“Teweerabiranga Kubuulira Nnyumba ku Nnyumba”
Byayogerwa Jacob Neufeld
“Ka kibe ki, teweerabiranga kubuulira nnyumba ku nnyumba.” Nga bwe nfumiitiriza ku bigambo ebyo, nnatambula mayiro ssatu ne ŋŋenda ku kyalo ekirinaanye ekyaffe. Kyokka bwe nnatuukayo, nnatya okutandika okubuulira. Bwe nnamala okubirowoozaamu, nnagenda mu kibira ne nsaba Katonda annyambe mbeere muvumu. Oluvannyuma nnagenda ku nnyumba esooka ne ntandika okubuulira.
KIKI ekyandeetera okugenda ku kyalo ekyo ekiri mu ddungu ly’omu Paraguay ngezeeko okubuulira nga ndi nzekka? Ka ndukuviire ku ntono. Nnazaalibwa mu Noovemba 1923, ku kyalo Kronstalʹ eky’omu Ukraine, mu kitundu ky’Abamenoni (Mennonites) abaava mu Bugirimaani. Ng’emyaka gya 1700 ginaatera okuggwako, Abamenoni baava mu Bugirimaani ne basengukira mu Ukraine, era mu nsi eyo baali bakkirizibwa okusinza nga bwe baagala (naye nga tebalina kugezaako kukyusa balala), okuba n’abakulembeze abaabwe, era nga tebawalirizibwa kuyingira magye.
Ekibiina ky’Abakominisiti bwe kyajja mu buyinza, eddembe eryo lyonna lyabaggibwako. Ng’emyaka gya 1920 ginaatera okuggwako, faamu z’Abamenoni ennene zaabaggibwako ne zifuulibwa za bantu bonna. Abantu baawalirizibwanga okukola gavumenti ky’eyagala basobole okuweebwa emmere, era abo abaagezaako okwegugunga baatulugunyizibwanga. Mu myaka gya 1930, abasajja bangi baakwatibwa ab’ekitongole ekikessi ekyayitibwanga KGB (Soviet State Security Committee). Okusinga baakwatibwanga kiro, era abasajja baasigala batono ddala ku byalo ebisinga obungi. Ne kitange bw’atyo bwe yakwatibwa mu 1938, nga nnina emyaka 14, era saddayo kumulabako wadde okumuwuliza. Waayita emyaka ebiri, muganda wange omukulu naye n’akwatibwa.
Omwaka gwa 1941 we gwatuukira, ng’amagye ga Hitler gawambye Ukraine. Ffe kino twakiraba ng’obununuzi okuva mu bufuzi bw’Abakominisiti. Naye lumu Abayudaaya okuva mu maka munaana mulamba ku kyalo kyaffe baabuzibwawo bonna. Muli nnatandika okwebuuza lwaki ebintu ng’ebyo byali bikolebwa?
Obwesigwa Bumponya
Mu 1943, amagye ga Bugirimaani gaawalirizibwa okuddayo, era gaatwala Abagirimaani bangi, nga mu abo mwe mwali n’ab’omu maka gaffe abaali basigaddewo, bayambe mu lutalo. Olwo nnali nnyingidde mu magye, nga ndi mu kibinja kya Bugirimaani ekyayitibwanga SS (Schutzstaffel, ekibinja kya Hitler eky’enjawulo) ekyali mu Romania. Mu kiseera ekyo, waaliwo ekintu ekyakwata ennyo ku bulamu bwange wadde nga tekyali kikulu.
Omuduumizi w’ekibinja kyaffe yasalawo okungezesa alabe oba ndi mwesigwa. Yandagira ntwale yunifoomu ye bajooze. Mu nsawo emu yali ataddemu ssente. Bwe nnaziraba ne nzimutwalira, yagamba nti ye talina kye yali alese mu nsawo ya yunifoomu. Nnanywerera ku kye nnali mugambye nti ssente ezo nnali nzisanze mu nsawo ye. Mu bbanga ttono, nnafuulibwa omumyuka we, era nnaweebwa obuvunaanyizibwa obw’okugaba abasirikale, okukuuma ensimbi z’ekibinja kyaffe, era ne mpeebwa n’emirimu egy’omu ofiisi.
Lumu ekiro, amagye ga Russia gajja ne gawamba ekibinja kyaffe kyonna okuggyako nze; omuduumizi waffe yali andese mu ofiisi mbeeko bye mmaliriza. Okusinziira ku kye mmanyi, nze nzekka atawambibwa, era kyali bwe kityo olw’okuba nnali ndaze obwesigwa ne mpeebwa omulimu ogwo ogw’enjawulo. Singa tekyali ekyo, nange sandiruwonye.
Bwe kityo, mu 1944, bandagira mpummule okutuusa nga bampise, era nnaddayo eka ndabe ku maama wange. Nga bwe nninda okumpita, nnasalawo okuyiga okuzimba, era kino kyannyamba nnyo mu myaka egyaddirira. Mu Apuli 1945, amagye g’Amerika gaawamba ekibuga kyaffe ekyali okumpi ne Magdeburg. Waayita omwezi gumu gwokka olutalo ne luggwa. Twali tukyali balamu, era ebiseera byaffe eby’omu maaso byalabika nga bitangaavu.
Lwali lumu mu Jjuuni, ne tuwulira nga balangirira nti, “Amagye g’Amerika gaagenze ekiro, era aga Russia ga kutuuka leero ku ssaawa ttaano ez’oku makya.” Ffenna emitima gyatwennyika kubanga twali tugenda kuddamu okufugibwa Abakominisiti. Amangu ago, nze ne mutabani wa taata wange omuto twasala amagezi tusobole okudduka. Mu bbanga ttono, twali tumaze okusala ne tudda ku luuyi lw’Abamerika. Wadde nga kyali kizibu era nga kya kabi, mu Noovemba twasobola okuddayo ku luuyi lwa Russia ne tuggyayo abantu baffe.
“Wuliriza n’Obwegendereza era Ogeraageranye”
Twasenga mu Bugirimaani eyayitibwanga ow’Ebuvanjuba. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, nnatandika okwagala ennyo okusoma Baibuli. Buli lwa Ssande, nnagendanga mu kibira ne nsoma Baibuli, naye nga bye nsoma sibitegeera, era nga birabika byaliwo dda nnyo. Mu kiseera kye kimu nnali nsoma katekiisimu nsobole okubatizibwa mu nzikiriza y’Abamenoni. Kyambuukako bwe nnasoma mu katabo ka katekiisimu nti, “Kitaffe Katonda, Omwana Katonda, ne Mwoyo Mutukuvu Katonda,” nga waliwo n’ekibuuzo nti: “Bakatonda bali basatu?” Eky’okuddamu kyali kigamba nti: “Nedda, abasatu bano bali omuntu omu.” Bwe nnabuuza omusomesa engeri kino gye kyali kisobokamu yanziramu nti, “Muvubuka, si kya magezi kulowooza nnyo ku bintu bino; abamu batabuse emitwe nga bagezaako okubirowoozaako ennyo.” Amangu ago nnasalawo nti sigenda kubatizibwa.
Nga wayise ennaku ntono, nnawulira omuntu ng’ayogera ne muwala wa taata wange omuto. Nnasikirizibwa ne ŋŋenda mbegattako, era nnamubuuza ebibuuzo nga biibyo. Saategeera mu kiseera ekyo nti oyo ye yali Erich Nikolaizig, omu ku bakaawonawo okuva mu nkambi y’abasibe ey’e Wewelsburg. Yambuuza obanga nnali njagala okutegeera Baibuli. Bwe nnakkiriza, yankakasa nti byonna bye yali agenda okunjigiriza nnali nja kubisanga mu Baibuli yange.
Bwe yali yaakankyalira emirundi nga giigyo, Erich yampita ku lukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa, olulabika nga lwe lwali lusoose bukya lutalo luggwa. Olukuŋŋaana olwo lwansanyusa nnyo era buli kyawandiikibwa ekyasomebwa oba ekyayogerwako nnakiwandiika. Kyokka, nnakiraba mangu nti okuyiga Baibuli kyali kijja kundeetera obuvunaanyizibwa obulala, era nnasalawo okugireka. Ekirala ekyanzibuwalira okutegeera kwe kuba nti waliwo eddiini emu yokka ey’amazima. Erich bwe yalaba nga nsazeewo okuddayo mu ddiini yange, n’ampa amagezi gano, “Wuliriza n’obwegendereza era ogeraageranye.”
Oluvannyuma lw’okwogera n’abasomesa b’omu ddiini yange emirundi ebiri, nnakizuula nti bye bayigiriza baali tebabitegeera, era nti baali tebamanyi mazima. Nnawandiikira abakulembeze b’eddiini abawerako ne mbabuuza ebibuuzo ebikwata ku Baibuli. Omu yanziramu nti, “Tolina buyinza bunoonyereza ku Byawandiikibwa kubanga tozaalibwanga mulundi gwa kubiri.”
Omuwala gwe nnali njogereza yampaliriza okusalawo ekintu ekyali ekizibu. Yali Mumenoni ow’ekiwayi ky’abo abagamba nti baazaalibwa omulundi ogw’okubiri. Ab’ewaabwe baali tebaagalira ddala Bajulirwa ba Yakuwa era baamuwaliriza okuŋŋamba nti singa siva ku ddiini eyo empya, yali agenda kundeka. Mu kiseera kino, amazima nnali ngategedde ekimala era nnali mmanyi bulungi eky’okukola—nnasalawo okumuleka.
Mu bbanga ttono Erich yakomawo okundaba. Yantegeeza nti waali wagenda kubaayo okubatiza mu wiiki eddako era yambuuza obanga nnali njagala okubatizibwa. Nnali nkitegedde nti Abajulirwa ba Yakuwa be baali bayigiriza amazima, era nnali nsazeewo okuweereza Yakuwa Katonda. Bwe ntyo, nnakkiriza era nnabatizibwa mu bbaafu ennene mu Maayi 1948.
Nnali nnaakabatizibwa, ab’ewaffe ne basalawo bagende babeere mu Paraguay, mu Amerika ow’Ebukiika Ddyo, era Maama yanneegayirira ŋŋende nabo. Eky’okugenda saakyagala kubanga nnali nkyetaaga okuyiga Baibuli n’okutendekebwa. Bwe nnakyalako ku ofiisi y’ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa e Wiesbaden, nnasangayo ow’oluganda ayitibwa August Peters. Yanzijukiza nti nze nnalina obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ab’eka. Naye yankuutira nti: “Ka kibe ki, teweerabiranga kubuulira nnyumba ku nnyumba. Bw’olikyerabira, oliba ofuuse ng’ab’amadiini ga Kristendomu.” Na buli kati amagezi ago nkyagatwala nga makulu era mbuulira “nnyumba ku nnyumba,” oba luggi ku luggi.—Ebikolwa 20:20, 21, NW.
Mpitibwa “Nnabbi ow’Obulimba” mu Paraguay
Mu kiseera kitono nga mmaze okusisinkana August Peters, nnalinnya emmeeri n’ab’omu maka gaffe ne twolekera Amerika ow’Ebukiika Ddyo. Twasenga mu kitundu kya Paraguay ekiyitibwa Gran Chaco, nga nakyo kibeeramu Bamenoni. Nga wayise wiiki bbiri bukya tutuuka, nnatambula olugendo luli lwe nnayogeddeko ne ŋŋenda ku kyalo ekyali kirinaanye ekyaffe mbuulire nga ndi nzekka. Oluvuuvuumo lwayita mangu nti mu basenze mwali mujjiddemu “nnabbi ow’obulimba.”
Eky’okuba nti nnali nnayiga okuzimba kyannyamba nnyo mu kiseera ekyo. Abasenze bonna baali beetaaga ennyumba, era ng’ennyumba ezo zaali zizimbibwa na matoffaali ne ziserekebwa n’essubi. Emyezi omukaaga egyaddirira, bangi baali banneetaaga okubazimbira era nnakozesanga omukisa ogwo okubabuulira. Abantu bampisanga bulungi, naye ennyumba zaabwe olwaggwanga, nga tebaagala kuddayo kundabako.
Ng’ebyo bikyali awo, emmeeri zaali zeeyongera kuleeta Bamenoni abanoonyi b’obubudamu okuva e Bugirimaani. Mu abo mwe mwajjira Katerina Schellenberg, omuwala eyali abaddeko n’Abajulirwa ba Yakuwa era ng’akirabye nti bye bayigiriza ge mazima. Wadde nga yali tannabatizibwa, bwe yali ku mmeeri yeeyogerako ng’Omujulirwa wa Yakuwa. Ekyo kyamuganyisa okugenda okubeera mu kitundu ky’Abagirimaani. Olw’okuba yali asigadde yekka mu Asunción, ekibuga ekikulu ekya Paraguay, yafuna amaka w’akola, yayiga okwogera Olusipeyini era yazuula Abajulirwa n’abatizibwa. Mu Okitobba 1950, omuwala oyo eyali omuvumu yafuuka mukyala wange. Annyambye nnyo mu ebyo byonna bye tuyiseemu okuva olwo.
Mu bbanga ttono, nnafuna ssente ne ngula embalaasi bbiri n’ekigaali, ne mbikozesa mu mulimu gw’okubuulira, nga nfuba obuteerabira magezi agampebwa Ow’oluganda Peters. Mu kiseera ekyo, mwannyinaze eyali afuuse Omujulirwa yatwegattako. Ffenna twazuukukanga ku ssaawa kkumi ez’oku makya ne tutambulira essaawa nnya, ne tubuulira okumala essaawa nga bbiri oba ssatu, olwo ne tudda eka.
Nnali nsomyeko mu bitabo byaffe nti wabaawo olukuŋŋaana olw’okwogera eri abantu, era bwe ntyo nnaluteekateeka. Olw’okuba nnali singendako mu nkuŋŋaana za kibiina, nnateekateeka mu ngeri gye nnalowooza nti y’esaanira era ne njogera ku Bwakabaka bwa Katonda. Waaliwo abantu munaana mu lukuŋŋaana olwo, era ekyo kyanyiizza nnyo abakulembeze b’Ekkanisa y’Abamenoni. Bwe kityo, baatandikawo kaweefube w’okuggya ku bantu ebitabo byonna ebinnyonnyola Baibuli bye twali tubawadde, era baabalagira obutaddamu wadde okutubuuza.
Nnayitibwa bukubirire ngende ku ofiisi y’ekitebe ekikulu eky’Abamenoni gye nnasanga omukulu waabwe wamu ne bannaddiini abalala babiri abaali bavudde e Canada abaambuuza akana n’akataano okumala essaawa eziwerako. Oluvannyuma, omu ku bo yagamba nti, “Muvubuka, oli wa ddembe okusigala n’enzikiriza yo, naye olina okutukakasa nti tojja kuddayo kwogera na muntu yenna bikwata ku nzikiriza yo.” Ekyo nnali siyinza kukikkiriza. Era olw’ensonga yo, bandagira nve mu kitundu kyabwe, mbu baali tebaagala “nnabbi wa bulimba” kubeera wakati mu “luganda lwabwe olw’abantu abeesigwa.” Bwe nnagaana, beeyama okusasula ssente ezandintutte wamu n’ab’omu maka gange bonna. Naye byonna nnabigaana.
Mu mwaka ogwo 1953, nnagenda ku lukuŋŋaana olunene mu kibuga Asunción. Eyo gye nnayogerera ne Ow’oluganda Nathan Knorr, eyali avudde ku kitebe ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa e Brooklyn mu New York. Yampa amagezi nsenguke nzire mu kibuga ekikulu nnegatte ku kabinja k’abaminsani abaali babuulira omwo, olw’okuba okubuulira mu kitundu ky’Abamenoni kwali tekugenda bulungi.
Tukulembeza Obwakabaka
Mu kiseera ekyo, Paraguay yonna yalimu Abajulirwa nga 35 bokka. Wadde ng’eky’okugenda okubeera mu kibuga tekyamusanyusa, mukyala wange yakkiriza tugende tuweerereze eyo. Mu 1954, nze ne Katerina—nga tuli bwababiri ate nga tuzimba mu biseera byaffe eby’eddembe—twazimba ennyumba ey’amatoffaali. Tetwayosanga nkuŋŋaana, era buli wiikendi twagendanga okubuulira abantu ebikwata ku Baibuli.
Emu ku nkizo ze nnafuna kwe kuwerekeranga omulabirizi w’ekitundu nkole ng’omutaputa we mu bitundu bya Paraguay omwali abantu aboogera Olugirimaani. Olw’okuba nnali simanyi bulungi Lusipeyini, nnazibuwalirwa nnyo lwe nnasooka okutaputa bye yayogera okubizza mu Lugirimaani, era siweebwangako mulimu gunzibuwalira kutuuka awo.
Olwa mukyala wange okulwala, twasalawo ne tugenda e Canada mu 1957. Ate mu 1963, twakyusa ne tugenda tubeera mu Amerika. Naye yonna gye tubadde tugenda, tufubye okukulembeza omulimu gw’Obwakabaka mu bulamu bwaffe. (Matayo 6:33) Nneebaza nnyo Yakuwa Katonda olw’okunnyamba ne njiga amazima okuva mu Kigambo kye, Baibuli, nga nkyali muvubuka. Okuba nti nnatendekebwa mu by’omwoyo kinnyambye nnyo mu bulamu bwange bwonna!
Nfunye enkizo ya maanyi okuyamba abalala okuyiga amazima ga Baibuli agandeetedde essanyu eringi bwe lityo. Ekisinze okunsanyusa kwe kuba nti abaana bange bonna n’abazzukulu baganyuddwa mu kutendekebwa kwa Baibuli okuviira ddala mu buto bwabwe. Bonna bagoberedde amagezi agampebwa Ow’oluganda Peters, eyagamba nti, “Ka kibe ki, teweerabiranga kubuulira nnyumba ku nnyumba.”
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 30]
Ekisinze okunsanyusa kwe kuba nti abaana bange bonna n’abazzukulu baganyuddwa mu kutendekebwa kwa Baibuli okuviira ddala mu buto bwabwe
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula28, 29]
Nze ne Katerina nga tunaatera okufumbiriganwa mu 1950
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Nga tuli awaka n’omwana waffe omubereberye e Paraguay mu 1952
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Nga ndi n’ab’enju yange leero
[Ensibuko y’ekifaananyi]
Photo by Keith Trammel © 2000
[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]
Photo by Keith Trammel © 2000