Ebirimu
Okitobba 15, 2014
© 2014 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
DDESEMBA 1-7, 2014
Ba n’Okukkiriza okw’Amaanyi mu Bwakabaka
OLUPAPULA 7 ENNYIMBA: 108, 129
DDESEMBA 8-14, 2014
Mujja Kuba ‘Obwakabaka bwa Bakabona’
OLUPAPULA 13 ENNYIMBA: 98, 102
DDESEMBA 15-21, 2014
Enkizo ey’Okukolera Awamu ne Yakuwa Gitwale nga ya Muwendo!
OLUPAPULA 23 ENNYIMBA: 120, 44
DDESEMBA 22-28, 2014
“Ebirowoozo Byammwe Mubikuumire ku Bintu eby’Omu Ggulu”
OLUPAPULA 28 ENNYIMBA: 70, 57
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
▪ Ba n’Okukkiriza okw’Amaanyi mu Bwakabaka
▪ Mujja Kuba ‘Obwakabaka bwa Bakabona’
Okuyitira mu Bwakabaka bwa Masiya, Yakuwa ajja kutuukiriza ekigendererwa kye eri ensi n’abantu. Ebitundu bino byogera ku ndagaano ezitali zimu ezirina akwate n’Obwakabaka. Laba ensonga lwaki osaanidde okuba n’okukkiriza okw’amaanyi mu Bwakabaka obwo.
▪ Enkizo ey’Okukolera Awamu ne Yakuwa Gitwale nga ya Muwendo!
Ekitundu kino kyogera ku baweereza ba Yakuwa ab’omu biseera by’edda n’ab’omu kiseera kyaffe. Kijja kutuyamba okweyongera okutwala enkizo gye tulina ey’okukolera awamu ne Yakuwa ng’ekintu eky’omuwendo ennyo.
▪ “Ebirowoozo Byammwe Mubikuumire ku Bintu eby’Omu Ggulu”
Mu nnaku zino ez’enkomerero, twolekagana n’ebizibu bingi. Tuyinza tutya okukoppa abasajja abeesigwa, gamba nga Ibulayimu ne Musa, abaayolekagana n’ebizibu ng’ebyo bye twolekagana nabyo? Ekitundu kino kijja kutuyamba okulaba engeri gye tuyinza okukuumira ebirowoozo byaffe ku Yakuwa Katonda n’Obwakabaka bwe.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO
KU DDIBA: Bannyinaffe babiri nga babuulira abantu ku luguudo oluyita mu Tausa, mu Disitulikiti y’e Taita esangibwa mu kitundu ky’ensozi ekiri mu bukiikaddyo bwa Kenya
KENYA
ABANTU
44,250,000
ABABUULIZI
26,060
ABAYIZI BA BAYIBULI
43,034
ABAALIWO KU KIJJUKIZO MU 2013
60,166