LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w14 10/15 lup. 28-32
  • “Ebirowoozo Byammwe Mubikuumire ku Bintu eby’Omu Ggulu”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Ebirowoozo Byammwe Mubikuumire ku Bintu eby’Omu Ggulu”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Subheadings
  • Similar Material
  • KYE KITEGEEZA OKUKUUMIRA EBIROWOOZO BYAFFE KU BINTU EBY’OMU GGULU
  • IBULAYIMU ‘YAKKIRIRIZA MU YAKUWA’
  • MUSA YALABA “OYO ATALABIKA”
  • OKUKUUMIRA EBIROWOOZO BYAFFE KU BINTU EBY’OMU GGULU
  • Yoleka Okukkiriza ng’Okwa Musa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Yakuwa Yamuyita ‘Mukwano Gwe’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Olindirira “Ekibuga Ekirina Emisingi Gyennyini”?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Okutegeera Amakubo ga Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
w14 10/15 lup. 28-32
Omusajja Omukristaayo ow’omu kyasa ekyasooka nga yeekenneenya omuzingo

“Ebirowoozo Byammwe Mubikuumire ku Bintu eby’Omu Ggulu”

“Ebirowoozo byammwe mubikuumire ku bintu eby’omu ggulu so si ku by’oku nsi.”—BAK. 3:2.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Ibulayimu ne Saala baakiraga batya nti baalina okukkiriza okw’amaanyi mu Yakuwa?

  • Kiki ekiraga nti Musa yali yeemalidde ku kukola Katonda by’ayagala?

  • Tuyinza tutya okukuumira ebirowoozo byaffe ku bintu eby’omu ggulu?

1, 2. (a) Lwaki ekibiina ky’omu Kkolosaayi kyali mu kabi? (b) Kubuulirira ki okwaweebwa ab’oluganda mu Kkolosaayi okusobola okubayamba okusigala nga beesigwa?

OBUMU bw’ekibiina Ekikristaayo eky’omu Kkolosaayi bwali mu kabi! Abamu ku abo abaali mu kibiina ekyo baali bayigiriza nti buli omu yalina okukwata Amateeka ga Musa. Abalala baali bayigiriza enjigiriza ey’Ekikaafiiri eyali egamba nti kikyamu okwesanyusaamu. Okusobola okuziyiza enjigiriza ng’ezo ez’obulimba, Pawulo yawandiikira ab’oluganda mu kibiina ky’omu Kkolosaayi nti: “Mwegendereze: oboolyawo wayinza okubaawo omuntu ababuzaabuza ng’akozesa obufirosoofo n’eby’obulimba ebitaliimu ebyesigamiziddwa ku bulombolombo bw’abantu n’ebintu eby’omu nsi ebisookerwako so si ku Kristo.”—Bak. 2:8.

2 Singa Abakristaayo abo abaafukibwako amafuta baasalawo okugoberera endowooza z’abantu, ekyo kyandibadde kiraga nti bagaanye enkizo ey’okubeera abaana ba Katonda. (Bak. 2:20-23) Okusobola okubayamba okukuuma enkolagana ey’omuwendo gye baalina ne Yakuwa, Pawulo yabagamba nti: “Ebirowoozo byammwe mubikuumire ku bintu eby’omu ggulu so si ku by’oku nsi.” (Bak. 3:2) Mu butuufu, Abakristaayo abo baalina okukuumira ebirowoozo byabwe ku ssuubi lye baalina ery’okufuna obulamu obutaggwaawo mu ggulu.—Bak. 1:4, 5.

3. (a) Ssuubi ki abaafukibwako amafuta lye bakuumira mu birowoozo? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwetegereza mu kitundu kino?

3 Ne leero, Abakristaayo abaafukibwako amafuta ebirowoozo byabwe babikuumira ku Bwakabaka bwa Katonda ne ku ssuubi lye balina ery’okuba ‘abasika awamu ne Kristo.’ (Bar. 8:14-17) Ate abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna? Ebigambo bya Pawulo bibakwatako bitya? ‘Ab’endiga endala’ bayinza batya okukuumira ebirowoozo byabwe ku “bintu eby’omu ggulu”? (Yok. 10:16) Era ffenna tuyinza tutya okuganyulwa mu kwetegereza ebyokulabirako by’abasajja abeesigwa ab’edda, gamba nga Ibulayimu ne Musa, abaasigala nga bakuumidde ebirowoozo byabwe ku bintu eby’omu ggulu wadde nga baafuna ebizibu bingi?

KYE KITEGEEZA OKUKUUMIRA EBIROWOOZO BYAFFE KU BINTU EBY’OMU GGULU

4. Ab’endiga endala bayinza batya okukuumira ebirowoozo byabwe ku bintu eby’omu ggulu?

4 Wadde ng’ab’endiga endala tebalina ssuubi lya kugenda mu ggulu, nabo balina okukuumira ebirowoozo byabwe ku bintu eby’omu ggulu. Ekyo bakikola batya? Bakikola nga bakulembeza Yakuwa Katonda n’Obwakabaka bwe mu bulamu bwabwe. (Luk. 10:25-27) Kristo yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eyo. (1 Peet. 2:21) Nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, ne leero waliwo abantu bangi abayigiriza ebintu ebikyamu era abatumbula omwoyo ogw’okwagala ebintu. (Soma 2 Abakkolinso 10:5.) Ffenna tusaanidde okukoppa Yesu nga twewala ekintu kyonna ekiyinza okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa.

5. Tuyinza tutya okumanya endowooza gye tulina ku by’obugagga?

5 Kyandiba nti tutandise okutwalirizibwa omwoyo gw’ensi ogw’okwagala eby’obugagga? Ebyo bye tusinga okwagala bitera okweyolekera mu ndowooza yaffe ne mu bikolwa byaffe. Yesu yagamba nti: “Eby’obugagga byo we biba n’omutima gwo we gubeera.” (Mat. 6:21) Okusobola okumanya ekyo kye tutwala ng’ekikulu mu bulamu bwaffe, twetaaga okwekebera buli kiseera. Weebuuze: ‘Biseera byenkana wa byemmala nga ndowooza ku ssente? Kyandiba nti ebirowoozo byange nsinga kubimalira ku kufuna mulimu mulungi oba ku kufuna bya bugagga? Oba kyandiba nti nfuba okuba n’eriiso eriraba awamu, nga nkuumira ebirowoozo byange ku bintu eby’omwoyo?’ (Mat. 6:22) Yesu yakiraga nti singa twemalira ku ‘kweterekera eby’obugagga ku nsi’ tusobola okufiirwa enkolagana yaffe ne Yakuwa.—Mat. 6:19, 20, 24.

6. Tuyinza tutya okwewala okutwalirizibwa okwegomba kw’omubiri?

6 Olw’okuba tetutuukiridde, emirundi mingi tusikirizibwa okukola ebintu ebibi. (Soma Abaruumi 7:21-25.) Awatali buyambi bw’omwoyo gwa Katonda omutukuvu tuyinza okwesanga nga tutwaliriziddwa “ebikolwa eby’ekizikiza.” Ebikolwa ebyo bizingiramu ‘ebinyumu, okutamiira, obwenzi, n’obugwenyufu.’ (Bar. 13:12, 13) Okusobola okwewala okutwalirizibwa ‘ebintu eby’oku nsi,’ nga bino bye bintu omubiri bye gwegomba, tulina okukuumira ebirowoozo byaffe ku bintu eby’omu ggulu. Ekyo kyetaagisa okufuba okw’amaanyi. Eyo ye nsonga lwaki omutume Pawulo yagamba nti: “Nkuba omubiri gwange era ngufuga ng’omuddu.” (1 Kol. 9:27) Awatali kufuba, naffe tetusobola kusigala mu mbiro ez’obulamu. Kati ka tulabe ebintu abasajja babiri abeesigwa abaaliwo mu biseera by’edda bye baakola okusobola ‘okusanyusa Katonda.’—Beb. 11:6.

IBULAYIMU ‘YAKKIRIRIZA MU YAKUWA’

7, 8. (a) Bizibu ki Ibulayimu ne Saala bye baayolekagana nabyo? (b) Ibulayimu ebirowoozo bye yabikuumira ku ki?

7 Yakuwa bwe yalagira Ibulayimu okugenda n’ab’omu maka ge mu nsi y’e Kanani, Ibulayimu yakkiriza okugenda. Olw’okuba Ibulayimu yalina okukkiriza okw’amaanyi mu Yakuwa era ng’amugondera, Yakuwa yakola endagaano naye, ng’agamba nti: “Ndikufuula eggwanga eddene, era naakuwanga omukisa.” (Lub. 12:2) Kyokka waayita emyaka mingi nga Ibulayimu ne mukyala we Saala tebannazaala mwana. Kyandiba nti Ibulayimu yalowooza nti Yakuwa yali yeerabidde ekyo kye yali amusuubizza? Okugatta ku ekyo, obulamu mu nsi ya Kanani tebwali bwangu. Ibulayimu n’ab’omu maka ge baali balese amaka gaabwe n’ab’eŋŋanda zaabwe mu Uli, ekibuga ky’omu Mesopotamiya ekyali kikulaakulanye mu by’enfuna. Baatambula mayiro ezisukka mu 1,000 okugenda e Kanani. Bwe baali eyo baabeeranga mu weema, oluusi tebaabanga na mmere ebamala, era n’ebiseera ebimu baalumbibwanga abazigu. (Lub. 12:5, 10; 13:18; 14:10-16) Wadde kyali kityo, tebaalowooza ku kya kuddayo mu bulamu obulungi bwe baalimu mu Uli!—Soma Abebbulaniya 11:8-12, 15.

8 Mu kifo ky’okumalira ebirowoozo bye ku ‘bintu eby’oku nsi,’ Ibulayimu ‘yakkiririza mu Yakuwa.’ (Lub. 15:6) Ebirowoozo bye yabikuumira ku bintu eby’omu ggulu, kwe kugamba, yabissa ku bisuubizo bya Katonda. Yakuwa yalaba okukkiriza kwa Ibulayimu bw’atyo n’amugamba nti: “Tunuulira eggulu kaakano, obale emmunyeenye, bw’onooyinza okuzibala: n’amugamba nti Ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo.” (Lub. 15:5) Ng’ekyo kiteekwa okuba nga kyazzaamu nnyo Ibulayimu amaanyi! Buli Ibulayimu lwe yatunuuliranga emmunyeenye eziri ku ggulu, ateekwa okuba nga yajjukiranga ekisuubizo kya Yakuwa eky’okwaza ezzadde lye. Era mu kiseera kya Katonda ekituufu, Ibulayimu yazaala omwana ow’obulenzi, nga Yakuwa bwe yali amusuubizza.—Lub. 21:1, 2.

9. Tuyinza tutya okukoppa Ibulayimu?

9 Okufaananako Ibulayimu, naffe tulindirira okutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Katonda. (2 Peet. 3:13) Singa tetukuumira birowoozo byaffe ku bintu eby’omu ggulu, ebisuubizo bya Katonda ebyo biyinza okulabika ng’ebiruddewo okutuukirira era ekyo kiyinza okutuleetera okuddirira mu buweereza bwaffe. Ng’ekyokulabirako, olina ekintu kyonna kye weefiiriza osobole okuweereza nga payoniya oba okwenyigira mu buweereza obulala obw’ekiseera kyonna? Bwe kiba kityo, osiimibwa nnyo. Naye ate kati? Olinga Ibulayimu eyakuumira ebirowoozo bye ku ‘kibuga ekirina emisingi gyennyini’? (Beb. 11:10) Bayibuli egamba nti Ibulayimu “[yakkiririza] mu Yakuwa n’abalibwa okuba omutuukirivu.”—Bar. 4:3.

MUSA YALABA “OYO ATALABIKA”

10. Bulamu bwa ngeri ki Musa bwe yalimu ng’akyali muvubuka?

10 Omusajja omulala eyakuumira ebirowoozo bye ku bintu eby’omu ggulu yali Musa. Bwe yali akyali muvubuka, ‘yayigirizibwa mu magezi gonna ag’e Misiri.’ Obuyigirize obwo Musa bwe yafuna bwali bwa njawulo nnyo. Ng’oggyeko okuba nti Misiri ye yali ensi kirimaanyi mu kiseera ekyo, Musa era yali abeera mu lubiri lwa Falaawo. N’olwekyo tekyewuunyisa nti obuyigirize obwo obwa waggulu bwaleetera Musa okuba ‘ow’amaanyi mu bigambo ne mu bikolwa.’ (Bik. 7:22) Mu butuufu, Musa yali asobola okufuuka omuntu omututumufu mu Misiri. Wadde kyali kityo, Musa ebirowoozo bye yabikuumira ku bintu eby’omu ggulu, kwe kugamba, ku kukola Katonda by’ayagala.

11, 12. Bintu ki Musa bye yatwala nga bya muwendo, era ekyo tukimanyira ku ki?

11 Musa bwe yali akyali muto, maama we, Yokebedi, yamuyigiriza ebikwata ku Katonda w’Abebbulaniya. Ebyo bye baamuyigiriza ebikwata ku Yakuwa yabitwala nga bya muwendo nnyo okusinga ekintu ekirala kyonna. Bw’atyo yeefiiriza ettutumu n’eby’obugagga bye yandifunye singa yasigala mu lubiri lwa Falaawo. (Soma Abebbulaniya 11:24-27.) Mu butuufu, ebintu ebikwata ku Katonda bye yayigirizibwa n’okukkiriza okw’amaanyi kwe yalina mu Yakuwa byamuyamba okukuumira ebirowoozo bye ku bintu eby’omu ggulu.

12 Wadde nga Musa yaweebwa obuyigirize obw’omu nsi obwali busingayo okuba obulungi mu kiseera ekyo, teyabukozesa kwefunira ttutumu oba bya bugagga. Mu butuufu, “yagaana okuyitibwa mutabani wa muwala wa Falaawo, n’alondawo okuyisibwa obubi awamu n’abantu ba Katonda, mu kifo ky’okubeera mu ssanyu ly’ekibi ery’akaseera obuseera.” Ebyo Musa bye yali ayize ebikwata ku Katonda, yabikozesa okutuukiriza ekigendererwa kya Yakuwa.

13, 14. (a) Kiki ekyayamba Musa okwetegekera omulimu Yakuwa gwe yali agenda okumuwa? (b) Okufaananako Musa, kiki kye tulina okukola?

13 Musa yali ayagala nnyo Yakuwa n’abantu be. Bwe yali nga wa myaka 40, Musa yali awulira nga mwetegefu okuyamba abantu ba Katonda okununulibwa okuva mu buddu e Misiri. (Bik. 7:23-25) Kyokka Yakuwa yakiraba nti Musa yalina engeri ze yalina okusooka okukulaakulanya nga tannamukwasa mulimu ogwo. Yalina okusooka okukulaakulanya engeri, gamba ng’obwetoowaze, obugumiikiriza, obukkakkamu, n’okwefuga. (Nge. 15:33) Musa yalina okusooka okutendekebwa asobole okwetegekera ebizibu eby’amaanyi bye yandyolekaganye nabyo mu biseera eby’omu maaso. Emyaka 40 gye yamala ng’akola ng’omusumba, gyamuyamba okukulaakulanya engeri ennungi.

14 Okutendekebwa okwo kwayamba Musa okukulaakulanya engeri ennungi? Yee. Ekigambo kya Katonda kiraga nti Musa yafuuka omuntu ‘omuwombeefu okusinga abantu bonna abaali ku nsi yonna.’ (Kubal. 12:3) Yakulaakulanya obwetoowaze, era ekyo kyamuyamba okwoleka obugumiikiriza ng’ayamba abantu abatali bamu era ng’akola ku bizibu byabwe ebitali bimu. (Kuv. 18:26) Mu ngeri y’emu, naffe tulina okukulaakulanya engeri ennungi ezinaatuyamba okuyita mu “kibonyoobonyo ekinene” tuyingire mu nsi ya Katonda empya ey’obutuukirivu. (Kub. 7:14) Tufuba okukolagana obulungi n’abantu bonna, nga mw’otwalidde n’abo abatwalibwa okuba abazibu okukolagana nabo? Ffenna tusaanidde okukolera ku bigambo bino omutume Peetero bye yawandiikira bakkiriza banne: “Muwenga abantu aba buli ngeri ekitiibwa, mwagalenga baganda bammwe bonna.”—1 Peet. 2:17.

OKUKUUMIRA EBIROWOOZO BYAFFE KU BINTU EBY’OMU GGULU

15, 16. (a) Lwaki kikulu okukuumira ebirowoozo byaffe ku bintu eby’omu ggulu? (b) Lwaki kikulu nnyo Abakristaayo okuba n’empisa ennungi?

15 Leero, ‘ebiseera bye tulimu bizibu’ nnyo. (2 Tim. 3:1) N’olwekyo, okusobola okusigala nga tutunula mu by’omwoyo, tulina okukuumira ebirowoozo byaffe ku bintu eby’omu ggulu. (1 Bas. 5:6-9) Lowooza ku ngeri ssatu ekyo gye tuyinza okukikolamu.

16 Empisa zaffe: Peetero yakiraga nti kikulu nnyo okuba n’empisa ennungi. Yagamba nti: “Mubeerenga n’empisa ennungi mu b’amawanga, kibe nti . . . bwe balaba ebikolwa byammwe ebirungi bagulumize Katonda.” (1 Peet. 2:12) Ka tube nga tuli waka, nga tuli ku mulimu, nga tuli ku ssomero, nga twesanyusaamu, oba nga tubuulira, tusaanidde okukola kyonna ekisoboka okweyisa mu ngeri eweesa Yakuwa ekitiibwa. Kyo kituufu nti olw’okuba tetutuukiridde, ffenna tukola ensobi. (Bar. 3:23) Naye bwe tweyongera okulwana “olutalo olulungi olw’okukkiriza,” tusobola okwewala okukola ebintu ebikyamu.—1 Tim. 6:12.

17. Tuyinza tutya okuba n’endowooza ng’eya Kristo Yesu? (Laba ekifaananyi ku lupapula 28.)

17 Endowooza yaffe: Okusobola okuba n’empisa ennungi, tulina okuba n’endowooza ennuŋŋamu. Omutume Pawulo yagamba nti: “Mubeerenga n’endowooza eno Kristo Yesu gye yalina.” (Baf. 2:5) Ndowooza ki Yesu gye yalina? Yesu yali mwetoowaze. Okuba omwetoowaze kyamuleetera okwoleka omwoyo ogw’okwefiiriza mu buweereza bwe. Okubuulira abalala amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda kye kintu ekyabeeranga ku birowoozo bye. (Mak. 1:38; 13:10) Ebintu byonna Yesu bye yayigirizanga, yabyesigamyanga ku Kigambo kya Katonda. (Yok. 7:16; 8:28) Yeekenneenyanga Ebyawandiikibwa Ebitukuvu asobole okubijuliza n’okubinnyonnyola obulungi. Bwe tuba abeetoowaze, ne tuba banyiikivu mu mulimu gw’okubuulira, era ne tufuba okwesomesa Bayibuli, tujja kusobola okuba n’endowooza ng’eya Kristo.

Yesu ng’abuulira amawulire amalungi og’Obwakabaka bwa Katonda

Okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda kye kintu ekyabanga ku birowoozo bya Yesu (Laba akatundu 17)

18. Mu ngeri ki gye tuyinza okuwagira omulimu gwa Yakuwa?

18 Okuwagira omulimu gwa Yakuwa: Yakuwa ayagala ‘buli vviivi ly’abo abali mu ggulu ne ku nsi lifukamire olw’erinnya lya Yesu.’ (Baf. 2:9-11) Wadde nga Yakuwa yawa Yesu ekifo ekya waggulu ennyo, Yesu amugondera, era naffe tusaanidde okumugondera. (1 Kol. 15:28) Mu ngeri ki? Nga tufuba okuwagira omulimu ogwatukwasibwa ‘ogw’okufuula abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa.’ (Mat. 28:19) Era nga tukolera baliraanwa baffe ne bakkiriza bannaffe ebirungi.—Bag. 6:10.

19. Kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola?

19 Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti Yakuwa atujjukiza okukuumira ebirowoozo byaffe ku bintu eby’omu ggulu! Ekyo kisaanidde okutukubiriza ‘okudduka n’obugumiikiriza embiro ez’empaka ezituteereddwawo.’ (Beb. 12:1) N’olwekyo, ka ffenna tube bamalirivu okukola omulimu gwa Yakuwa ‘n’omutima gwaffe gwonna’ nga tuli bakakafu nti bwe tunaakola bwe tutyo, Kitaffe ow’omu ggulu ajja kutuwa empeera.—Bak. 3:23, 24.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share