Yoleka Obwetoowaze n’Obusaasizi nga Yesu bwe Yakola
“Kristo yabonaabona ku lwammwe, ng’abalekera ekyokulabirako mulyoke mutambulirenga mu bigere bye.”—1 PEET. 2:21.
1. Lwaki okukoppa Yesu kituyamba okweyongera okusemberera Yakuwa?
EMIRUNDI mingi tutera okukoppa abantu be twenyumiririzaamu. Mu bantu bonna abaali babadde ku nsi, Yesu Kristo ye muntu asingayo obulungi asaanidde okukoppebwa. Lwaki? Yesu yagamba nti: “Alabye nze aba alabye ne Kitange.” (Yok. 14:9) Yesu ayoleka engeri za Kitaawe mu ngeri etuukiridde ne kiba nti bwe tuyiga ebikwata ku Yesu tuba tuyize ebikwata ku Kitaawe. N’olwekyo, bwe tukoppa Yesu, tweyongera okusemberera Yakuwa, Oyo asingayo okuba owa waggulu mu butonde bwonna. Mu butuufu, bwe tukoppa Yesu tufuna emikisa mingi.
2, 3. (a) Lwaki Yakuwa yawandiisa mu Bayibuli ebikwata ku Mwana we, era kiki ky’ayagala tukole? (b) Biki bye tugenda okwetegereza mu kitundu kino n’ekiddako?
2 Kati olwo tuyinza tutya okuyiga ebikwata ku Yesu? Yakuwa yawandiisa ebikwata ku Yesu mu Bayibuli. Ekyo yakikola ng’ayagala tumanye ebikwata ku Mwana we era tumukoppe. (Soma 1 Peetero 2:21.) Mu Byawandiikibwa, ekyokulabirako Yesu kye yateekawo kigeraageranyizibwa ku “bigere.” Mu ngeri endala, Yakuwa atukubiriza okutambulira mu bigere bya Yesu, kwe kugamba, okumukoppa mu buli kimu kye tukola. Okuva bwe kiri nti Yesu yali atuukiridde ate nga ffe tetutuukiridde, Yakuwa tatusuubira kukoppa Yesu mu ngeri etuukiridde. Wadde kiri kityo, Yakuwa ayagala tukole kyonna ekisoboka okukoppa Yesu.
3 Kati ka twetegerezeeyo ezimu ku ngeri za Yesu. Mu kitundu kino, tugenda kwetegereza engeri Yesu gye yayolekamu obwetoowaze n’obusaasizi; ate mu kitundu ekiddako tujja kwetegereza engeri gye yayolekamu obuvumu n’okutegeera. Nga twetegereza buli emu ku ngeri ezo, tujja kufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bino ebisatu: Engeri eno etegeeza ki? Yesu yagyoleka atya? Tuyinza tutya okumukoppa?
YESU MWETOOWAZE
4. Obwetoowaze kye ki?
4 Obwetoowaze kye ki? Abantu ab’amalala balowooza nti omuntu omwetoowaze aba munafu oba aba teyeekakasa ekyo ky’ali. Naye ekyo si kituufu. Kyetaagisa obuvumu okusobola okwoleka obwetoowaze. Obwetoowaze “bwe butaba na malala.” Mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, ekigambo ekyavvuunulwa “obwetoowaze” kisobola okutegeeza ‘obuteetwala kuba wa kitalo.’ (Baf. 2:3) Okusobola okuba abeetoowaze, tulina okusooka okwetunuulira mu ngeri entuufu. Enkuluze emu ennyonnyola ebigambo bya Bayibuli egamba nti: “Obwetoowaze kwe kukimanya nti tuli ba wansi nnyo mu maaso ga Katonda.” Bwe tuba nga ddala tuli beetoowaze mu maaso ga Katonda, tujja kwewala okwetwala okuba aba waggulu ku bantu bannaffe. (Bar. 12:3) Si kyangu abantu abatatuukiridde kwoleka bwetoowaze. Naye tusobola okwoleka obwetoowaze singa tufumiitiriza ku ekyo kye tuli mu maaso ga Katonda era ne tufuba okutambulira mu bigere by’Omwana we.
5, 6. (a) Mikayiri malayika omukulu y’ani? (b) Mikayiri yayoleka atya obwetoowaze?
5 Yesu yayoleka atya obwetoowaze? Omwana wa Katonda bulijjo abaddenga ayoleka obwetoowaze. Yabwoleka ng’akyali mu ggulu ne bwe yali ku nsi. Ka tulabeyo ebyokulabirako.
6 Engeri gye yali yeetwalamu. Omuwandiisi wa Bayibuli ayitibwa Yuda yawandiika ku kintu ekimu ekyaliwo nga Yesu tannajja ku nsi. (Soma Yuda 9.) Nga Mikayiri, malayika omukulu, Yesu ‘teyakkiriziganya na Mulyolyomi’ ku bikwata ku “mulambo gwa Musa.” Oluvannyuma lwa Musa okufa, Yakuwa yaziika omulambo gwa Musa mu kifo ekitamanyiddwa. (Ma. 34:5, 6) Kirabika Omulyolyomi yali ayagala okukozesa omulambo gwa Musa okutumbula okusinza okw’obulimba. Ka kibe ki Omulyolyomi kye yali ayagala okukola, Mikayiri yayoleka obuvumu n’amuziyiza. Okusinziira ku kitabo ekimu, ebigambo “bw’atakkiriziganya” biraga nti “Mikayiri yawakanya Omulyolyomi n’akiraga nti Omulyolyomi yali talina buyinza bwonna ku mulambo gwa Musa.” Wadde kyali kityo, Malayika Omukulu yakyoleka nti si ye yali agwanidde okusalira Omulyolyomi omusango. Bwe kityo, ensonga eyo yagikwasa Omulamuzi Asinga Obukulu, Yakuwa. Mikayiri yeewala okwetulinkiriza ne bwe yali ng’asoomoozeddwa. Ng’ekyo kiraga nti Mikayiri mwetoowaze nnyo!
7. Yesu yakyoleka atya nti mwetoowaze mu ngeri gye yayogerangamu ne mu ngeri gye yeeyisangamu?
7 Engeri Yesu gye yayogerangamu n’engeri gye yeeyisangamu ng’ali ku nsi yalaga nti yali mwetoowaze. Engeri gye yayogerangamu. Yesu teyeegulumizanga. Mu kifo ky’ekyo, ekitiibwa kyonna yayagalanga kiweebwe Kitaawe. (Mak. 10:17, 18; Yok. 7:16) Teyafeebyanga bayigirizwa be era teyabaleeteranga kuwulira nti ba wansi. Mu kifo ky’ekyo, yabawa ekitiibwa, yasiimanga ebintu ebirungi bye yabalabangamu, era yakiraga nti abeesiga. (Luk. 22:31, 32; Yok. 1:47) Engeri gye yeeyisangamu. Yesu yeewala omwoyo ogw’okwagala ebintu bw’atyo ne yeewala okwekuŋŋaanyiza eby’obugagga. (Mat. 8:20) Lumu yakola omulimu ogwakolebwanga abantu abaatwalibwanga okuba aba wansi ennyo. (Yok. 13:3-15) Ekintu ekirala ekyalaga nti Yesu yali mwetoowaze nnyo kwe kuba nti yali muwulize. (Soma Abafiripi 2:5-8.) Obutafaananako bantu abalina amalala, Yesu yakola buli kimu Katonda kye yali ayagala akole. Bayibuli egamba nti: “Yeetoowaza n’abeera muwulize okutuuka n’okufa.” Kyeyoleka bulungi nti Yesu, Omwana w’omuntu, yali “muwombeefu mu mutima.”—Mat. 11:29.
YOLEKA OBWETOOWAZE NGA YESU BWE YAKOLA
8, 9. Tuyinza tutya okwoleka obwetoowaze?
8 Tuyinza tutya okwoleka obwetoowaze nga Yesu bwe yakola? Engeri gye twetwalamu. Obwetoowaze bujja kutuyamba okwewala okwetulinkiriza. Okukijjukira nti tetwaweebwa buyinza kusalira balala musango, kijja kutuyamba okwewala okwanguyiriza okunenya abalala oba okubuusabuusa ebiruubirirwa byabwe. (Luk. 6:37; Yak. 4:12) Obwetoowaze bujja kutuyamba okwewala okuba ‘abatuukirivu ekisukkiridde’ era bujja kutuyamba okwewala okulowooza nti abo abatalina busobozi ng’obwaffe oba abo abatalina nkizo nga ze tulina nti ba wansi. (Mub. 7:16) Abakadde abeetoowaze tebeetwala kuba ba waggulu ku bakkiriza bannaabwe. Mu kifo ky’ekyo, bakitwala nti “abalala babasinga” era beetwala okuba aba wansi.—Baf. 2:3; Luk. 9:48.
9 Lowooza ku W. J. Thorn, eyatandika okuweereza ng’omutalaazi, oba omulabirizi akyalira ebibiina mu 1894. Oluvannyuma lw’okumala emyaka mingi ng’aweereza ng’omutalaazi, ow’oluganda oyo yayitibwa okugenda okuweerereza ku Beseri mu New York era n’aweebwa omulimu ogw’okulabirira enkoko. Yagamba nti: “Buli lwe mpulira nti omulimu gwe nkola gwa wansi, muli nneebuuza: ‘Nze enfuufu obufuufu, kiki kye nnina ekindeetera okuwulira nti ndi wa kitalo?’” (Soma Isaaya 40:12-15.) Mu butuufu, ow’oluganda oyo yali mwetoowaze nnyo!
10. Tuyinza tutya okwoleka obwetoowaze mu ngeri gye twogeramu ne mu ngeri gye tweyisaamu?
10 Engeri gye twogeramu. Bwe tuba nga ddala tuli bawombeefu mu mutima, ebyo bye twogera bijja kukiraga nti tuli beetoowaze. (Luk. 6:45) Bwe tuba twogera n’abalala, tujja kwewala okussa essira ku ebyo bye tutuuseeko mu bulamu n’enkizo ze tulina. (Nge. 27:2) Mu kifo ky’ekyo, tujja kunoonya ebirungi mu bakkiriza bannaffe era tujja kubasiima olw’engeri ennungi ze balina, olw’obusobozi bwe balina, n’olw’ebintu ebirungi bye bakola. (Nge. 15:23) Engeri gye tweyisaamu. Abakristaayo abeetoowaze beewala okwenoonyeza ettutumu mu nsi eno. Baba beetegefu okwerekereza ebintu ebitali bimu n’okukola emirimu bangi mu nsi gye batwala okuba egya wansi, kasita kiba nti okukola emirimu egyo kijja kubasobozesa okuweereza Yakuwa mu bujjuvu. (1 Tim. 6:6, 8) N’ekisinga obukulu, tusobola okukiraga nti tuli beetoowaze nga tuba bawulize. Kyetaagisa okuba abeetoowaze okusobola okugondera abo abatwala obukulembeze mu kibiina n’okukolera ku bulagirizi obutuweebwa mu kibiina kya Yakuwa.—Beb. 13:17.
YESU MUSAASIZI
11. Obusaasizi kye ki?
11 Obusaasizi kye ki? Ekigambo obusaasizi kitegeeza okulumirirwa abalala oba okufaayo ku abo abali mu bwetaavu oba abali mu buzibu. Waliwo akakwate ka maanyi wakati w’obusaasizi, okwagala, n’ekisa. (Luk. 1:78; 2 Kol. 1:3; Baf. 1:8) Ekitabo ekimu ekinnyonnyola ebigambo ebiri mu Bayibuli kigamba nti: “Okwoleka obusaasizi kisingawo ku kulumirirwa obulumirirwa abo abeetaaga obuyambi. Kizingiramu okubaako ky’okolawo okuleetawo enkyukakyuka mu bulamu bw’abo ababa mu bwetaavu.” N’olwekyo, omuntu omusaasizi abaako ky’akolawo okuyamba abo ababa mu bwetaavu.
12. Kiki ekiraga nti Yesu yalumirirwanga abalala, era ekyo kyamukubirizanga kukola ki?
12 Yesu yayoleka atya obusaasizi? Mu nneewulira ye ne mu bikolwa bye. Yesu yalumirirwanga abalala. Bwe yalaba mukwano gwe Maliyamu ne banne nga bakaaba oluvannyuma lw’okufa kwa Lazaalo, Yesu naye ‘yakaaba.’ (Soma Yokaana 11:32-35.) Nga bwe yalumirirwa nnamwandu n’azuukiza omwana we, Yesu yalumirirwa Maliyamu ne banne n’azuukiza Lazaalo. (Luk. 7:11-15; Yok. 11:38-44) Ekikolwa ekyo eky’obusaasizi kiyinza okuba nga kyasobozesa Lazaalo okufuna essuubi ery’okuba n’obulamu obutaggwaawo mu ggulu. Emabegako, Yesu yayoleka obusaasizi eri ekibiina ky’abantu abajja gy’ali. Yesu yasaasira abantu abo “n’atandika okubayigiriza ebintu bingi.” (Mak. 6:34) Ng’ekyo kiteekwa okuba nga kyakyusa nnyo obulamu bw’abo abaakolera ku ebyo Yesu bye yabayigiriza ku olwo! Weetegereze nti ng’oggyeko okuba nti Yesu yalumirirwa abo abaali mu bwetaavu, alina kye yakolawo okubayamba.—Mat. 15:32-38; 20:29-34; Mak. 1:40-42.
13. Yesu yayogeranga atya n’abalala? (Laba ekifaananyi ku lupapula 5.)
13 Ebigambo bye. Obusaasizi bwakubiriza Yesu okwogera n’ekisa, naddala eri abo abaabanga banyigirizibwa. Omutume Matayo yalaga nti ebigambo bya nnabbi Isaaya bino byali bikwata ku Yesu: “Olumuli olwatiseyatise talirumenya, n’olutambi olwaka luzimeera taliruzikiza.” (Is. 42:3, NW; Mat. 12:20) Yesu yayogeranga mu ngeri ezzaamu amaanyi abo abaalinga olumuli olwatiseyatise oba olutambi olunaatera okuzikira. ‘Yasibanga abo abaalina emitima egimenyese,’ ng’ababuulira ebigambo ebiwa essuubi. (Is. 61:1) Yayita abo abaali ‘bategana era abaali bazitoowereddwa’ okuggya gyali, n’abakakasa nti ‘bandifunye ekiwummulo’ mu bulamu bwabwe. (Mat. 11:28-30) Yakakasa abagoberezi be nti Katonda afaayo nnyo ku buli omu ku baweereza be, nga mw’otwalidde ‘n’abato,’ kwe kugamba, abo ensi beetwala ng’abatalina mugaso.—Mat. 18:12-14; Luk. 12:6, 7.
YOLEKA OBUSAASIZI NGA YESU BWE YAKOLA
14. Tuyinza tutya okwoleka obusaasizi eri abalala?
14 Tuyinza tutya okwoleka obusaasizi nga Yesu bwe yakola? Enneewulira yaffe. Kiyinza obutatwanguyira kwoleka busaasizi eri abalala, naye Bayibuli etukubiriza okufuba okubwoleka. “Obusaasizi” y’emu ku ngeri ffenna Abakristaayo ze tulina okwoleka bwe tuba ab’okwambala omuntu omuggya. (Soma Abakkolosaayi 3:9, 10, 12.) Tuyinza tutya okwoleka obusaasizi eri abalala? Bayibuli egamba nti: “Mugaziwe mu mitima gyammwe.” (2 Kol. 6:11-13) Wuliriza bulungi bwe wabaawo omuntu akubuulira ekyo ekimuli ku mutima oba ekyo ekiba kimweraliikiriza. (Yak. 1:19) Weeteeke mu bigere bye era weebuuze: ‘Singa nze mbadde mu mbeera eno, nnandibadde mpulira ntya? Nnandibadde nneetaaga ki?’—1 Peet. 3:8.
15. Kiki kye tuyinza okukola okuyamba abantu abalinga olumuli olwatiseyatise oba olutambi olwaka luzimeera?
15 Ebikolwa byaffe. Obusaasizi butukubiriza okubaako kye tukolawo okuleetawo enkyukakyuka mu bulamu bw’abalala, naddala abo abalinga olumuli olwatiseyatise oba olutambi olwaka luzimeera. Tuyinza tutya okuyamba abantu ng’abo? Abaruumi 12:15 wagamba nti: “Mukaabe n’abo abakaaba.” Emirundi egisinga abantu beetaaga okubabudaabuda nga bali mu mbeera enzibu okusinga okubabuulira engeri y’okuvvuunukamu ekizibu kye balina. Mwannyinaffe omu eyabudaabudibwa bakkiriza banne oluvannyuma lw’okufiirwa muwala we, yagamba nti: “Nnasiima nnyo eky’okuba nti bakkiriza bannange bajjanga awaka ne bakaabira wamu nange.” Naffe tusobola okulaga abalala obusaasizi nga tubakolera ebikolwa eby’ekisa. Olinayo nnamwandu gw’omanyi eyeetaaga okuyambako okuddaabiriza ennyumba ye? Waliwo Omukristaayo akuze mu myaka gw’omanyi eyeetaaga okumuyambako okujja mu nkuŋŋaana, okugenda okubuulira, oba okugenda mu ddwaliro? Ekintu ky’okolera mukkiriza munno ali mu bwetaavu ne bwe kirabika ng’ekitono ennyo kiyinza okuleetawo enjawulo ey’amaanyi mu bulamu bwe. (1 Yok. 3:17, 18) Kyokka, engeri esingayo obukulu gye tuyinza okwolekamu obusaasizi kwe kwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira. Eyo ye ngeri esingayo obulungi gye tuyinza okuleetawo enkyukakyuka mu bulamu bw’abantu ab’emitima emirungi.
Okiraga nti ofaayo ku bakkiriza banno? (Laba akatundu 15)
Okiraga nti ofaayo ku bakkiriza banno? (Laba akatundu 15)
Okiraga nti ofaayo ku bakkiriza banno? (Laba akatundu 15)
16. Tuyinza tutya okuzzaamu amaanyi abantu abennyamivu?
16 Ebigambo byaffe. Obusaasizi bujja kutukubiriza “okubudaabuda abennyamivu.” (1 Bas. 5:14) Kiki kye tuyinza okukola okusobola okuzzaamu abantu ng’abo amaanyi? Tusobola okubagamba nti tubaagala nnyo era nti ba muwendo nnyo gye tuli. Tusobola okubasiima olw’engeri ennungi ze balina n’obusobozi bwe balina. Tusobola okubayamba okukijjukira nti Yakuwa ye yabaleeta eri Omwana we, ekiraga nti ba muwendo nnyo mu maaso ge. (Yok. 6:44) Tusobola okubakakasa nti Yakuwa afaayo nnyo ku bantu be “abalina omutima ogumenyese.” (Zab. 34:18) Ebigambo eby’ekisa bye twogera biyinza okuzzaamu amaanyi abo ababa beetaaga okubudaabudibwa.—Nge. 16:24.
17, 18. (a) Yakuwa ayagala abakadde bayise batya endiga ze? (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?
17 Yakuwa ayagala abakadde okulaga endiga ze obusaasizi. (Bik. 20:28, 29) Abakadde basaanidde okukijjukira nti buvunaanyizibwa bwabwe okuliisa endiga za Yakuwa n’okuzizzaamu amaanyi. (Is. 32:1, 2; 1 Peet. 5:2-4) N’olwekyo, omukadde omusaasizi yeewala okukajjala ku bakkiriza banne ng’abateerawo amateeka agage ku bubwe oba ng’abakaka okukola ekyo ekisukka ku busobozi bwabwe. Mu kifo ky’ekyo, afuba okuyamba bakkiriza banne okuweereza Yakuwa nga basanyufu, nga mukakafu nti okwagala kwe balina eri Yakuwa kujja kubakubiriza okumuweereza mu bujjuvu.—Mat. 22:37.
18 Tewali kubuusabuusa nti okufumiitiriza ku ngeri Yesu gye yayolekamu obwetoowaze n’obusaasizi kitukubiriza okwongera okutambulira mu bigere bye. Mu kitundu ekiddako, tujja kulaba engeri Yesu gye yayolekamu obuvumu n’okutegeera era tulabe n’engeri gye tuyinza okumukoppa.