Weewale Okutwalirizibwa Endowooza z’Abalala
ABANTU mu bitundu by’ensi eby’enjawulo balina endowooza ezaawukana bwe kituuka ku ebyo ebitwalibwa okuba ebituufu n’ebikyamu, ebiweesa ekitiibwa n’ebiswaza. Ate era endowooza zaabwe zikyuka oluvannyuma lw’ekiseera. N’olwekyo, bwe tuba tusoma ku bintu ebyaliwo edda ebyogerwako mu Byawandiikibwa, twetaaga okwetegereza endowooza n’empisa z’abantu abaaliwo mu biseera bya Baibuli mu kifo ky’okugoberera obugoberezi ebyo bye tuba tusoma.
Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bintu bino ebibiri ebyogerako ennyo mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani—ekitiibwa n’okuswala. Okusobola okutegeera obulungi ebyawandiikibwa ebyogera ku kitiibwa n’okuswala, tusaanidde okwetegereza endowooza abantu abaaliwo mu kiseera ekyo gye baalina ku bintu ebyo.
Empisa z’Abantu mu Kyasa Ekyasooka
Omwekenneenya omu agamba nti, “Abayonaani, Abaruumi, n’Abayudaaya baayagalanga nnyo okuweebwa ekitiibwa era beewalanga nnyo okuswala. Abantu baakolanga kyonna ekisoboka okulaba nti baweebwa ekitiibwa, bafuna erinnya eddungi, batutumuka, era baganja.” Okuva bwe kiri nti baali baagala nnyo ebintu ebyo, kyabanga kyangu okutwalirizibwa endowooza z’abalala.
Mu bantu ng’abo, oyo eyabanga n’ekifo ekya waggulu era ng’aweebwa ekitiibwa yatwalibwanga ng’atuuse ku buwanguzi mu bulamu. Omuntu okuba ow’ekitiibwa kyansinziiranga nnyo ku ngeri abalala gye baamutwalangamu. Omuntu okuweebwa ekitiibwa yalinanga okweyisa ng’abalala bwe bamusuubira okweyisa. Era omuntu yaweebwanga ekitiibwa okusinziira ku by’obugagga bye yabanga nabyo, ekifo kye yalina, n’amaka ge yavangamu. Ate era omuntu yaweebwanga ekitiibwa olw’ebikolwa bye ebirungi oba olw’okukola ebintu ebisukulumye ku by’abalala. Ku luuyi olulala, omuntu yaswalanga singa yakolanga ebintu abantu bye babanga tebamusuubira kukola. Omuntu okuswala nakyo kyansinziiranga nnyo ku ngeri abalala gye baamutwalangamu.
Yesu bwe yayogera ku muntu okuweebwa ‘ekifo ekisooka’ oba ‘ekifo ekisembayo’ ku kijjulo, yali ayogera ku kuweebwa ekitiibwa oba okuswala okusinziira ku mpisa eyaliwo mu kiseera kye. (Luk. 14:8-10) Emirundi ebiri abayigirizwa ba Yesu baakaayana ku “ani ku bo [eyali] asinga obukulu.” (Luk. 9:46; 22:24) Baayoleka endowooza y’abantu abaaliwo mu kiseera ekyo. Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya abaalina omwoyo gw’okuvuganya era abaali ab’amalala baakitwalanga nti ebintu Yesu bye yayigirizanga byali bibamalamu ekitiibwa. Baagezangako okumuwakanya mu lujjudde nga baagala okulaga nti ba waggulu ku ye, naye ekyo tekyavaamu kalungi konna.—Luk. 13:11-17.
Ekintu ekirala Abayudaaya, Abayonaani, n’Abaruumi abaaliwo mu kyasa ekyasooka kye baatwalanga ng’eky’obuswavu kwe “kukwatibwa n’okuvunaanibwa mu lujjudde olw’okukola ekintu ekikyamu.” Omuntu okusibibwa mu kkomera kyatwalibwanga ng’ekintu eky’obuswavu. Omuntu okuyisibwa bw’atyo kyamuswazanga nnyo eri mikwano gye, ab’eŋŋanda ze, n’eri abantu bonna okutwalira awamu—ka kibe nti yabanga azzizza omusango oba nedda. Ekyo kyaleetanga ekivume ku linnya lye era kyayonoonanga n’enkolagana ye n’abalala. Ate era omuntu yaswalanga nnyo bwe yayambulwanga oba n’akubibwa mu lujjudde. Kino kyaviirangako omuntu okukyayibwa n’okusekererwa abalala, era kyamumalangamu nnyo ekitiibwa.
Okubonereza omuntu ng’awanikibwa ku muti ogw’okubonaabona kye kintu ekyali kisingayo okuba eky’obuswavu. Omwekenneenya omu ayitibwa Martin Hengel agamba nti kino kye ‘kibonerezo ekyaweebwanga abaddu. Era okubonerezebwa mu ngeri eyo kyali kya buswavu nnyo era kyali kya bulumi.’ Ab’eŋŋanda ne mikwano gy’omuntu eyawanikibwanga ku muti ogw’okubonaabona baawalirizibwanga okumwegaana. Okuva bwe kiri nti Kristo yattibwa mu ngeri eyo, abo bonna abaali baagala okufuuka Abakristaayo mu kyasa ekyasooka baalinanga okugumira okusekererwa. Kirabika nti abantu abasinga baakitwalanga nti tekyali kya magezi kuba mugoberezi wa muntu eyali akomereddwa ku muti. Pawulo yawandiika nti: “Ffe tubuulira ebikwata ku Kristo eyakomererwa, eri Abayudaaya nkonge eyeesittaza, ate eri amawanga busirusiru.” (1 Kol. 1:23) Abakristaayo baakola ki okugumira embeera eyo?
Emitindo gya Njawulo
Abakristaayo mu kyasa ekyasooka baagonderanga amateeka era baafubanga nnyo okwewala okukola ebintu ebikyamu ebyandibaleetedde okuswala. Omutume Peetero yawandiika nti: “Waleme kubaawo n’omu abonaabona olw’okuba mutemu, oba mubbi, oba mukozi wa bubi, oba olw’okweyingiza mu nsonga z’abalala.” (1 Peet. 4:15) Kyokka Yesu yagamba nti abagoberezi be bandiyigganyiziddwa olw’erinnya lye. (Yok. 15:20) Peetero yawandiika nti: “Singa [omuntu] abonyaabonyezebwa olw’okuba Mukristaayo, alemenga kukwatibwa nsonyi naye agulumizenga Katonda.” (1 Peet. 4:16) Omuntu okusobola obutakwatibwa nsonyi olw’okugoberera Kristo yalinanga okwewala okutwalirizibwa endowooza z’abantu abaaliwo mu kiseera ekyo.
Abakristaayo tebakkirizanga ndowooza z’abalala kubatwaliriza. Abantu mu kyasa ekyasooka baakitwalanga nti kya busirusiru okutwala omuntu eyali akomereddwa okuba Masiya. Kirabika tekyali kyangu eri Abakristaayo okuziyiza ndowooza ng’eyo. Kyokka, okukkiriza nti Yesu ye yali Masiya kyali kibeetaagisa okumugoberera ne bwe bandibadde nga basekererwa. Yesu yagamba nti: “Buli ankwatirwa ensonyi n’ebigambo byange mu mulembe guno ogutali mwesigwa eri Katonda era omwonoonefu, n’Omwana w’omuntu alimukwatirwa ensonyi bw’alijjira mu kitiibwa kya Kitaawe ng’ali wamu ne bamalayika abatukuvu.”—Mak. 8:38.
Leero, tuyinza okwolekagana n’okupikirizibwa okusobola okugezesa okukkiriza kwaffe. Okupikirizibwa ng’okwo kuyinza okuva mu bayizi bannaffe, baliraanwa, oba bakozi bannaffe abayinza okwagala twenyigire mu bikolwa eby’obugwenyufu, oba mu bintu ebirala ebikyamu. Abantu ng’abo bayinza okugezaako okutuleetera okuwulira nti tuswala olw’okunywerera ku kituufu. Tusaanidde kweyisa tutya mu mbeera eyo?
Koppa Abo Abataatwala Kuswala ng’Ekintu Ekikulu
Okusobola okukuuma obugolokofu bwe eri Yakuwa, Yesu yattibwa mu ngeri eyasingayo okuba ey’obuswavu. “Yagumiikiriza omuti ogw’okubonaabona, okuswala n’atakutwala ng’ekikulu.” (Beb. 12:2) Abalabe ba Yesu baamukuba empi, baamuwandulira amalusu, baamwambula, baamukuba emiggo, baamukomerera, era baamuvuma. (Mak. 14:65; 15:29-32) Wadde nga baakola kyonna ekisoboka okumuleetera okuswala, ekyo Yesu teyakitwala nga kikulu. Atya? Teyakkiriza bintu ng’ebyo kumuleetera kwekkiriranya. Yesu yali akimanyi nti yali akyali wa muwendo mu maaso ga Yakuwa, era yali tanoonya kitiibwa kuva mu bantu. Wadde nga Yesu yattibwa ng’omuddu, Yakuwa yamuwa ekitiibwa ng’amuzuukiza era ng’amussa mu kifo ekya waggulu ennyo okuba oyo amuddirira. Abafiripi 2:8-11 wagamba nti: “[Kristo Yesu] yeetoowaza n’abeera muwulize okutuuka n’okufa, yee, okufiira ku muti ogw’okubonaabona. N’olw’ensonga eyo, Katonda yamugulumiza n’amuteeka mu kifo ekya waggulu ennyo, era mu kisa kye n’amuwa erinnya erisinga amalala gonna, buli vviivi ly’abo abali mu ggulu ne ku nsi ne wansi mu ttaka lifukamire olw’erinnya lya Yesu, era buli lulimi lwatule mu lujjudde nti Yesu Kristo ye Mukama waffe, Katonda Kitaffe alyoke aweebwe ekitiibwa.”
Ekyo tekitegeeza nti Yesu teyawulira bubi bwe yalowooza ku ky’okuttibwa mu ngeri ey’obuswavu. Kiteekwa okuba nga kyamuyisa bubi bwe yalowooza ku ngeri eky’okuttibwa ng’omuvvoozi gye kyali kiyinza okuleeta ekivume ku linnya lya Kitaawe. Yesu yasaba Yakuwa ekyo kireme kubaawo. Yasaba ng’agamba nti: “Nzigyako ekikopo kino.” Naye Yesu yakkiriza ebintu bikolebwe nga Katonda bw’ayagala. (Mak. 14:36) Yesu yasobola okusigala nga munywevu era eky’okuswala teyakitwala ng’ekintu ekikulu. Yakimanya nti abo bokka abaalina endowooza bangi gye baalina mu kiseera ekyo, be bandikitutte nti aswadde. Yesu teyakkiriza kutwalirizibwa ndowooza eyo.
Abayigirizwa ba Yesu nabo baakwatibwa era ne bakubibwa. Okuyisibwa mu ngeri eyo kyabaleetera okuswala mu maaso g’abantu bangi. Baayisibwamu nnyo amaaso era ne banyoomebwa. Naye ekyo tekyabamalamu maanyi. Abayigirizwa ba Yesu aba nnamaddala beewala okutwalirizibwa endowooza z’abalala era okuswala tebaakutwala ng’ekintu ekikulu. (Mat. 10:17; Bik. 5:40; 2 Kol. 11:23-25) Baali bakimanyi nti baalina ‘okusitula omuti gwabwe ogw’okubonaabona buli lunaku, bagoberere Yesu.’—Luk. 9:23, 26.
Ate kiri kitya eri ffe leero? Ebintu ensi by’etwalanga ng’eby’obusirusiru, ebinafu, era ebitali bya kitiibwa, Katonda by’atwala ng’eby’amagezi, eby’amaanyi, era eby’ekitiibwa. (1 Kol. 1:25-28) Tekyandibadde kya busirusiru ffe okutwalirizibwa endowooza z’abalala?
Abo abeenoonyeza ekitiibwa baba bafaayo nnyo ku ngeri ensi gy’ebatunuuliramu. Ku luuyi olulala, okufaananako Yesu n’abagoberezi be abaaliwo mu kyasa ekyasooka, twagala Yakuwa abeere Mukwano gwaffe. N’olwekyo, ebintu by’atwala ng’eby’ekitiibwa naffe tujja kubitwala nga bya kitiibwa era n’ebyo by’atwala ng’eby’obuswavu naffe tujja kubitwala nga bya buswavu.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Yesu teyatwalirizibwa ndowooza nsi gy’erina ku kuswala