LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w06 8/1 lup. 28-32
  • Tya Yakuwa—Beera Musanyufu!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Tya Yakuwa—Beera Musanyufu!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okuddamu Okufuna Essanyu
  • Waakiri Okubonaabona mu Kifo ky’Okukola Ekibi
  • Okutya Katonda Kuleeta Emikisa
  • ‘Weenywereze mu Yakuwa’
  • Obusika obw’Omuwendo
  • Beera wa Magezi—Tya Katonda!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Sanyukira mu Bulamu obw’Okutya Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • ‘Njigiriza Okukola by’Oyagala’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Kulaakulanya Omutima Ogutya Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
w06 8/1 lup. 28-32

Tya Yakuwa​—Beera Musanyufu!

“Alina omukisa [“essanyu,” NW] oyo atya Mukama.”​—ZABBULI 112:1.

1, 2. Miganyulo ki egiva mu kutya Yakuwa?

SI KYANGU okufuna essanyu. Essanyu erya nnamaddala lyesigamye ku kusalawo okutuufu, okukola ekituufu, n’okulekayo okukola ekikyamu. Omutonzi waffe, Yakuwa, atuwadde Ekigambo kye, Baibuli, okutuyigiriza engeri y’okufunamu essanyu mu bulamu. Bwe tunoonya era ne tugoberera obulagirizi bwa Yakuwa, tuba twoleka nti tumutya era ekyo kitusobozesa okuba abamativu n’okufuna essanyu.​—Zabbuli 23:1; Engero 14:26.

2 Mu kitundu kino, tugenda kwekenneenya ebyokulabirako okuva mu Baibuli n’eby’omu kiseera kino, ebiraga engeri okutya Katonda gye kusobozesa omuntu okwewala okukola ekikyamu era n’engeri gye kumuwaamu obuvumu okukola ekituufu. Tujja kulaba nti okutya Katonda kusobola okutuleetera essanyu nga kutukubiriza okulongoosa ekkubo lyaffe, nga Kabaka Dawudi bwe yakola. Ate era, tujja kulaba nti okutya Katonda kya busika kya muwendo abazadde kye bayinza okuwa abaana baabwe. Mazima ddala, Ekigambo kya Katonda kitukakasa nti: “Alina omukisa [“essanyu,” NW] oyo atya Mukama.”​—Zabbuli 112:1.

Okuddamu Okufuna Essanyu

3. Kiki ekyayamba Dawudi okuddamu okusiimibwa Yakuwa oluvannyuma lw’okwonoona?

3 Nga bwe tulabye mu kitundu ekivuddeko, emirundi esatu Dawudi yalemererwa okutya Katonda era n’ayonoona. Kyokka, engeri gye yeeyisaamu nga Yakuwa amukangavudde yalaga nti yali muntu ddala atya Katonda. Olw’okuba yali atya Katonda era ng’amussaamu ekitiibwa, yakkiriza ensobi ze n’atereeza ekkubo lye era n’azzaawo enkolagana ennungi ne Yakuwa. Wadde ng’ensobi ze zaamuleetera okubonaabona awamu n’abalala, olw’okuba yeenenya, yeeyongera okufuna obuwagizi bwa Yakuwa n’emikisa gye. Ekyokulabirako kya Dawudi kiyinza okuzzaamu amaanyi Abakristaayo abayinza okugwa mu nsobi ez’amaanyi.

4. Okutya Katonda kusobola kutya okuyamba omuntu okuddamu okufuna essanyu?

4 Lowooza ku kyokulabirako kya Sonja.a Wadde yali aweereza ng’omubuulizi w’ekiseera kyonna, Sonja yafuna emikwano emibi era yeenyigira mu mpisa embi n’agobebwa mu kibiina Ekikristaayo. Bwe yeekuba mu kifuba, Sonja yakola kyonna ky’asobola okutereeza enkolagana ye ne Yakuwa. Oluvannyuma lw’ekiseera, yakomezebwawo mu kibiina. Wadde bino byonna byamutuukako, Sonja yali akyayagala okuweereza Yakuwa. Oluvannyuma lw’ekiseera, yaddamu okuweereza nga payoniya ow’ekiseera kyonna. Oluvannyuma, yafumbirwa omukadde era baweerereza wamu mu kibiina kyabwe. Wadde nga Sonja yejjusa olw’okuva mu kkubo ery’Ekikristaayo okumala akaseera, musanyufu nti okutya Katonda kwamusobozesa okukomawo mu kibiina.

Waakiri Okubonaabona mu Kifo ky’Okukola Ekibi

5, 6. Dawudi yawonyawo atya obulamu bwa Sawulo era lwaki?

5 Kya lwatu, omuntu awona emitawaana singa okutya Katonda kumuyamba obutakola kibi. Bwe kityo bwe kyali ku Dawudi. Lumu, bwe yali awondera Dawudi ng’ali n’abalwanyi enkumi ssatu, Sawulo yayingira mu mpuku​—mu mpuku y’emu Dawudi mwe yali yeekwese n’abasajja be. Basajja ba Dawudi baamukubiriza atte Sawulo. Baamugamba nti, Yakuwa yali agabudde omulabe we mu mikono gye. Dawudi yasooba n’asala ku kirenge ky’ekyambalo kya Sawulo. Olw’okuba Dawudi yali atya Katonda, n’ekikolwa ekyo ekitaali kya kabi kyamuleetera okulumizibwa omuntu we ow’omunda. Dawudi yagamba abasajja be nti: “Mukama akiddize eri nze okukola [akabi ku] mukama wange Mukama gwe yafukako amafuta.”b​—1 Samwiri 24:1-7.

6 Ku mulundi omulala, Sawulo ne basajja be baasiisira mu kifo ekimu ekiro, era bonna beebaka “[olw’]otulo otungi otwava eri Mukama.” Dawudi ne kizibwe we Abisaayi eyali omuvumu, baayingira wakati mu lusiisira ne bayimirira awali Sawulo eyeebase. Abisaayi yayagala okuttirawo Sawulo. Dawudi yaziyiza Abisaayi, ng’amugamba nti: “Ani ayinza okugolola omukono gwe ku oyo Mukama gwe yafukako amafuta n’aba nga taliiko musango?”​—1 Samwiri 26:9, 12.

7. Kiki ekyaziyiza Dawudi okwonoona?

7 Lwaki Dawudi teyatta Sawulo emirundi ebiri bwe yafuna omukisa okumutta? Kubanga yali atya Yakuwa okusinga Sawulo. Olw’okutya Katonda, Dawudi yali mwetegefu okubonaabona mu kifo ky’okwonoona. (Abaebbulaniya 11:25) Yali mukakafu nti Yakuwa asobola okulabirira abantu be era nti naye kennyini, asobola okumulabirira. Dawudi yali akimanyi nti okugondera Katonda n’okumwesiga kyandimuleetedde essanyu n’emikisa, ate ng’okusuula Katonda omuguluka kwandimuviiriddeko obutasiimibwa mu maaso ge. (Zabbuli 65:4) Ate era, yali akimanyi nti Katonda yandituukirizza ekisuubizo kye eky’okumufuula kabaka era nti mu kiseera kye ekigereke yandizikirizza Sawulo.​—1 Samwiri 26:10.

Okutya Katonda Kuleeta Emikisa

8. Kiki kye tuyigira ku ngeri Dawudi gye yeeyisaamu ng’ali mu bizibu?

8 Ng’Abakristaayo, tusuubira okusekererwa, okuyigganyizibwa n’okufuna ebigezo ebirala. (Matayo 24:9; 2 Peetero 3:3) Ebiseera ebimu, tuyinza n’okufuna obutategeeragana ne bakkiriza bannaffe. Kyokka, tumanyi nti Yakuwa alaba buli kimu, awuliriza okusaba kwaffe era mu kiseera ekituufu ajja kutereeza ensonga. (Abaruumi 12:17-21; Abaebbulaniya 4:16) N’olw’ekyo, mu kifo ky’okutya abatuziyiza, tutya Katonda era ne tumulindirira okutununula. Okufaananako Dawudi, tetuwoolera ggwanga era tetusuula muguluka misingi gya butuukirivu olw’okwewala okubonaabona. Mu nkomerero, kino kivaamu essanyu. Naye mu ngeri ki?

9. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri okutya Katonda gye kuleeta essanyu wadde nga tuyigganyizibwa.

9 Omuminsani omu aweerezza ekiseera ekiwanvu mu Afirika agamba nti: “Ndowooza ku maama omu ne muwala we omutiini abaagaana okugula kaadi z’ekibiina eky’eby’obufuzi olw’okuba bo ng’Abakristaayo tebeenyigira mu by’obufuzi. Ekibinja ky’abasajja kyabakuba era ne babalagira okuddayo eka. Nga baddayo eka, maama yagezaako okubudaabuda muwala we eyali akaaba olw’okuba yali tategedde nsonga lwaki ekyo kyali kibatuuseeko. Wadde tebaali basanyufu mu kiseera ekyo, baalina omuntu w’omunda omulungi. Oluvannyuma, baali basanyufu nnyo olw’okuba baali bagondedde Katonda. Singa baali baguze kaadi z’ekibiina, abasajja abo bandibadde basanyufu nnyo. Era bandibawadde eby’okunywa era ne bagenda nga babayimbira okutuusa lwe bandituuse eka. Naye omuwala ne maamawe singa bekkiriranya, tebandibadde basanyufu n’akamu.” Okutya Katonda kwabawonya enneewulira embi gye bandifunye nga bekkiriranyizza.

10, 11. Birungi ki ebyavaamu omukyala omu bwe yatya Katonda?

10 Okutya Katonda kusobola okutuleetera essanyu wadde nga twolekaganye n’ebigezo ebiva mu kussa ekitiibwa mu bulamu. Mary bwe yali olubuto olw’okusatu, omusawo yamukubiriza okuluggyamu. Yamugamba nti: “Embeera yo si nnungi n’akamu. Oyinza okufuna obuzibu obw’amaanyi era n’ofa mu ssaawa 24. N’omwana naye ayinza okufa. Ka kibe ki ekibaawo, tetuyinza kukukakasa nti omwana wo ajja kuba mulamu.” Mary yali asoma Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa naye nga tannabatizibwa. Mary yagamba nti: “Wadde kyali kityo, nnali nsazeewo okuweereza Yakuwa era nga ndi mumalirivu okumugondera ka kibe ki ekibaawo.”​—Okuva 21:22, 23.

11 Mu kiseera we yabeerera olubuto, Mary yeeyongera okusoma Baibuli n’okulabirira ab’omu maka ge. Mu nkomerero yazaala. Mary yagamba nti: “Teyayanguyirwa kuzaala mwana oyo ng’ababiri abaasooka, naye tewaaliwo buzibu bw’amaanyi.” Okutya Katonda kwasobozesa Mary okuba n’omuntu ow’omunda omulungi era mangu ddala yabatizibwa. Omwana bwe yagenda akula, naye yayiga okutya Yakuwa era kati aweereza ku emu ku ofiisi y’ettabi ery’Abajulirwa ba Yakuwa.

‘Weenywereze mu Yakuwa’

12. Okutya Katonda kwanyweza kutya Dawudi?

12 Okutya Dawudi kwe yalina eri Yakuwa tekwakoma ku kumuziyiza kukola kikyamu kyokka naye era kwamusobozesa n’okwoleka obuvumu n’amagezi ng’ali mu mbeera enzibu. Okumala omwaka gumu n’emyezi ena, Dawudi n’abasajja be badduka Sawulo ne beekweka e Zikulagi mu nsi y’Abafirisuuti. (1 Samwiri 27:5-7) Lumu abasajja nga tebali mu kibuga, Abamaleki baakizinda ne bakyokya ne batwala bakyala baabwe, abaana, era n’ebisibo byonna. Bwe baakomawo ne bategeera ekyali kibaddewo, Dawudi n’abasajja be baakaaba. Ennaku gye baalina yabaviirako okusunguwala era basajja ba Dawudi ne baagala n’okumukuba amayinja. Wadde Dawudi yanakuwala nnyo, teyaggwaamu maanyi. (Engero 24:10) Okutya Katonda kwamuleetera okwesiga Yakuwa era ne “yeenywereza mu Mukama Katonda.” Awamu n’obuyambi bwa Katonda, Dawudi n’abasajja be baawondera Abamaleki era ne bakomyawo byonna bye baali babanyazeeko.​—1 Samwiri 30:1-20.

13, 14. Okutya Katonda kwayamba kutya Omukristaayo omu okusalawo obulungi?

13 Abaweereza ba Katonda leero nabo beesanga mu mbeera ezibeetaagisa okwesiga Yakuwa n’okwoleka obuvumu. Ng’ekyokulabirako lowooza ku Kristina. Ng’akyali muvubuka, Kristina yasoma Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Yayagala okukuguka mu kukuba piyano ku myoleso era yafuba nnyo okutuuka ku kiruubirirwa kye. Okugatta ku ekyo, yali atya okubuulira. N’olwekyo, yatya okubatizibwa kubanga yali atya okwetikka obuvunaanyizibwa bwe yandibadde nabwo oluvannyuma lw’okubatizibwa. Kristina bwe yeeyongera okusoma Ekigambo kya Katonda yeeyongera okulaba amaanyi gaakyo. Bwe yeeyongera okuyiga okutya Katonda, yakitegeera nti Yakuwa asuubira abaweereza be okumwagala n’omutima gwabwe gwonna, n’obulamu bwabwe bwonna, n’amagezi gaabwe gonna n’amaanyi gaabwe gonna. (Makko 12:30) Kino kyamuleetera okwewaayo eri Yakuwa n’okubatizibwa.

14 Kristina yasaba Yakuwa okumuyamba okukulaakulana mu by’omwoyo. Kristina agamba nti: “Nnali nkimanyi nti omukubi wa piyano ku mwoleso kimwetaagisa okutambula buli kiseera era n’okukuba piyano ku myoleso nga 400 buli mwaka. N’olwekyo, nnasalawo okufuuka omusomesa nsobole okweyimirizaawo mu by’ensimbi era n’okuweereza ng’omubuulizi w’ekiseera kyonna.” Mu kiseera ekyo, Kristina yali amaze okukolerwa enteekateeka okukuba piyano mu lujjudde mu kizimbe ekisingayo okuba ekitutumufu mu nsi yaabwe. Agamba nti: “Ogwo gwe mwoleso gwe nnasembayo okukubirako piyano.” Oluvannyuma Kristina yafumbirwa omukadde mu kibiina. Bonna kati baweereza mu ofiisi y’ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa. Musanyufu nti Yakuwa yamuwa amaanyi n’asobola okusalawo obulungi era kati asobola okukozesa ebiseera bye n’amaanyi ge okumuweereza.

Obusika obw’Omuwendo

15. Kiki Dawudi kye yayagala okuwa abaana be era yakikola atya?

15 Dawudi yagamba nti: “Mujje, mmwe abaana abato mumpulire: naabayigirizanga okutya Mukama.” (Zabbuli 34:11) Nga taata, Dawudi yali ayagala okuwa abaana be obusika obw’omuwendo​—okutya Yakuwa. Mu bigambo ne mu bikolwa, Dawudi yalaga nti Yakuwa teyali Katonda atwetaaza ebingi era ow’entiisa oba anoonyereza ensobi, naye nti yali Taata ow’okwagala, afaayo, era asonyiwa abaana be ab’oku nsi. Dawudi yabuuza nti ‘Ani ayinza okunoonyereza ensobi?’ Oluvannyuma ng’alaga nti mukakafu nti Yakuwa tanoonyereza nsobi zaffe, yagamba: “Onnongoose mu bibi ebikisibwa.” Dawudi yali mukakafu nti singa afuba nnyo nga bw’asobola, Yakuwa yandisiimye ebirowoozo bye n’ebigambo bye.​—Zabbuli 19:12, 14.

16, 17. Abazadde bayinza batya okuyigiriza abaana baabwe okutya Yakuwa?

16 Dawudi yateerawo abazadde ab’omu kiseera kino ekyokulabirako ekirungi. Ralph, aweerereza awamu ne muganda we ku ofiisi y’ettabi lya Abajulirwa ba Yakuwa agamba nti: “Bazadde baffe baatukuza mu ngeri eyatwagazisa amazima. Bwe twali tukyali bato, twanyumizanga wamu ne bazadde baffe emboozi ezikwata ku mirimu gy’ekibiina era naffe ne twagala nnyo amazima nga bo. Baatuyamba okukitegeera nti naffe tusobola okukola ebintu ebirungi mu buweereza bwa Yakuwa. Mu butuufu, okumala emyaka, amaka gaffe gaali mu nsi awali obwetaavu bw’ababuulizi b’Obwakabaka obusingako, ne gayamba mu kutandikawo ebibiina ebippya.”

17 “Ekyatuyamba okunywerera mu kkubo eggolokofu si ge mateeka amakakali, naye olw’okuba abazadde baffe Yakuwa baamutwala nga Katonda wa ddala, wa kisa, era mulungi nnyo. Baayagala nnyo okumanya Yakuwa mu ngeri esingawo era n’okumusanyusa, era mu ngeri eyo baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi eky’okutya Katonda n’okumwagala. Ne bwe twakolanga ekikyamu, bazadde baffe tebaatuleeteranga kuwulira nti Yakuwa takyatwagala wadde okutukugira mu ngeri etasaanira. Emirundi mingi, baayogeranga naffe mu bukkakkamu, ng’oluusi Maama ebiyengeyenge bimujja mu maaso ng’agezaako okututuuka ku mutima. Ebyavaamu byali birungi. Okuyitira mu bigambo n’ebikolwa bya bazadde baffe, twayiga nti kirungi okutya Yakuwa era nti okuba Abajulirwa be kintu kya ssanyu so si mugugu.”​—1 Yokaana 5:3.

18. Kiki kye tunaafuna bwe tunaatya Katonda ow’amazima?

18 Mu ‘bigambo bya Dawudi eby’enkomerero’ tusoma nti: “Omuntu afuga abantu n’obutuukirivu, afuga ng’atya Katonda, aliba ng’omusaana gw’enkya enjuba bw’evaayo.” (2 Samwiri 23:1, 3, 4) Kirabika Sulemaani, mutabani wa Dawudi era omusika we, yategeera amakulu g’ebigambo ebyo kubanga yasaba Yakuwa okumuwa ‘omutima omuwulize’ n’obusobozi ‘bw’okwawula ebirungi n’ebibi.’ (1 Bassekabaka 3:9) Sulemaani yakitegeera nti okutya Yakuwa kuleeta amagezi n’essanyu. Oluvannyuma yawumbawumbako ekitabo ky’Omubuulizi n’ebigambo bino: “Enkomerero ya byonna, buli kimu nga kiwuliddwa, kye kino: Tyanga Katonda ow’amazima era kwata ebiragiro bye. Kubanga kino bwe buvunaanyizibwa bwonna obw’omuntu. Katonda ow’amazima kennyini ajja kusalira omusango buli mulimu gwonna okusinziira ku buli kintu kyonna ekikwekeddwa, oba nga kirungi oba nga kibi.” (Omubuulizi 12:13, 14) Singa tugoberera okubuulira okwo, mazima ddala tujja kukitegeera nti “okwetowazanga n’okutya Mukama” tebireeta magezi na ssanyu kyokka, naye era bireeta “obugagga n’ekitiibwa n’obulamu.”​—Engero 22:4.

19. Kiki ekinaatuyamba okuyiga “okutya Katonda”?

19 Okusinziira ku byokulabirako by’omu Baibuli n’eby’omu kiseera kyaffe, tulabye nti okutya Katonda kya muganyulo nnyo mu bulamu bw’abaweereza ba Yakuwa ab’amazima. Okutya ng’okwo tekukoma ku kutuziyiza kukola ekintu ekinyiiza Kitaffe w’omu ggulu kyokka, naye era kutuwa amaanyi n’obuvumu okwaŋŋanga abalabe baffe n’okugumira ebizibu bye tuyinza okwolekagana nabyo. N’olwekyo, ffenna abato n’abakulu ka tufube okusoma Ekigambo kya Katonda, okufumiitiriza ku bye tuyiga, n’okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa nga tumutuukirira mu kusaba obutayosa. Mu kukola ekyo tetujja kukoma ku kuzuula ‘okumanya okukwata ku Katonda’ naye era tujja kuyiga “okutya Mukama.”​—Engero 2:1-5.

[Obugambo obuli wansi]

a Erinnya likyusiddwa.

b Ebyo Dawudi bye yayitamu biyinza okuba nga bye byamuviirako okuyiiya Zabbuli 57 ne 142.

Osobola Okunnyonnyola?

Okutya Katonda kuyinza kutya

• okuyamba omuntu okuddamu okusiimibwa Katonda oluvannyuma lw’okwonoona?

• okutuleetera essanyu nga tugezesebwa oba nga tuyigganyizibwa?

• okutuyamba okukola Katonda by’ayagala?

• okuba obusika obw’omuwendo eri abaana baffe?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]

Okutya Yakuwa kwaziyiza Dawudi okutta Kabaka Sawulo

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]

Okutya Katonda busika bwa muwendo abazadde bwe bayinza okuwa abaana baabwe

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share