LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w14 12/15 lup. 27-31
  • Osiima Ebyo Katonda by’Akuwadde?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Osiima Ebyo Katonda by’Akuwadde?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Subheadings
  • Similar Material
  • TEBAASIIMA EKYO KYE BAAWEEBWA
  • BAASIIMA EKYO KYE BAALI BAWEEREDDWA
  • KIRAGE NTI OSIIMA EKYO KYE WAWEEBWA
  • ONOOKOLA KI?
  • Abaana—Mweyongere Okwagala Okuweereza Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Abavubuka, Mweteekerateekera Ebiseera eby’Omu Maaso?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Obusika Bwaffe obw’Omuwendo—Butegeeza Ki gy’Oli?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Yosiya Yalina Emikwano Emirungi
    Yigiriza Abaana Bo
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
w14 12/15 lup. 27-31
Nuuwa n’ab’omu maka ge nga bazimba eryato

Osiima Ebyo Katonda by’Akuwadde?

“Twaweebwa omwoyo oguva eri Katonda, tulyoke tumanye ebintu Katonda by’atuwadde olw’ekisa kye.”—1 KOL. 2:12.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Bintu ki abavubuka n’abalala ffenna bye tulina okulaga nti tusiima?

  • Abamu ku abo abaasiima obusika bwabwe obw’eby’omwoyo be baluwa?

  • Otwala otya ebintu Katonda by’akuwadde?

1. Abantu abasinga obungi batwala batya ebintu bye balina?

OYINZA okuba nga wali owuliddeko ebigambo bino: ‘Ekintu ky’olina kimala kukuvaako n’olyoka omanya nti kya muwendo.’ Naawe oyinza okuba nga wali owuliddeko bw’otyo. Omuntu bw’aba abadde n’ekintu okuva mu buto, emirundi egisinga ayinza obutakitwala ng’eky’omuwendo. Ng’ekyokulabirako, omuntu akulidde mu maka amagagga, ebintu ebingi by’alina ayinza obutabitwala ng’ebikulu. Bwe kityo bwe kitera okuba n’eri abavubuka. Olw’okuba baba tebalina bumanyirivu, baba tebamanyi bintu ebisinga obukulu mu bulamu.

2, 3. (a) Kiki abavubuka Abakristaayo kye balina okufuba okukola? (b) Kiki ekinaatuyamba okusiima ebyo bye tulina?

2 Bw’oba ng’oli muvubuka, oboolyawo ng’oli mu myaka gyo egy’obutiini oba nga waakayingira mu myaka 20, kiki ky’otwala ng’ekikulu mu bulamu bwo? Abavubuka abasinga obungi mu nsi ebintu bye batwala ng’ebikulu bye bintu, gamba ng’omulimu ogusasula ssente ennyingi, ennyumba amatiribona, oba amasimu ne kompyuta ebiri ku mulembe. Kyokka bwe kiba nti ebintu ebyo naawe by’okulembeza mu bulamu, waliwo ekintu eky’omuwendo ennyo ky’otolina, eby’obugagga eby’omwoyo. Eky’ennaku kiri nti bangi tebannaba na kutandika kunoonya bya bugagga ebyo. Mmwe abavubuka abakulidde mu maka Amakristaayo, mufube okulaba nti obusika bwammwe obw’eby’omwoyo mweyongera okubutwala ng’ekintu eky’omuwendo ennyo. (Mat. 5:3) Singa mulekera awo okutwala obusika obwo ng’ekintu eky’omuwendo muyinza okufuna ebizibu ebiyinza okubakosa ebbanga lyonna ery’obulamu bwammwe.

3 Ekyo temusaanidde kukikkiriza kubatuukako. Kiki ekinaabayamba okutwala obusika bwammwe obw’eby’omwoyo nga bwa muwendo? Ka tulabeyo ebyokulabirako okuva mu Bayibuli ebiyinza okutuyamba okulaba ensonga lwaki kikulu okutwala obusika bwaffe obw’eby’omwoyo ng’ekintu eky’omuwendo. Ebyokulabirako ebyo tebijja kuyamba bavubuka bokka, wabula bijja kuyamba buli Mukristaayo okutwala ebintu eby’omwoyo ng’ekintu ekikulu ennyo.

TEBAASIIMA EKYO KYE BAAWEEBWA

4. Ebyo ebiri mu 1 Samwiri 8:1-5 biraga ki ku batabani ba Samwiri?

4 Bayibuli eyogera ku bantu abawerako abaafuna eby’obusika eby’omwoyo naye ne batabitwala ng’ebikulu. Ng’ekyokulabirako, nnabbi Samwiri yaweereza Yakuwa n’obwesigwa okuviira ddala mu buto. (1 Sam. 12:1-5) Samwiri yateekawo ekyokulabirako ekirungi, era batabani be, Yoweeri ne Abiya, bandibadde bafuba okumukoppa. Kyokka mu kifo ky’okumukoppa, baasalawo okukola ebintu ebibi. Obutafaananako kitaabwe, bwe baabanga basala emisango, tebaayolekanga bwenkanya.—Soma 1 Samwiri 8:1-5.

5, 6. Kiki ekyatuuka ku batabani ba Yosiya ne muzzukulu we?

5 Batabani ba Kabaka Yosiya nabo tebaasiima busika bwabwe obw’eby’omwoyo. Yosiya yaweereza Yakuwa n’obwesigwa. Ekitabo ky’Amateeka bwe kyazuulibwa era ne kimusomerwa, Yosiya yakola kyonna ekisoboka okukolera ku biragiro bya Yakuwa. Yosiya yaggyawo eby’obusamize n’okusinza ebifaananyi mu bwakabaka bwe, era yakubiriza abantu okugondera Yakuwa. (2 Bassek. 22:8; 23:2, 3, 12-15, 24, 25) Tewali kubuusabuusa nti Yosiya yalekera batabani be obusika obw’eby’omwoyo! Basatu ku batabani be n’omu ku bazzukulu be baafuuka bakabaka, naye tewali n’omu ku bo yakoppa kyakulabirako kye.

6 Mutabani wa Yosiya, Yekoyakaazi, ye yamuddira mu bigere nga kabaka, kyokka ‘n’akola ebibi mu maaso ga Yakuwa.’ Yafugira emyezi esatu oluvannyuma Falaawo n’amusiba mu kkomera, era Yekoyakaazi yafiira Misiri. (2 Bassek. 23:31-34) Muganda we Yekoyakimu yafugira emyaka 11. Naye teyasiima busika obw’eby’omwoyo bwe yafuna okuva ku kitaawe. Olw’okuba Yekoyakimu yakola ebintu ebibi bingi mu maaso ga Katonda, nnabbi Yeremiya yagamba nti: “[Yekoyakimu] aliziikibwa ng’endogoyi bw’eziikibwa.” (Yer. 22:17-19) Mutabani wa Yosiya omulala ayitibwa Zeddekiya ne muzzukulu wa Yosiya ayitibwa, Yekoyakini, nabo tebakoppa Yosiya eyali omuweereza wa Katonda omwesigwa.—2 Bassek. 24:8, 9, 18, 19.

7, 8. (a) Mu ngeri ki Sulemaani gye yalekera awo okusiima obusika bwe obw’eby’omwoyo? (b) Kiki kye tuyigira ku abo aboogerwako mu Bayibuli abataasiima busika bwabwe obw’eby’omwoyo?

7 Kabaka Sulemaani alina bingi bye yayigira ku kitaawe, Dawudi, naye oluvannyuma yalekera awo okusiima obusika obw’eby’omwoyo bwe yali afunye. Bayibuli egamba nti: “Olwatuuka Sulemaani ng’akaddiye bakazi be ne bakyusa omutima gwe okugoberera bakatonda abalala: omutima gwe ne gutatuukirira eri Mukama Katonda we nga bwe gwali omutima gwa Dawudi kitaawe.” (1 Bassek. 11:4) N’ekyavaamu, Sulemaani yafiirwa enkolagana gye yalina ne Yakuwa.

8 Abantu abo bonna be tulabye baafuna obusika obw’eby’omwoyo, naye eky’ennaku kiri nti tebaasiima busika obwo! Wadde kiri kityo, waliwo abavubuka bangi aboogerwako mu Bayibuli abaakiraga nti obusika bwabwe obw’eby’omwoyo baali babutwala nga bwa muwendo. Ka twetegerezeeyo abamu ku bo era tulabe engeri abavubuka Abakristaayo leero gye bayinza okubakoppa.

BAASIIMA EKYO KYE BAALI BAWEEREDDWA

9. Kyakulabirako ki ekirungi batabani ba Nuuwa kye baateekawo? (Laba ekifaananyi ku lupapula 27.)

9 Batabani ba Nuuwa baateekawo ekyokulabirako ekirungi. Yakuwa yalagira kitaabwe okuzimba eryato eryandiyambye abantu okuwonyezebwawo. Batabani ba Nuuwa, bateekwa okuba nga baayambako kitaabwe mu kuzimba eryato, era oluvannyuma ne bayingira mu lyato eryo. (Lub. 7:1, 7) Lwaki baakola batyo? Olubereberye 7:3 wagamba nti baayingiza ebisolo mu lyato ‘bisobole okusigala nga biramu ku nsi.’ Mu butuufu, n’abantu baawonawo. Olw’okuba batabani ba Nuuwa baali basiima obusika bwabwe obw’eby’omwoyo, baafuna enkizo ey’okuyamba mu kuwonyaawo olulyo lw’omuntu n’okuzzaawo okusinza okw’amazima ku nsi eyali eggiddwako abantu ababi.—Lub. 8:20; 9:18, 19.

10. Abavubuka Abebbulaniya abana abaali mu Babulooni baakiraga batya nti baali basiima amazima ag’omuwendo ge baali bayigiriziddwa?

10 Ate lowooza ku bavubuka Abebbulaniya abana abaakiraga nti baali bamanyi ekyo ekisingayo obukulu mu bulamu. Kananiya, Misayeri, Azaliya, ne Danyeri baatwalibwa mu Babulooni mu 617 E.E.T. Abavubuka abo baali balabika bulungi era nga bagezi. Oboolyawo ekyo kyandibaleetedde okutwalirizibwa empisa z’Abababulooni. Naye ekyo tebaakikola. Engeri gye beeyisaamu yalaga nti baali basiima obusika bwabwe obw’eby’omwoyo, nga bino bye bintu bye baali bayigiriziddwa nga bakyali bato. Yakuwa yabawa emikisa mingi olw’okukolera ku bintu ebyo.—Soma Danyeri 1:8, 11-15, 20.

11. Abantu baaganyulwa batya mu busika obw’eby’omwoyo Yesu bwe yalina?

11 Yesu yateekawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kusiima obusika obw’eby’omwoyo. Yesu yayiga ebintu bingi okuva ku Kitaawe, era ebintu ebyo yabitwala nga bikulu nnyo. Ekyo tukirabira mu bigambo bye bino: “Ebintu bino mbyogera nga Kitange bwe yanjigiriza.” (Yok. 8:28) Ate era Yesu yali ayagala nnyo okuyigiriza abalala ebintu bye yayiga. Yagamba nti: “Nnina okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda ne mu bibuga ebirala, kubanga nnatumibwa lwa nsonga eyo.” (Luk. 4:18, 43) Yesu yayamba abo abaali bamuwuliriza okulaba ensonga lwaki kikulu obutaba “ba nsi,” kubanga okutwalira awamu, ensi tesiima bintu eby’omwoyo.—Yok. 15:19.

KIRAGE NTI OSIIMA EKYO KYE WAWEEBWA

12. (a) Okusinziira ku 2 Timoseewo 3:14-17, abavubuka bangi leero bafaananako batya Timoseewo? (b) Bibuuzo ki abavubuka Abakristaayo bye basaanidde okwebuuza?

12 Okufaananako abavubuka aboogeddwako waggulu, naawe oyinza okuba ng’okuziddwa abazadde abaweereza Yakuwa Katonda. Bwe kiba kityo, naawe ofaananako Timoseewo. (Soma 2 Timoseewo 3:14-17.) Bazadde bo baakuyamba ‘okuyiga’ ebikwata ku Katonda ow’amazima n’engeri gy’oyinza okumusanyusa. Bayinza okuba nga baatandika okukuyigiriza okuviira ddala mu buwere. Ekyo kiyinza okuba nga kikuyambye ‘okufuuka omugezi osobole okufuna obulokozi okuyitira mu kukkiriza okuli mu Kristo Yesu’ era nga kikuyambye okuba n’ebyo ‘byonna bye weetaaga okusobola’ okuweereza obulungi Katonda. Kati ekyebuuzibwa kiri nti, Onookiraga nti osiima ebyo bye waweebwa? Ekyo kikwetaagisa okwekebera mu bwesimbu. Weebuuze: ‘Okulowooza ku bajulirwa abangi abeesigwa ab’edda kindeetera kuwulira ntya? Ngitwala nga nkizo okuba omu ku Bajulirwa ba Yakuwa? Okuba nti ndi omu ku bantu abatono abamanyiddwa Yakuwa kindeetera kuwulira ntya? Okuba nti mmanyi amazima ngitwala nga nkizo ya maanyi?’

Abaweereza ba Yakuwa abeesigwa mu biseera by’edda ne mu kiseera kyaffe

Owulira otya okuba nti oli omu ku bajulirwa ba Yakuwa abeesigwa? (Laba akatundu 9, 10, ne 12)

13, 14. Kiki abamu ku abo abakulidde mu maka Amakristaayo kye bayinza okwagala okukola, naye lwaki ekyo tekiba kya magezi? Waayo ekyokulabirako.

13 Abavubuka abamu abakulidde mu maka Amakristaayo bayinza okuba nga tebalaba njawulo eri wakati w’olusuku olw’eby’omwoyo lwe tulimu n’ensi ya Sitaani embi. Abamu batuuse n’okulowooza ku ky’okugendako mu nsi ya Sitaani balozeeko ku bulamu bwayo. Naye ddala kyandibadde kya magezi okweteeka mu maaso g’emmotoka eddukira ku sipiidi eya waggulu osobole okumanya engeri omuntu gy’awuliramu ng’emmotoka emutomedde? Nedda! Mu ngeri y’emu, naffe tetwetaaga kusooka kukola bintu ebibi ebiri mu nsi ya Sitaani, okusobola okutegeera ebizibu ebivaamu.—1 Peet. 4:4.

14 Gener, abeera mu Asiya, yakulira mu maka Amakristaayo. Yabatizibwa nga wa myaka 12. Kyokka bwe yali mu myaka gye egy’obuvubuka, yatandika okwegomba obulamu obw’omu nsi eno embi. Agamba nti: ‘Nnali ndowooza nti abantu abali mu nsi balina eddembe era nga nange njagala okufuna ku ddembe eryo.’ Gener yatandika okutambulira mu bulamu obw’emirundi ebiri. We yawereza emyaka 15, yalina emikwano emibi era nga yeenyigira mu mize emibi, gamba ng’okunywa omwenge n’okuwemula. Gener yateranga okugenda ne mikwano gye okuzannya puulu n’emizannyo gya kompyuta egirimu ettemu, era ng’eka addayo kiro nnyo. Oluvannyuma lw’ekiseera, yakiraba nti ebintu ebiri mu nsi ya Sitaani tebireeta ssanyu lya nnamaddala. Mu butuufu, bireeta nnaku njereere. Kati Gener yakomawo mu kibiina. Agamba nti ebiseera ebimu awulira ng’ebintu ebiri mu nsi byagala okumutwaliriza, naye kati enkolagana ye ne Yakuwa gy’atwala ng’ekintu ekisingayo obukulu mu bulamu bwe.

15. Kiki ffenna kye tusaanidde okulowoozaako, ka tube nga twakulira mu maka Amakristaayo oba nedda?

15 Kya lwatu nti waliwo abavubuka bangi mu kibiina abataakulira mu maka Amakristaayo. Bw’oba nga naawe bw’otyo bw’oli, lowooza ku nkizo ey’ekitalo gy’olina okuba nti omanyi Katonda era ng’omuweereza! Ku nsi kuliko abantu bangi nnyo. N’olwekyo, nkizo ya maanyi okuba omu ku abo Yakuwa b’aleese mu kibiina kye era b’ayambye okutegeera amazima agali mu Bayibuli. (Yok. 6:44, 45) Mu nsi yonna okutwalira awamu, omuntu 1 ku buli bantu 1,000 y’alina okumanya okutuufu okuli mu Kigambo kya Katonda, era oli omu ku bantu abo. Kya lwatu nti ekyo ffenna kisaanidde okutuleetera essanyu, ka tube nga twakulira mu maka Amakristaayo oba nedda. (Soma 1 Abakkolinso 2:12.) Gener agamba nti: “Ntera okwebuuza, nze ani amanyiddwa Yakuwa, Katonda Omuyinza ow’ebintu byonna?” (Zab. 8:4) Mwannyinaffe omu agamba nti: “Bwe kiba nti abayizi beenyumiririza mu ky’okuba nti bamanyiddwa abasomesa baabwe, ate kiri kitya ku kuba ng’omanyiddwa Yakuwa, Omuyigiriza asingirayo ddala obukulu!”

ONOOKOLA KI?

16. Kintu ki eky’amagezi abavubuka Abakristaayo leero kye basaanidde okukola?

16 Okulowooza ku busika bwo obw’eby’omwoyo obw’omuwendo, kisaanidde okukukubiriza okuba omumalirivu okweyongera okuba mu bantu abatono abasazeewo okukozesa obulamu bwabwe mu ngeri ey’amagezi. Bw’onookola bw’otyo, ojja kuba okoppye ekyokulabirako ky’abaweereza ba Katonda abeesigwa abaaliwo mu biseera by’edda. Mu butuufu, kiba kya magezi okwewala okutambuza obulamu bwo ng’abavubuka abali mu nsi ya Sitaani eyolekedde okuzikirizibwa bwe bakola.—2 Kol. 4:3, 4.

17-19. Kiki ekinaakuyamba okulaba ensonga lwaki kikulu okuba ow’enjawulo ku bantu b’ensi?

17 Kyo kituufu nti si kyangu kuba wa njawulo ku bantu b’ensi. Kyokka kikulu nnyo okuba ow’enjawulo. Ng’ekyokulabirako: Lowooza ku muddusi ayagala okuwangula omudaali ogwa zzaabu. Okusobola okufuna omudaali ogwo, aba alina okuba ow’enjawulo ku bantu abalala. Kiba kimwetaagisa okwefiiriza ebintu bingi asobole okufuna ebiseera ebimala okwetendeka obulungi. Omuddusi ng’oyo aba mwetegefu okuba ow’enjawulo ku banne kimusobozese okwetendeka ekimala asobole okutuuka ku kiruubirirwa kye.

18 Abantu abasinga obungi mu nsi tebalowooza ku bizibu ebinaava mu bintu ebibi bye bakola. Naye singa weewala okuba ng’abantu abo era ne weewala okukola ebintu ebiyinza okwonoona enkolagana yo ne Yakuwa, ojja ‘kunyweza obulamu obwa nnamaddala.’ (1 Tim. 6:19) Mwannyinaffe omu yagamba nti: “Bw’onywerera ku kituufu, oluvannyuma owulira bulungi nnyo. Kiba kiraga nti osobola okuziyiza ensi ya Sitaani. N’ekisinga obukulu, kisanyusa Yakuwa era naye akuwa emikisa mingi! Ekyo kikuleetera okukiraba nti ddala kya magezi okuba ow’enjawulo ku bantu b’ensi!”

19 Obulamu bw’omuntu tebusobola kuba na makulu singa yeemalira ku ebyo byokka by’asobola okufuna mu kiseera kino. (Mub. 9:2, 10) Bw’oba oli muvubuka, lowooza ku nsonga lwaki oli mulamu era lowooza ne ku ssuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna. Okukola ekyo, kijja kukuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi n’okwewala okutambuza obulamu bwo ng’abantu abatamanyi Yakuwa bwe bakola.—Bef. 4:17; Mal. 3:18.

20, 21. Bwe tusalawo mu ngeri ey’amagezi tuba na ssuubi ki, naye kiki kye tulina okukola?

20 Bwe tusalawo mu ngeri ey’amagezi, tuba n’obulamu obw’amakulu mu kiseera kino era tuba n’essuubi ‘ery’okusikira ensi,’ kwe kugamba, okufuna obulamu obutaggwaawo. Yakuwa ajja kutuwa emikisa mingi n’okusinga bwe tusuubira. (Mat. 5:5; 19:29; 25:34) Naye kikulu okukijjukira nti Katonda bw’aba ow’okutuwa emikisa egyo, tulina okubaako kye tukolawo. Tulina okumugondera. (Soma 1 Yokaana 5:3, 4.) Bwe tufuba okumuweereza n’obwesigwa mu kiseera kino, tetujja kwejjusa!

21 Katonda atuwadde ebintu bingi eby’omuwendo! Atuyambye okufuna okumanya okutuufu okuli mu Kigambo kye era atuyambye okumumanya n’okutegeera ebigendererwa bye. Tulina enkizo ey’okuyitibwa erinnya lye n’okuba Abajulirwa be. Katonda atukakasa nti ali ku ludda lwaffe era nti ajja kutuyamba. (Zab. 118:7) Ka ffenna abato n’abakulu tukirage nti tusiima ebintu Katonda by’atuwadde nga tutambuza obulamu bwaffe mu ngeri eraga nti twagala okumuwa “ekitiibwa emirembe gyonna.”—Bar. 11:33-36; Zab. 33:12.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share