LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 10/15 lup. 17-21
  • Bamaze Emyaka 60 nga Ba Mukwano

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bamaze Emyaka 60 nga Ba Mukwano
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Subheadings
  • Similar Material
  • NGA BAGENDA E BUGIRIMAANI
  • KIKYAMU!
  • TUYIGIRA KU MIKWANO GYAFFE
  • OBUFUMBO OBULIMU ESSANYU
  • OMUKWANO OGW’OLUBEERERA
  • Obuweereza obw’Ekiseera Kyonna—We Buntuusizza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Oli Mwetegefu Okuyamba?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 10/15 lup. 17-21

Ebyafaayo

Bamaze Emyaka 60 nga Ba Mukwano

Lumu akawungeezi mu 1951, waliwo abavubuka bana, nga bonna baali wansi wa myaka 25, abaagenda awakubirwa amasimu mu Ithaca, New York, Amerika, ne bakuba amasimu e Michigan, Iowa, n’e California. Baalina amawulire amalungi ge baali baagala okutuusa ku b’ewaabwe!

MU FEBWALI 1951, bapayoniya 122 baagenda mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogwa 17, eryali mu South Lansing, New York. Lowell Turner, William (Bill) Kasten, Richard Kelsey, ne Ramon Templeton be bamu ku baminsani abaali mu ssomero eryo. Lowell ne Bill baali bava mu Michigan, Richard yali ava mu Iowa, ate Ramon yali ava mu California. Ab’oluganda abo abana baafuuka ba mukwano nnyo.

Oluvannyuma lw’emyezi etaano, ab’oluganda abaali mu ssomero eryo baategeezebwa nti Ow’oluganda Nathan Knorr okuva ku kitebe ekikulu yali agenda kwogerako nabo. Buli omu yali yeesunga okuwulira ky’anaabagamba. Ab’oluganda abo abana baali basabye nti bwe kiba nga kisoboka basindikibwe okuweereza mu nsi y’emu. Baali banaatera okumanya wa gye baali bagenda okusindikibwa okuweereza ng’abaminsani.

Ow’oluganda Knorr yatandika okulangirira wa buli omu gye yali asindikiddwa. Yasooka kuyita ab’oluganda abo abana ku pulatifoomu era n’agamba nti bonna baali basindikiddwa okuweereza mu nsi y’emu. Ekyo kyabasanyusa nnyo! Naye baali bagenda wa? Ow’oluganda Knorr bwe yagamba nti baali bagenda mu Bugirimaani, bayizi bannaabwe baasanyuka nnyo era ne babakubira mu ngalo.

Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna baakwatibwako nnyo bwe baategeera ebyatuuka ku b’oluganda mu Bugirimaani mu biseera bya Hitler okuva mu 1933 n’okweyongerayo. Ab’oluganda abo baasigala nga beesigwa eri Yakuwa mu biseera ebyo ebyali ebizibu ennyo. Bangi ku abo abaali mu Ssomero lya Gireyaadi baali bakyajjukira engeri gye baali bayambyemu bakkiriza bannaabwe mu Bugirimaani oluvannyuma lwa Ssematalo II. Ab’oluganda mu Bugirimaani bassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka okukkiriza, obumalirivu, obuvumu, n’okwesiga Yakuwa. Lowell yagamba nti, ‘Kati tugenda kweyongera okutegeera baganda baffe ne bannyinnaffe abo.’ Eyo ye nsonga lwaki akawungeezi ako ab’oluganda abo abana baali basanyufu nnyo era baakubira ab’eŋŋanda zaabwe ne mikwano gyabwe amasimu!

NGA BAGENDA E BUGIRIMAANI

Nga Jjulaayi 27, 1951, ab’emikwano abo abana baalinnya emmeeri eyitibwa Homeland ne bagenda e Bugirimaani, olugendo olwabatwalira ennaku 11. Ow’oluganda Albert Schroeder, omu ku basomesa baabwe era oluvannyuma eyaweereza ku Kakiiko Akafuzi, yali abayigirizzaayo ebigambo by’Olugirimaani ebitonotono. Olw’okuba emmeeri kwe baali batambulira kwaliko abantu abaali boogera Olugirimaani, baayagala okuyigayo ebigambo by’Olugirimaani ebirala. Naye kyabamalamu amaanyi okuba nti abantu abaali ku mmeeri Olugirimaani lwe baali boogera lwali lwa njawulo.

Nga Agusito 7, ku Lw’okubiri ku makya, ab’oluganda abo baatuuka mu kibuga Hamburg ekya Bugirimaani. Buli we baakubanga eriiso, baalabanga ebintu ebyali byayonoonebwa olutalo emyaka mukaaga emabega. Ebyo bye baalaba byabanakuwaza nnyo. Oluvannyuma baalinnya eggaali y’omukka eyabatwala mu kibuga Wiesbaden, awaali ofiisi y’ettabi.

Ku Lw’okusatu ku makya ennyo, ab’oluganda abo baasisinkana Hans, ng’ono ye Mujulirwa gwe baasooka okusisinkana mu Bugirimaani. Hans ye yabakima ku ggaali y’omukka n’abatwala ku Beseri era n’abakwasa mwannyinaffe eyali omukulu mu myaka eyali tamanyi Lungereza. Mwannyinaffe oyo yali alowooza nti bwe yandyogeredde waggulu, ab’oluganda abo lwe banditegedde by’abagamba. Naye gye yeeyongera okuleekaana, ab’oluganda abo gye baakoma obutamutegeera. Oluvannyuma Ow’oluganda Erich Frost, eyali branch servant, yajja n’ayogera nabo mu Lungereza. Ekyo kyabasanyusa nnyo.

Mu Agusito, ab’oluganda abo abana baagenda ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti olwalina omutwe, “Okusinza Okulongoofu” olwali mu Frankfurt am Main. Olwo lwe lukuŋŋaana olunene lwe baasooka okubaamu mu Bugirimaani. Olukuŋŋaana olwo lwaliko abantu 47,432 era abantu 2,373 be baabatizibwa. Ekyo kyaleetera ab’oluganda abo okwesunga okuweereza ng’abaminsani mu Bugirimaani. Naye waali waakayita ennaku ntono, Ow’oluganda Knorr n’abategeeza nti baali bagenda kuweereza ku Beseri.

Essanyu lye baafuna mu buweereza bwabwe lyabayamba okukiraba nti bulijjo Yakuwa amanyi ekisingayo okuba ekirungi

Olw’okuba Ramon yali ayagala kuba muminsani, lumu bwe baamuyita okugenda okuweereza ku Beseri y’omu Amerika yagaana. Richard ne Bill nabo baali tebaagala kuweereza ku Beseri. Naye essanyu lye baafuna nga baweereza ku Beseri lyabayamba okukiraba nti bulijjo Yakuwa amanyi ekisingayo okuba ekirungi. Nga kiba kya magezi okukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa mu kifo ky’okukulembeza ebyo ffe bye twagala! Omuntu akulembeza Yakuwa by’ayagala, aba musanyufu okukola omulimu gwonna Yakuwa gw’aba amuwadde yonna yonna gy’aba amusindise.

KIKYAMU!

Ab’oluganda bangi abaali baweereza ku Beseri mu Bugirimaani baali basanyufu nnyo okufuna ab’oluganda abaali bavudde mu Amerika kubanga baali balowooza nti bajja kubayamba okwongera okuyiga Olungereza. Naye lumu Ababeseri bwe baali balya emmere, ebintu byatabuka. Ow’oluganda Frost yatandika okwogera mu Lugirimaani nga kirabika yalina ensonga enkulu gye yali ayogerako. Ababeseri bonna baasirika, nga towulirayo wadde akanyego. Ab’oluganda abo abana, wadde nga baali tebategeera ebyo Ow’oluganda Frost bye yali ayogera, baatandika okukitegeera nti yali ayogera ku bo. Kyokka Ow’oluganda Frost bwe yayogera mu ddoboozi erya waggulu nti, “Kikyamu!” era n’akiddamu, ab’oluganda abo baawulira nga batidde. Kiki ekyali kireetedde Ow’oluganda Frost okukangula ku ddoboozi?

Bwe baamala okulya emmere, buli omu yayanguwa n’agenda mu kisenge kye. Oluvannyuma, waliwo ow’oluganda eyabagamba nti: ‘Okusobola okutuyamba, mulina okuyiga okwogera Olugirimaani. Eyo ye nsonga lwaki Ow’oluganda Frost yagambye nti okutuusa nga mumaze okuyiga Olugirimaani, tetulina kuddamu kwogera nammwe Lungereza.’

Ababeseri bonna baakolera ku ekyo Ow’oluganda Frost kye yabagamba. Ekyo kyayamba ab’oluganda abo abana okuyiga Olugirimaani. Naye waliwo n’ekintu ekirala kye kyabayigiriza: Singa ow’oluganda atuwabula, ne bwe kiba nti mu kusooka ky’aba atugambye kiyinza obutatusanyusa, ebiseera ebisinga aba akikoze ku lwa bulungi bwaffe. Ekyo Ow’oluganda Frost kye yakola kyalaga nti yali ayagala nnyo ekibiina kya Yakuwa awamu ne baganda be.a Eyo ye nsonga lwaki ab’oluganda abo abana oluvannyuma baamwagala nnyo!

TUYIGIRA KU MIKWANO GYAFFE

Waliwo ebintu bingi bye tusobola okuyigira ku mikwano gyaffe abatya Katonda ebiyinza okutuyamba okwongera okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa. Ab’oluganda abo abana nabo balina ebintu bingi bye baayigira ku baganda baabwe ab’omu Bugirimaani era buli omu ku bo alina kye yayigira ku munne. Richard agamba nti: “Lowell yali amanyi Olugirimaani olutonotono, naye ffe abalala twali tetulina kye tumanyi. Era okuva bwe kiri nti ye yali atusinga obukulu, ye yatuluŋŋamyanga mu lulimi Olugirimaani ne mu bintu ebirala.” Ramon agamba nti: “Nnasanyuka nnyo ow’oluganda ow’omu Switzerland bwe yatuwa ennyumba ye tusulemu nga tugenze okuwummulako oluvannyuma lw’okumala omwaka mulamba nga tuweereza mu Bugirimaani! Nnali ndowooza nti tugenda kumala wiiki bbiri nga tetwogera Lugirimaani! Naye nnali simanyi ki Lowell kye yali alowooza. Yagamba nti twalina okugenda mu maaso nga tusoma ekyawandiikibwa ekya buli lunaku mu Lugirimaani ekiseera kyonna kye twandimaze mu luwummula! Wadde ng’ekyo tekyansanyusa, Lowell yanywerera ku kye yali agambye. Ekyo kirina ekintu kye kyatuyigiriza. Kirungi okugondera abo abatwala obukulembeze ne bwe kiba nti ebiseera ebimu tetukkiriziganya n’ebyo bye baba basazeewo. Okuba n’endowooza ng’eyo kituyambye okuba abeetegefu okukolera ku bulagirizi obutuweebwa mu kibiina.”

Ab’omukwano abo abana buli omu yayiga okuba n’endowooza eyogerwako mu Abafiripi 2:3, awagamba nti: “[Mukole] ebintu byonna mu buwombeefu nga mukitwala nti abalala babasinga.” Bwe kityo, ebiseera ebisinga Ramon, Richard, ne Lowell bwe baalabanga nga waliwo ekintu Bill ky’asobola okukola obulungi okubasinga, baamusabanga y’aba akikola. Lowell agamba nti: “Bwe waabangawo ensonga ey’amaanyi eyeetaaga okukolebwako, twasabanga Bill y’aba agikolako. Yali amanyi bulungi engeri y’okukwatamu ensonga enzibu, ekintu ffe abalala oluusi kye tutaasobolanga kukola.”

OBUFUMBO OBULIMU ESSANYU

Emyaka bwe gyagenda giyitawo, buli omu ku b’oluganda abo abana yasalawo okuwasa. Okuva bwe kiri nti bonna baali baagala nnyo Yakuwa era nga baagala nnyo obuweereza obw’ekiseera kyonna, baasalawo okuwasa abakazi abaali baagala ennyo Yakuwa. Okuba mu buweereza obw’ekiseera kyonna kyali kibayambye okukiraba nti okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa era nti okuweereza Yakuwa kye kintu omuntu ky’asaanidde okukulembeza mu bulamu. Bwe kityo, baasalawo okuwasa abakazi abaali beesalirawo ku lwabwe okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Ekyo kyabayamba okuba n’essanyu mu bufumbo bwabwe.

Abantu bwe baba baagala omukwano gwabwe oba obufumbo bwabwe okunywera, balina okuba nga baagala nnyo Yakuwa. (Mub. 4:12) Wadde nga mukyala wa Bill n’owa Ramon baafa, bwe baali bakyali balamu baawagiranga nnyo abaami baabwe mu buweereza bwabwe. Mukyala wa Lowell n’owa Richard bakyabawagira mu buweereza bwabwe. Oluvannyuma Bill yaddamu okuwasa omukazi ayagala ennyo Yakuwa era ekyo kyamuyamba okusigala mu buweereza obw’ekiseera kyonna.

Emyaka bwe gyagenda giyitawo, ab’oluganda abo baasindikibwa okuweereza mu nsi ez’enjawulo, gamba nga Austria, Luxembourg, Canada, ne Amerika. Bwe kityo, ab’omukwano abo abana baali tebakyabeera wamu nga bwe kyali mu kusooka. Wadde kyali kityo, baali bawuliziganya. Omu bwe yafunanga ekintu ekirungi bonna baasanyukanga era omu bwe yafunanga ekizibu bonna baanakuwalanga. (Bar. 12:15) Emikwano ng’egyo gya muwendo nnyo kubanga giva eri Yakuwa. (Nge. 17:17) Kyokka mu nsi ey’akakyo kano emikwano ng’egyo si myangu kufuna. Naye buli muweereza wa Yakuwa asobola okuba n’emikwano ng’egyo. Ffenna abali mu kibiina kya Yakuwa tulina emikwano emirungi mingi okwetooloola ensi. Naye okusingira ddala, Yakuwa ne Yesu Kristo mikwano gyaffe.

Ng’abantu bonna bwe bafuna ebizibu, ab’emikwano bano abana nabo bafunye ebizibu ebitali bimu, nga muno mwe muli okufiirwa bakyala baabwe, okulwala ennyo, okulabirira bazadde baabwe abakaddiye, okweraliikirira nga baweereddwa obuvunaanyizibwa obulala mu kibiina, okukuza abaana ng’eno bwe beeyongera okuweereza Yakuwa mu buweereza obw’ekiseera kyonna, n’okulumizibwa mu mubiri olw’obukadde. Kyokka bakirabye nti emikwano emirungi gisobola okuyamba abo abaagala Yakuwa okwaŋŋanga ebizibu ebya buli ngeri.

OMUKWANO OGW’OLUBEERERA

Lowell yabatizibwa nga wa myaka 18, Ramon nga wa myaka 12, Bill nga wa myaka 11, ne Richard nga wa myaka 10. Baayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna nga bali wakati w’emyaka 17 ne 21. Bakolera ku bigambo ebiri mu Omubuulizi 12:1, awagamba nti: “Ojjukiranga Omutonzi wo mu biro eby’obuvubuka bwo.”

Bw’oba ng’oli muvubuka mubatize, olowoozezza ku ky’okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna? Singa oyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna, naawe oyinza okufuna enkizo ng’ab’emikwano abo abana ze baafuna, nga muno mwe muli okuweereza ng’abalabirizi abakyalira ebibiina, okuweereza ku Beseri, okuweereza ku Bukiiko bw’Amatabi, okusomesa mu Ssomero lya Bapayoniya ne mu Ssomero ly’Obuweereza bw’Obwakabaka, n’okuwa emboozi ku nkuŋŋaana ennene. Ab’oluganda abo bateekwa okuba nga basanyufu nnyo okukimanya nti enkumi n’enkumi z’abantu baganyuddwa mu buweereza bwabwe! Baasobola okukola ebintu ebyo byonna olw’okuba baasalawo okuweereza Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna okuviira ddala mu buto.​—Bak. 3:23.

Lowell, Richard, ne Ramon kati bali ku ofiisi y’ettabi eri mu kibuga Selters ekya Bugirimaani. Eky’ennaku kiri nti mu 2010, Bill yafa era nga mu kiseera ekyo yali aweereza nga payoniya ow’enjawulo mu Amerika. Ab’oluganda abo abana baali bamaze emyaka nga 60 nga ba mukwano. Lowell, Richard, ne Ramon baawulira bubi nnyo nga mukwano gwabwe Bill afudde. Naye Katonda waffe, Yakuwa, tayinza kwerabira mikwano gye. Tuli bakakafu nti mu Bwakabaka bwe ajja kuzuukiza abaweereza be abeesigwa baddemu okuba ne mikwano gyabwe.

“Mu myaka gyonna 60 gye tumaze nga tuli ba mukwano, tetufunangako butategeeragana bwa maanyi”

Bwe yali anaatera okufa, Bill yawandiika nti: “Mu myaka gyonna 60 gye tumaze nga tuli ba mukwano, tetufunangako butategeeragana bwa maanyi. Omukwano gwaffe ngutwala nga gwa muwendo nnyo.” Mikwano gye abasatu abasuubira okweyongera okuba ab’omukwano ne mu nsi empya, nabo baagamba nti, “Omukwano gwaffe gwakatandika butandisi.”

a Ebyafaayo by’Ow’oluganda Frost byafulumira mu Watchtower eya Apuli 15, 1961, olupapula 244-249.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share