Oluyimba 84
“Njagala”
Printed Edition
1. Nga Yesu yatwagala nnyo
Bwe yava ewa Kitaawe
Atuuse ku bantu
’Mazima gonna,
Agava eri Katonda.
Yabudaabudanga ’bantu,
Yawonyanga n’abalwadde.
Yatuukiriza omulimu gwe
Era yagamba: “Njagala.”
2. Yakuwa nga yatuyamba
N’assaawo ’muddu ’mwesigwa.
Tuweereza naye,
N’amaanyi gaffe,
Okuyamba ’bawoombeefu.
Abanaku bakiraba
Bwe tubalaga ’kwagala.
Kale enfuuzi bwe bakusaba,
Baddengamu nti: “Njagala.”
(Era laba Yok. 18:37; Bef. 3:19; Baf. 2:7.)