LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 7/1 lup. 4
  • Eddiini Zeesigika ku Bikwata ku Ssente?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Eddiini Zeesigika ku Bikwata ku Ssente?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Subheadings
  • Similar Material
  • BAYIBULI KY’EYIGIRIZA
  • ABAJULIRWA BA YAKUWA BAKOLA BATYA MU NSONGA EYO?
  • Okukozesa Obulungi Ssente
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Ddala Ssente Ye Nsibuko y’Ebibi Ebya Buli Ngeri?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Okukozesa Obulungi Ssente
    Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu
  • Yakuwa Ayagala Oyo Agaba n’Essanyu
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 7/1 lup. 4

Eddiini Zeesigika ku Bikwata ku Ssente?

Omukyala ayitibwa Estellea ow’abaana omusanvu eyagendanga mu kkanisa obutayosa agamba nti, “Nnasaba omusumba wange anjigirize Bayibuli.” Omusumba we yagaana okumuyigiriza Bayibuli, era oluvannyuma omukyala oyo yalekera awo okugenda mu kkanisa eyo. Ayongerako nti: “Abakulembeze b’ekkanisa eyo bampandiikira ebbaluwa ne baŋŋamba nti bwe mba sisobodde kugenda kusaba, waakiri mbaweereze ssente. Ekyo kyandaga nti ne bwe mba sigenze kusaba tebeefiirayo. Bo baagala kimu, ssente.”

Angelina, eyali yettanira ennyo eby’eddiini yagamba nti: “Mu kkanisa gye nnasabirangamu baayisanga akabbo emirundi essatu, era nga ku buli mulundi batusuubira okuwaayo. Baasabanga ssente buli kiseera. Ekyo kyandeetera okwebuuza obanga ddala balina mwoyo mutukuvu.”

Amadiini agali mu kitundu kyo gakozesa obukodyo obutali bumu okuggya mu bantu ssente? Kiki Bayibuli ky’eyigiriza ku nsonga eyo?

BAYIBULI KY’EYIGIRIZA

Yesu eyatandikawo Obukristaayo yagamba nti: “Mwaweebwa buwa nammwe muwenga buwa.” (Matayo 10:8) Obubaka obuli mu Bayibuli bwa bwereere. N’olwekyo, ababwagala basaanidde kubufunira ku bwereere.

Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka, baafunanga batya ssente ez’okukola ku byetaago by’ekibiina?

Buli omu yawangayo nga bwe yabanga “amaliridde mu mutima gwe, si lwa nnaku oba olw’okuwalirizibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.” (2 Abakkolinso 9:7) Omutume Pawulo yagamba nti: “Twakolanga emisana n’ekiro tuleme kubaako n’omu ku mmwe gwe tukaluubirira nga tubabuulira amawulire amalungi.” (1 Abassessaloniika 2:9) Omutume Pawulo yakolanga weema okusobola okweyimirizaawo.​—Ebikolwa 18:2, 3.

ABAJULIRWA BA YAKUWA BAKOLA BATYA MU NSONGA EYO?

Abajulirwa ba Yakuwa bakuŋŋaanira mu bizimbe ebitonotono ebiyitibwa Ebizimbe by’Obwakabaka. Tebayisa bubbo, era tebaweereza bantu mabbaasa ga kussaamu ssente. Kati olwo, ssente ze bakozesa baziggya wa? Omuntu yenna ayagala okuwagira omulimu gwabwe ogw’okubuulira, awaayo kyeyagalire era ssente azissa mu kasanduuko akabeera mu Kizimbe ky’Obwakabaka.

Ssente ezikozesebwa mu kuddukanya emirimu gy’eddiini zirina kufunibwa zitya?

Okukuba akatabo kano n’okukasaabaza, byetaagisa ssente. Kyokka, tekatundibwa. Abajulirwa ba Yakuwa essira balissa ku kubunyisa amazima agali mu Bayibuli.

Olaba otya: Abajulirwa ba Yakuwa tebakola nga Yesu bwe yagamba, era ng’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka bwe baakolanga?

a Amannya agamu agali mu bitundu bino gakyusiddwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share