayizi, Confucius yagamba: “Ky’otoyagala bakukole, tokikola balala.” Ku mulundi omulala, omuyizi we Zigong bwe yeewaana nti “Kye saagala bankole, nange sikikola balala,” Confucius yamuddamu bw’ati: “Ekyo kituufu, naye tosobola kukikola.”
Omuntu bw’asoma ebigambo ebyo, akiraba nti ebigambo bya Confucius byawukanako ku ebyo Yesu bye yayogera oluvannyuma. Enjawulo erabika eri nti Etteeka Ery’Omuwendo eryayigirizibwa Yesu lissa essira ku kukola abalala ebirungi. Ka tugambe nti abantu bakolera ku bigambo bya Yesu, ne bafaayo ku balala era ne batambulira ku musingi ogwo buli lunaku. Olowooza ekyo tekyandireetedde ensi gye tulimu okuba ekifo ekisingako okuba obulungi? Awatali kubuusabuusa.
Ka kibeere nti Etteeka ery’Omuwendo lissa essira ku kukola abalala ebirungi oba obutabakolako bubi, oba engeri endala yonna, ekikulu kiri nti abantu mu biseera n’ebifo eby’enjawulo, era ne mu mbeera z’obulamu ez’enjawulo, bagoberedde Etteeka Ery’Omuwendo. Kino kiraga bulungi nti ebyo Yesu bye yayogera mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi bigasa buli muntu ku buli mulembe.
Weebuuze: ‘Nnandyagadde mpeebwe ekitiibwa, mpisibwe bulungi? Nnandyagadde okubeera mu nsi omutali kusosola mu mawanga, bumenyi bw’amateeka wamu n’entalo? Nnandyagadde okuba mu maka nga buli omu afaayo ku balala?’ Mazima ddala, ani ayinza okugamba nti teyandyagadde mbeera bwe zityo? Naye, eky’ennaku kiri nti abantu batono nnyo abali mu mbeera ng’ezo. Eri abantu bangi, kirabika nga embeera bwe zityo tezisobola kubaawo.
Etteeka ery’Omuwendo Terissiddwa mu Nkola
Mu byafaayo byonna, abantu bakoleddwako ebikolobero, bwe kityo eddembe lyabwe ne lirinnyirirwa. Bino bitwaliramu okutunda abantu b’omu Afirika ng’abaddu, okuttira abantu mu nkambi z’Abanazi, okukaka abaana abato okukola nga tebanneetuuka n’okutirimbula abantu mu bifo ebitali bimu. Olukalala lw’ebintu eby’entiisa luyinza okusingako n’awo.
Leero, mu nsi yaffe omuli tekinologiya ow’ekika ekya waggulu, abantu beefaako bokka. Bantu batono nnyo abalumirwa abalala singa bo bennyini baba bakaluubirirwa oba nga balowooza nti eddembe lyabwe lirinnyirirwa. (2 Timoseewo 3:1-5) Lwaki abantu bangi tebakyafaayo ku balala, bakambwe era nga beefaako bokka? Si lwa kuba nti Etteeka Ery’Omuwendo wadde nga bangi balimanyi, lisuuliddwa omuguluka nga litwalibwa ng’eritagasa era erikwata ku mpisa ezaava edda ku mulembe? Eky’ennaku, n’abo abeegamba okukkiririza mu Katonda bwe batyo bwe balitwala. Era, ebiriwo kati biraga nti abantu bajja kweyongera bweyongezi okwefaako bokka.
N’olwekyo, ebibuuzo ebikulu ebisaanye okwekenneenyezebwa biri: Kitwaliramu ki okukolera ku Tteeka Ery’Omuwendo? Waliwo abakyalikolerako? Era walibaawo ekiseera abantu bonna lwe balikolera ku Tteeka Ery’Omuwendo? Okufuna eby’okuddamu ebimatiza, tukusaba osome ekitundu ekiddako.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]
Confucius n’abalala baayigiriza ebifaanaganako ku Tteeka Ery’Omuwendo