Oluyimba 120
Wulira, Ssa mu Nkola, Oweebwe Emikisa
1. Tukolera ku Kristo by’atugamba?
Za muganyulo ’njigiriza ze.
Kituwa essanyu bwe tuzimanya;
Tusiimibwa nga tuzigondedde.
(CHORUS)
Wulira, ssa mu nkola,
Katonda by’ayagala.
By’owulidde bw’obissa mu nkola,
Oweebwa emikisa.
2. Tuli ku musingi munywevu ddala
Ng’enju eyazimbibwa ku lwazi.
Bwe tussa mu nkola Yesu ky’agamba,
’Bulamu bwaffe buba bulungi.
(CHORUS)
Wulira, ssa mu nkola,
Katonda by’ayagala.
By’owulidde bw’obissa mu nkola,
Oweebwa emikisa.
3. Ng’omuti oguliraanye amazzi
Bwe gussaako ebibala bingi,
N’okuba ’bawulize kya magezi,
Kituviiramu ’mikisa mingi.
(CHORUS)
Wulira, ssa mu nkola,
Katonda by’ayagala.
By’owulidde bw’obissa mu nkola,
Oweebwa emikisa.
(Era laba Ma. 28:2; Zab. 1:3; Nge. 10:22; Mat. 7:24-27.)