LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w05 3/1/05 lup. 8-11
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Ekyabalamuzi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Ekyabalamuzi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Subheadings
  • Similar Material
  • LWAKI ABALAMUZI BAALI BEETAAGISA?
  • (Ekyabalamuzi 1:1–3:6)
  • YAKUWA ATEEKAWO ABALAMUZI
  • (Ekyabalamuzi 3:7–16:31)
  • EBIBI EBIRALA EBYAKOLEBWA MU ISIRAERI
  • (Ekyabalamuzi 17:1–21:25)
  • Okununulibwa okw’Omu Biseera eby’Omu Maaso
  • Ebirimu
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • ‘Nnayimuka nga Maama Okuyamba Isiraeri’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Abakazi Babiri Abazira
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
w05 3/1/05 lup. 8-11

Ekigambo kya Yakuwa Kiramu

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Ekyabalamuzi

KIKI Yakuwa ky’akolawo ng’abantu be bamwabulidde ne batandika okusinza bakatonda ab’obulimba? Watya singa bamujeemera enfunda n’enfunda naye ate ne bamukyukira abayambe nga batuuse mu buzibu? Ne mu mbeera ng’ezo Yakuwa abadduukirira? Ekitabo ky’Ekyabalamuzi kiddamu ebibuuzo ebyo era n’ebirala. Ekitabo kino Samwiri kye yamaliriza okuwandiika mu 1100 B.C.E., kyogera ku bintu ebyaliwo mu myaka 330, kwe kugamba, okuva ku kufa kwa Yoswa okutuuka ku kutuuzibwa kwa kabaka wa Isiraeri eyasooka ku nnamulondo.

Okuva ekitabo ky’Ekyabalamuzi bwe kiri ekitundu ky’ekigambo kya Katonda, kya mugaso nnyo gye tuli. (Abaebbulaniya 4:12) Ebintu bye kyogerako bituyamba okumanya ebisingawo ku ngeri za Katonda. Eby’okuyiga ebibirimu binyweza okukkiriza kwaffe era ne bituyamba okuluubirira ‘obulamu obwa nnamaddala,’ mu nsi ya Katonda empya. (1 Timoseewo 6:12, 19; 2 Peetero 3:13) Engeri Yakuwa gy’anunulamu abantu be esonga ku kununulibwa okw’amaanyi okulikolebwa Omwana we, Yesu Kristo, mu biseera eby’omu maaso.

LWAKI ABALAMUZI BAALI BEETAAGISA?

(Ekyabalamuzi 1:1–3:6)

Oluvannyuma lwa bakabaka b’omu Kanani okuwangulibwa wansi w’obulagirizi bwa Yoswa, buli kika ky’Abaisiraeri kifuna obusika bwakyo. Kyokka, Abaisiraeri tebamalarirawo ddala bantu ba mu nsi eyo. Ekintu kino kiba kya kabi nnyo eri Abaisiraeri.

Abantu abaddawo oluvannyuma lw’okufa kwa Yoswa ‘tebamanyi Yakuwa oba ebyo by’akoledde Abaisiraeri.’ (Ekyabalamuzi 2:10) Ate era, Abaisiraeri bafumbiriganwa n’Abakanani ssaako n’okuweereza bakatonda baabwe. Ekivaamu Yakuwa abawaayo mu mukono gw’abalabe baabwe. Abaisiraeri bwe bayisibwa obubi ennyo, bakaabirira Katonda okubayamba. Mu kiseera ekyo ekizibu ennyo mu by’eddiini, ne mu by’obufuzi, Yakuwa ateekawo abalamuzi okununula abantu be okuva mu mukono gw’abalabe baabwe.

Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:

1:2, 4​—Lwaki Yuda kye kika ekisooka okuweebwa obusika bwakyo mu nsi? Mu mbeera eza bulijjo, enkizo eyo yandibadde eweebwa kika kya Lewubeeni, mutabani wa Yakobo omubereberye. Naye mu bunnabbi bwe yawa ng’anaateera okufa, Yakobo yalagula nti Lewubeeni teyali wa kwatiikirira kubanga yeefiiriza enkizo ye ey’okuba omwana omubereberye. Simyoni ne Leevi, abeeyisa mu ngeri ey’obukambwe bandisaasaanye mu Isiraeri. (Olubereberye 49:3-5, 7) N’olwekyo, eyandibadde afuna enkizo eyo ye Yuda, omwana wa Yakobo ow’okuna. Simyoni, eyawerekerako Yuda, yafuna butundutundu obwesuddesudde mu kitundu ekinene ennyo ekya Yuda.a—Yoswa 19:9.

1:6, 7​—Lwaki engalo ensajja n’ebigere ebisajja ebya bakabaka abaawangulwanga byasalibwangako? Omuntu eyasalibwangako engalo ze ensajja n’ebigere ebisajja yabanga tasobola kwenyigira bulungi mu lutalo. Omuserikale ataabanga na ngalo nsajja, yandisobodde atya okukwata ekitala kye n’efumu? Ate era obutaba na bigere bisajja kyandiviiriddeko omuntu okuba nti tasobola kuyimirira bulungi.

Bye Tuyigamu:

2:10-12. Tulina okwesomesa Baibuli obutayosa ‘tuleme kwerabira bikolwa bya Yakuwa.’ (Zabbuli 103:2) Abazadde basaanidde okuyigiriza abaana baabwe amazima agali mu Kigambo kya Katonda.—Ekyamateeka 6:6-9.

2:14, 21, 22. Yakuwa aleka abantu be abajeemu okutuukibwako ebintu ebibi olw’ekigendererwa, kwe kugamba, okubakangavula, okubatereeza, n’okubayamba okudda gy’ali.

YAKUWA ATEEKAWO ABALAMUZI

(Ekyabalamuzi 3:7–16:31)

Ebyo abalamuzi bye baakola bitandikira ku Osunieri ng’anunula Abaisiraeri okuva wansi w’obuyinza bwa Kabaka w’e Mesopotamiya obwamala emyaka munaana. Ng’akozesa obukodyo, Omulamuzi Ekudi yatta kabaka wa Mowaabu omunene ayitibwa Eguloni. Samugali omuvumu atta abafirisuuti 600 ng’akozesa omuwunda ogusoya ente. Ng’akubirizibwa Debola, aweereza nga nnabbi omukazi, era ng’ayambibwako Yakuwa, Balaki n’eggye lye ettono eririmu abaserikale omutwalo gumu lifuntula eggye lya Sisera ery’amaanyi ennyo. Yakuwa assaawo Gidyoni era n’amusobozesa okuwangula Abamidiyani ng’alina abaserikale 300.

Okuyitira mu Yefusa, Yakuwa anunula Abaisiraeri okuva mu mukono gw’Abaamoni. Abalamuzi ba Isiraeri abalala ku abo 12 be bano: Toola, Yayiri, Ibuzaani, Eroni ne Abudoni. Omulembe gw’abalamuzi gukoma ku Samusooni, eyalwanagana n’Abafirisuuti.

Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:

4:8​—Lwaki Balaki yakalambira nti nnabbi omukazi Debola agende naye mu lutalo? Kirabika, Balaki yali teyeekakasa okwaŋŋanga eggye lya Sisera ng’ali yekka. Debola okuba naye kyandimukakasiza nti ye n’abasajja be baalina obulagirizi bwa Katonda era ne kibaleetera okufuna obuvumu. N’olwekyo, Balaki okukalambira nti Debola agende wamu nabo kyali tekyoleka bunafu, wabula kyali kyoleka okukkiriza okw’amaanyi.

5:20​—Emmunyeenye okuva mu ggulu zaalwanirira zitya Balaki? Baibuli tetubuulira obanga kino kyali kizingiramu obuyambi bwa bamalayika, oba nti ku ggulu kwalabikako obubonero obwataputibwa abasajja ba Sisera abagezigezi nti olutalo lwali lugenda kubangedera bubi, oba abalaguza emmunyeenye okulagula eby’obulimba. Kyo kituufu nti Katonda yabayamba mu ngeri emu.

7:1-3; 8:10​—Lwaki Yakuwa yagamba nti abasajja ba Gidyoni 32,000 baali bangi nnyo okwaŋŋanga eggye eririmu abaserikale 135,000? Kino kyali bwe kityo olw’okuba Yakuwa yali agenda kuwa Gidyoni n’abasajja be obuwanguzi. Katonda yali tayagala balowooze nti baawangula Abamidiyaani mu maanyi gaabwe.

11:30, 31​—Yefusa bwe yali nga yeeyama, yalina ekirowoozo ky’okuwaayo omuntu nga ssaddaaka? Yefusa teyalina kirowoozo ng’ekyo, olw’okuba Amateeka gaali gagamba: “Tewalabikanga gy’oli muntu yenna ayisa mu muliro mutabani we oba muwala we.” (Ekyamateeka 18:10) Kyokka, Yefusa yali alowooza ku muntu so si ensolo. Ensolo ennungi ezaaweebwangayo nga ssaddaaka kirabika tezaaberanga mu maka g’Abaisiraeri. Ate era, eky’okuwaayo ssaddaaka y’ensolo si kye kyandibadde eky’enjawulo ennyo. Yefusa yali akimanyi nti omuntu eyandifulumye okumusisinkana oboolyawo yandibadde muwala we. Ono yali wa kuba “ekiweebwayo ekyokebwa,” mu ngeri nti yandibadde yeemalira ku kuweereza Yakuwa ekiseera kyonna mu weema ye.

Bye Tuyigamu:

3:10. Okusobola okutuuka ku biruubirirwa eby’omwoyo tekyesigama ku magezi gaffe, wabula ku mwoyo gwa Yakuwa.—Zabbuli 127:1.

3:21. Ekudi yakozesa ekitala kye n’obumanyirivu era n’obuvumu. Naffe tulina okufuna obumanyirivu mu kukozesa “ekitala eky’omwoyo, kye kigambo kya Katonda.” Kino kitegeeza nti tulina okufuba okukozesa obulungi Ebyawandiikibwa mu buweereza bwaffe.—Abaefeso 6:17; 2 Timoseewo 2:15.

6:11-15; 8:1-3, 22, 23. Obwetowaaze bwa Gidyoni tubuyigirako ebintu bisatu: (1) Bwe tuweebwa enkizo, tusaanidde okulowooza ku buvunaanyizibwa obuzingirwamu mu kifo ky’ekitiibwa kye tuyinza okufuna. (2) Bwe tuba tukolagana n’abo abaagala ennyo okuyomba, kiba ky’amagezi okuba abeetoowaze. (3) Obwetoowaze bujja kutuyamba obuteegwanyiza kufuna kifo.

6:17-22, 36-40. Naffe tulina okuba abeegendereza ne ‘tutamala gakkiriza buli kigambo ekyaluŋŋamizibwa.’ Wabula, tusaanidde ‘okwekenneenya obanga biva eri Katonda.’ (1 Yokaana 4:1) Okusobola okukakasa nti okuwabula kw’agenda okuwa kwesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda, ow’oluganda eyaakafuuka omukadde asaanidde okwebuuza ku mukadde alina obumanyirivu.

6:25-27. Gidyoni yakozesa obukalabakalaba n’atamala ganyiiza mu bugenderevu abo abaali bamuziyiza. Bwe tuba tubuulira amawulire amalungi, tulina okwegendereza obutamala googera bigambo ebiyinza okunyiiza abo be tubuulira.

7:6. Bwe kituuka ku kuweereza Yakuwa, tulina okuba obulindaala ng’abasajja ba Gidyoni 300.

9:8-15. Nga kiba kya busiru nnyo okweyisa mu ngeri ey’amalala era ne twegwanyiza okufuna ebifo oba obuyinza!

11:35-37. Awatali kubuusabuusa ekyokulabirako kya Yefusa ekirungi kyayamba nnyo muwala we okuba n’okukkiriza okw’amaanyi n’omwoyo ogw’okwefiiriza. Leero abazadde basobola okuteekerawo abaana baabwe ekyokulabirako ekirungi ng’ekyo.

11:40. Okusiima omuntu alaze omwoyo ogw’okwefiiriza mu buweereza bwa Yakuwa, kimuzzaamu nnyo amaanyi.

13:8. Abazadde balina okusaba Yakuwa okubawa obulagirizi era ne babugoberera nga bayigiriza abaana baabwe.—2 Timoseewo 3:16.

14:16, 17; 16:16. Okukaabirira omuntu ng’oyagala abeeko ky’akukolera kisobola okwonoona enkolagana ennungi.—Engero 19:13; 21:19.

EBIBI EBIRALA EBYAKOLEBWA MU ISIRAERI

(Ekyabalamuzi 17:1–21:25)

Mu ssuula ezisembayo ez’ekitabo ky’Ekyabalamuzi mulimu ebintu bibiri ebikulu. Ekisooka kikwata ku musajja ayitibwa Mikka, eyateeka ekifaananyi mu nnyumba ye era n’afuna Omuleevi akole nga kabona we. Oluvannyuma lw’okuzikiriza ekibuga Layisi, oba Lesemu, ab’ekika kya Ddaani bazimba ekibuga ekyabwe era ne bakituuma Ddaani. Nga bakozesa ekifaananyi kya Mikka ne kabona we, batandikawo okusinza okuppya mu Ddaani. Kirabika, Layisi kiwambibwa nga Yoswa tannafa.—Yoswa 19:47.

Eky’okubiri kibaawo nga waakayitawo akaseera katono oluvannyuma lw’okufa kwa Yoswa. Abasajja abamu ab’ekika kya Benyamini okuva mu kibuga Gibea bakola ekikolobero eky’okukwata omukazi omu era kino kumpi kiviirako okusaanyizibwawo kw’ekika ekyo kyonna—abasajja 600 bokka be basigalawo. Kyokka, wabaawo enteekateeka ebasobozesa okufuna abakazi, era ekiseera ky’obufuzi bwa Dawudi we kituukira, waba waliwo abasajja nga 60,000 abalwanyi nnamige.—1 Ebyomumirembe 7:6-11.

Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:

17:6; 21:25​—Bwe kiba nti ‘buli muntu yakolanga ekyali ekirungi mu maaso ge,’ ekyo kyaleetawo akavuyo? Nedda, kubanga Yakuwa yakola enteekateeka ez’okuwa abantu be obulagirizi. Yabawa Amateeka ne bakabona okubayigirizanga amakubo ge. Okuyitira mu Ulimu ne Suminu, kabona asinga obukulu yali asobola okwebuuza ku Katonda ensonga enkulu. (Okuva 28:30) Buli kibuga kyalinanga abasajja abakadde abaali basobola okubuulirira abalala. Omuisiraeri bwe yeeyambisanga enteekateeka zino, yafunanga obulagirizi obulungi. Bwe yakolanga ‘ekyabanga ekirungi mu maaso ge,’ ebyavangamu byali birungi. Ku luuyi olulala, omuntu bwe yeesambanga Amateeka era ne yeesalirawo ky’ayagala ku bikwata ku nneeyisa n’okusinza, ebyavangamu byabanga bibi.

20:17-48​—Lwaki Yakuwa yaleka Ababenyamini okuwangula ebika ebirala emirundi ebiri, wadde nga Ababenyamini baali beetaaga okubonerezebwa? Bwe yaleka ebika ebyesigwa okuwangulibwa, Yakuwa yabagezesa obanga baali bamalirivu okumalirawo ddala obubi mu Isiraeri.

Bye Tuyigamu:

19:14, 15. Abantu b’omu Gibea okuba nti tebaali beetegefu kwaniriza bagenyi kyali kyoleka nti baalina empisa embi. Abakristaayo bakubirizibwa ‘okwaniriza abagenyi.’—Abaruumi 12:13.

Okununulibwa okw’Omu Biseera eby’Omu Maaso

Mangu nnyo, Obwakabaka bwa Katonda obufugibwa Yesu Kristo bujja kuzikiriza abantu ababi era bununule abantu abagolokofu. (Engero 2:21, 22; Danyeri 2:44) ‘Abalabe ba Yakuwa bonna bajja kuzikirizibwa, era abo abamwagala bajja kuba ng’enjuba evaayo mu maanyi gaayo.’ (Ekyabalamuzi 5:31) Ka tubeere abamu ku abo abaagala Yakuwa nga tussa mu nkola ebyo bye tuyize mu kitabo ky’Ekyabalamuzi.

Ensonga enkulu eyeeyolese enfunda n’enfunda mu kitabo ky’Ekyabalamuzi y’eno: Obuwulize eri Katonda buvaamu emiganyulo, ate obujeemu buvaamu ebibi eby’amaanyi. (Ekyamateeka 11:26-28) Nga kikulu nnyo okuba nti ‘twoleka obuwulize okuva mu mutima’ eri ebyo byonna Katonda by’atubikulidde!—Abaruumi 6:17; 1 Yokaana 2:17.

[Obugambo obuli wansi]

a Abaleevi tebaaweebwa busika mu Nsi Ensuubize, wabula baafuna ebibuga 48 ebiri mu bifo ebitali bimu mu Isiraeri yonna.

[Mmaapu eri ku lupapula 9]

(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)

“Mukama n’ayimusa abalamuzi abaabalokolanga mu mukono gwabo abaabanyaganga.”—Ekyabalamuzi 2:16

ABALAMUZI

1. Osunieri

2. Ekudi

3. Samugali

4. Balaki

5. Gidyoni

6. Toola

7. Yayiri

8. Yefusa

9. Ibuzaani

10. Eroni

11. Abudoni

12. Samusooni

NAFUTAALI

ASA

ZEBBULOONI

DDAANI

ISAKAALI

MANASE

EFULAYIMU

BENYAMINI

YUDA

DDAANI

MANASE

GAADI

LEWUBEENI

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

Kiki kye wayize ku Balaki okuba nti yakalambira nti Debola agende nabo awalwanira olutalo?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share