Ebirimu
Jjuuni 15, 2014
© 2014 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
AGUSITO 4-10, 2014
“Oteekwa Okwagala Yakuwa Katonda Wo”
OLUPAPULA 12 • ENNYIMBA: 3, 65
AGUSITO 11-17, 2014
“Oteekwa Okwagala Muntu Munno nga Bwe Weeyagala Wekka”
OLUPAPULA 17 • ENNYIMBA: 84, 72
AGUSITO 18-24, 2014
Obunafu bw’Abalala Obutunuulira nga Yakuwa bw’Abutunuulira?
OLUPAPULA 23 • ENNYIMBA: 77, 79
AGUSITO 25-31, 2014
Yamba Abalala Okukozesa Obusobozi Bwabwe mu Bujjuvu
OLUPAPULA 28 • ENNYIMBA: 42, 124
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
▪ “Oteekwa Okwagala Yakuwa Katonda Wo”
▪ “Oteekwa Okwagala Muntu Munno nga Bwe Weeyagala Wekka”
Mu bitundu bino tujja kwekenneenya amateeka abiri agasingayo obukulu Yesu Kristo ge yayogerako. Laba ekyo Yesu kye yali ategeeza bwe yagamba nti tuteekwa okwagala Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna, n’obulamu bwaffe bwonna, n’amagezi gaffe gonna. Laba n’ekyo kye tuyinza okukola okulaga nti twagala bantu bannaffe nga bwe tweyagala.
▪ Obunafu bw’Abalala Obutunuulira nga Yakuwa bw’Abutunuulira?
▪ Yamba Abalala Okukozesa Obusobozi Bwabwe mu Bujjuvu
Tuyinza tutya okuyamba abo abawulira nga banafuye? Ebitundu bino bijja kuddamu ekibuuzo ekyo. Ate era bijja kutuyamba okulaba engeri gye tuyinza okuyamba bakkiriza bannaffe abakyali abato n’abo abaakabatizibwa okukozesa obusobozi bwabwe mu bujjuvu.
KU DDIBA: Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okutuusa amawulire amalungi ku bantu abavuba ebyennyanja ku Mugga Okavango aboogera olulimi Olumbukusu
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO
3 ‘Tereeza Ekkubo ly’Ebigere Byo’ Osobole Okukulaakulana
8 Okuyamba Mukkiriza Munno Eyagattululwa
22 Okyajjukira?
BOTSWANA
ABANTU
2,021,000
ABABUULIZI
2,096
EBIBIINA
47
ABAALIWO KU KIJJUKIZO MU 2013
5,735