LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 4/1 lup. 8
  • Kikulu Okufaayo ku by’Okuddamu?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kikulu Okufaayo ku by’Okuddamu?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Similar Material
  • Abakristaayo Basinza mu Mwoyo n’Amazima
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Oyinza Otya Okuba Omulamu Emirembe Gyonna?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Yesu Kristo—Obubaka Bwe n’Engeri gye Bukukwatako
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Ebbaluwa Okuva ku Kakiiko Akafuzi
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 4/1 lup. 8

Kikulu Okufaayo ku by’Okuddamu?

“Mujja kumanya amazima, era amazima gajja kubafuula ba ddembe.”​—YOKAANA 8:32.

BAYIBULI erimu amazima agasobola okutuyamba obutabuzaabuzibwa abo abayigiriza eby’obulimba ku Yesu. Ddala kikulu okufaayo ku ebyo bye tukkiririzaamu ebikwata ku Yesu? Yee, kikulu. Yakuwa ne Yesu bakitwala nga kikulu. Naffe tusaanidde okukitwala nga kikulu.

● Lwaki Yakuwa akitwala nga kikulu? Kubanga “Katonda kwagala.” (1 Yokaana 4:8) Yakuwa ayagala tubeera basanyufu emirembe gyonna. Yesu yagamba nti: “Katonda yayagala nnyo ensi [abantu] n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira naye afune obulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 3:16) Katonda yatuma Omwana we atununule era atuggulirewo ekkubo ery’okubeera abalamu emirembe gyonna mu lusuku lwa Katonda ku nsi ng’ekigendererwa kye bwe kyali. (Olubereberye 1:28) Abo abayiga amazima agakwata ku Yesu era ne bakolera ku ebyo bye bayiga, Katonda abasuubiza ekirabo eky’obulamu obutaggwawo.​—Abaruumi 6:23.

● Lwaki Yesu akitwala nga kikulu? Yesu naye ayagala nnyo abantu. Yayoleka okwagala okungi ennyo bwe yeefiiriza n’awaayo obulamu bwe ku lwaffe. (Yokaana 15:13) Yali akimanyi nti eryo lye kkubo lyokka eryandisobozesezza abantu okulokolebwa. (Yokaana 14:6) Yesu ayagala abantu bangi baganyulwe mu kinunulo kya ssaddaaka ye. Eyo ye nsonga lwaki yawa abagoberezi be omulimu ogw’okuyigiriza abantu ebyo Katonda by’ayagala n’ekigendererwa kye.​—Matayo 24:14; 28:19, 20.

● Lwaki twandikitutte nga kikulu? Sooka olowooze ku ebyo by’otwala nga bikulu nnyo gamba nga obulamu bwo n’amaka go. Wandyagadde okuba mu bulamu obulungi ng’oli wamu n’abaagalwa bo? Yakuwa ng’ayitira mu Yesu, asuubiza okukuwa ggwe n’abaagalwa bo obulamu obutuukiridde era obutaggwawo mu nsi empya, omutaliba kulumwa wadde okubonaabona. (Zabbuli 37:11, 29; Okubikkulirwa 21:3, 4) Ggwe ekyo tewandikyagadde? Bw’oba nga wandikyagadde, waliwo kye weetaaga okukola.

Ddamu weetegereze ekyawandiikibwa ekijuliziddwa ekiri wansi w’omutwe, ekigamba nti: “Mujja kumanya amazima, era amazima gajja kubafuula ba ddembe.” Amazima agakwata ku Yesu n’ekifo kye mu kutuukiriza ekigendererwa kya Katonda gasobola okutusumulula okuva mu buddu bw’ekibi n’okufa. Naye okusobola okusumululwa, weetaaga ‘okumanya amazima.’ Lwaki toyiga ebisingawo ebikwata ku mazima n’engeri ggwe n’abaagalwa bo gye musobola okugaganyulwamu? Abajulirwa ba Yakuwa beetegefu okukuyamba.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share