LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w15 8/15 lup. 19-23
  • Weeteekereteekere Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Weeteekereteekere Ensi Empya
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ENGERI GYE TUYINZA OKWETEEKATEEKA
  • KULEMBEZA EBINTU EBY’OMWOYO
  • TWATANDIKA DDA OKUFUNA EMIKISA!
  • Abavubuka, Mulina Ebiruubirirwa eby’Omwoyo?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Okumanya Okukwata ku Katonda Bwe Kulijjula Ensi
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
  • Okuzuukira Kwoleka Okwagala kwa Katonda, Amagezi Ge, n’Obugumiikiriza Bwe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Teekawo Ebiruubirirwa Eby’Eby’Omwoyo
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
w15 8/15 lup. 19-23
Omwami n’omukyala mu nsi empya nga boogera ku nnyumba gye baagala okuzimba
Omwami n’omukyala mu nsi empya nga boogera ku nnyumba gye baagala okuzimba

Weeteekereteekere Ensi Empya

‘Bagambe bakolenga ebirungi, basobole okunyweza obulamu obwa nnamaddala.’—1 TIM. 6:18, 19.

ENNYIMBA: 125, 40

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Bintu ki ebijja okutuleetera essanyu mu nsi empya?

  • Biki bye tuyinza okukola leero okweteekerateekera ensi empya?

  • Okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo kiyinza kitya okutuyamba okweteekerateekera obulamu mu nsi empya?

1, 2. (a) Bintu ki bye weesunga mu Lusuku lwa Katonda ku nsi? (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Mikisa ki egy’eby’omwoyo gye tujja okufuna mu nsi empya?

FFENNA twesunga nnyo “obulamu obutaggwaawo.” Obulamu obwo, omutume Pawulo yabuyita “obulamu obwa nnamaddala.” (Soma 1 Timoseewo 6:12, 19.) Abasinga obungi ku ffe twesunga okubeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi emirembe gyonna. Twesunga nnyo ekiseera ekyo lwe tujja okuba nga buli ku makya tuzuukuka tuli balamu bulungi, nga tuli basanyufu, era nga tetulina kizibu kyonna. (Is. 35:5, 6) Lowooza ku ssanyu lye tunaafuna nga tuli wamu n’ab’eŋŋanda zaffe ne mikwano gyaffe, nga mw’otwalidde n’abo abanaaba bazuukiziddwa! (Yok. 5:28, 29; Bik. 24:15) Era tujja kuba n’ebiseera ebimala okweyongera okuyiga n’okukuguka mu bya ssaayansi, mu kuyimba, mu kuzimba, ne mu bintu ebirala bingi.

2 Wadde nga twesunga nnyo ebintu ng’ebyo ebirungi, ebintu ebijja okusinga okutuleetera essanyu mu nsi empya bye bintu eby’omwoyo. Lowooza ku ssanyu lye tujja okufuna okulaba ng’erinnya lya Yakuwa litukuziddwa era nga kyeyolese bulungi nti y’agwanidde okufuga obutonde bwonna! (Mat. 6:9, 10) Kijja kutuleetera essanyu lingi okulaba ng’ekigendererwa kya Katonda eri ensi n’abantu kituukirira. Ate lowooza ku ngeri gye kijja okutubeerera ekyangu okweyongera okusemberera Yakuwa nga tugenda tweyongera okufuuka abantu abatuukiridde!—Zab. 73:28; Yak. 4:8.

3. Kiki kye tusaanidde okweteekerateekera kati?

3 Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuukiriza ebintu ebyo byonna kubanga Yesu yagamba nti: “Eri Katonda ebintu byonna bisoboka.” (Mat. 19:25, 26) Naye bwe tuba ab’okubeera mu nsi empya era bwe tuba ab’okweyongera okuba abalamu n’oluvannyuma lw’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi, tulina okubaako kye tukolawo kati “okunyweza” obulamu obutaggwaawo. Tusaanidde okutambuza obulamu bwaffe mu ngeri eraga nti tuli bakakafu nti enkomerero eri kumpi nnyo, era tusaanidde okubaako kye tukolawo okweteekerateekera ensi empya. Naye ekyo tuyinza tutya okukikola nga tukyali mu nteekateeka eno ey’ebintu embi?

ENGERI GYE TUYINZA OKWETEEKATEEKA

4. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri gye tuyinza okweteekateeka okubeera mu nsi empya.

4 Tuyinza tutya okweteekateeka okubeera mu nsi ya Katonda empya? Lowooza ku kino: Watya singa tubadde tweteekateeka okugenda okubeera mu nsi endala. Biki bye tuyinza okukola? Tuyinza okutandika okuyiga olulimi olwogerwa abantu b’omu nsi eyo, okuyiga ebikwata ku mpisa zaabwe, era tuyinza n’okwemanyiiza okulya emu ku mmere eri mu nsi eyo. Mu ngeri emu oba endala, tuyinza okutandika okweyisa ng’abatuuze b’omu nsi eyo, kubanga eyo ye ngeri gye tuba tusuubira okweyisaamu nga tutuuseeyo. Mu ngeri y’emu, tusobola okweteekerateekera ensi empya nga tufuba okweyisa mu ngeri gye tusuubira okweyisaamu nga tutuuseeyo. Ka tulabe engeri ezitali zimu ekyo gye tuyinza okukikolamu.

5, 6. Okuba abeetegefu okukolera ku bulagirizi obutuweebwa mu kibiina kya Yakuwa leero kituyamba kitya okweteekerateekera obulamu mu nsi empya?

5 Abo bonna abanaaba mu nsi empya bajja kuba bagondera obufuzi bwa Katonda. Nga wajja kubaawo enjawulo ya maanyi wakati w’ensi empya n’ensi eno efugibwa Sitaani! Leero, abantu abasinga obungi balina omwoyo gwa kyetwala era baagala kukola ebyo bo bye baagala. Naye biki ebivuddemu? Abantu okugaana okukolera ku bulagirizi bwa Katonda kivuddemu ennaku, okubonaabona, n’ebizibu ebirala bingi. (Yer. 10:23) Nga twesunga nnyo ekiseera abantu bonna lwe banaaba nga bagondera obufuzi bwa Yakuwa!

6 Mu butuufu, kijja kutuleetera essanyu lingi okukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’anaatuwa mu nsi empya nga tuyambako mu mulimu gw’okufuula ensi olusuku olulabika obulungi, nga tuyigiriza abo abanaaba bazuukiziddwa, era nga tukola Katonda by’ayagala. Watya singa tunaasabibwa okukola omulimu gwe tuwulira nti tetwandyagadde kukola? Tunakkiriza okugukola? Tunaafuba okugukola obulungi era tunaagukola n’essanyu? Bangi ku ffe tuyinza okugamba nti yee! Naye ekyebuuzibwa kiri nti, leero bwe tuweebwa obulagirizi mu kibiina kya Yakuwa, tufuba okubukolerako? Bwe tuba nga tufuba okubukolerako, kiba kiraga nti tweteekerateekera obulamu obutaggwaawo mu nsi ya Yakuwa empya.

7, 8. (a) Lwaki tusaanidde okukolagana obulungi n’abo abatwala obukulembeze mu kibiina? (b) Nkyukakyuka ki ezibaddewo mu bulamu bw’ab’oluganda abamu? (c) Ku bikwata ku nsi empya, tuli bakakafu ku ki?

7 Ng’oggyeeko okukolera ku bulagirizi obutuweebwa mu kibiina kya Yakuwa, tusobola okweteekerateekera ensi empya nga tufuba okuba abamativu era nga tufuba okukolagana obulungi n’abalala. Ng’ekyokulabirako, bwe tuweebwa obuvunaanyizibwa bwonna mu kibiina, tusaanidde okufuba okubutuukiriza obulungi era ekyo tusaanidde okukikola n’essanyu. Bwe tuba nga tukolagana bulungi n’abo abatwala obukulembeze mu kibiina, kiba kiraga nti tujja kukola kye kimu ne mu nsi empya. (Soma Abebbulaniya 13:17.) Mu Nsi Ensuubize, Abaisiraeri baaweebwa obusika ng’ensi egabanyizibwamu ng’ekubibwako akalulu. (Kubal. 26:52-56; Yos. 14:1, 2) Kya lwatu nti leero, tewali n’omu ku ffe amanyi wa w’ajja kuweebwa kubeera mu nsi empya. Naye bwe tuba nga tuyize okukolagana obulungi n’abo abatwala obukulembeze mu kibiina, kijja kutuyamba okuba abamativu era abasanyufu nga tukola Yakuwa by’ayagala wonna we tunaaba tuweereddwa okubeera mu nsi empya.

8 Ng’ejja kuba nkizo ya maanyi okuweereza Yakuwa mu nsi empya! Eyo ye nsonga lwaki tuli beetegefu okukolera ku bulagirizi bwonna obutuweebwa mu kibiina kya Yakuwa n’okukola omulimu gwonna oguba gutuweereddwa mu kibiina kye. Kya lwatu nti ekiseera bwe kigenda kiyitawo embeera zaffe ziyinza okukyuka. Ng’ekyokulabirako, abamu ku b’oluganda abaali baweereza ku Beseri mu Amerika baasindikibwa okuweereza nga bapayoniya, era bafunye emikisa mingi mu buweereza bwabwe. Ate ab’oluganda abamu abaali bakola ogw’okukyalira ebibiina baasabibwa okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo olw’okuba baali bakaddiye oba olw’ensonga endala. Singa tuba bamativu n’enkizo ze tulina, ne tusaba Yakuwa atuyambe, era ne tukola kyonna ekisoboka okumuweereza, tujja kufuna essanyu lingi era tujja kufuna emikisa mingi ne mu kiseera kino eky’enkomerero ekizibu ennyo. (Soma Engero 10:22.) Ate kinaaba kitya mu biseera eby’omu maaso? Tuyinza okuba nga tulina awantu we twagala okubeera mu nsi empya, naye ate ne batulagira okubeera awalala. Ka tube nga tunaabeera mu kifo ki oba nga tunaaweebwa mulimu ki, tusobola okuba abakakafu nti tujja kuba basanyufu nnyo okuba mu nsi empya.—Nek. 8:10.

9, 10. (a) Mbeera ki eziyinza okutwetaagisa okwoleka obugumiikiriza mu nsi empya? (b) Tuyinza tutya okukiraga nti tuli bagumiikiriza?

9 Mu nsi empya, wayinza okubaawo embeera eziyinza okutwetaagisa okwoleka obugumiikiriza. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okuwulira abalala nga basanyuka ng’ab’eŋŋanda zaabwe oba nga mikwano gyabwe bazuukiziddwa. Kyokka abantu baffe bayinza okuba nga bo tebannazuukizibwa era nga kitwetaagisa okulinda. Singa ekyo kibaawo, tunaasanyukira wamu n’abalala nga bwe tulindirira? (Bar. 12:15) Bwe tuyiga okulindirira Yakuwa okutuukiriza ebisuubizo bye mu kiseera kino, kijja kutuyamba okuba abagumiikiriza mu nsi empya.—Mub. 7:8.

10 Ate era tusobola okweteekerateekera ensi empya nga twoleka obugumiikiriza nga waliwo enkyukakyuka eziba zizzeewo mu ngeri gye tutegeeramu Ebyawandiikibwa. Tufuba okutegeera enkyukakyuka ezo era tufuba okuba abagumiikiriza singa tuba tetuzitegedde bulungi? Bwe kiba bwe kityo, kijja kutubeerera kyangu okwoleka obugumiikiriza mu nsi empya nga Yakuwa agenda atumanyisa ebintu ebipya by’atwetaagisa okukola.—Nge. 4:18; Yok. 16:12.

11. Lwaki tusaanidde okuba abeetegefu okusonyiwa abalala leero, era ekyo kinaatuyamba kitya mu nsi empya?

11 Ekintu ekirala ekiyinza okutuyamba okweteekerateekera ensi empya kwe kuba abeetegefu okusonyiwa abalala. Mu Bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi, kiyinza okutwala ekiseera ekiwerako ng’abantu abatuukirivu n’abatali batuukirivu tebannaggweramu ddala ngeri ezitali nnungi. (Bik. 24:15) Tunaasobola okukolagana obulungi n’abalala mu kiseera ekyo? Bwe tuba abeetegefu okusonyiwa abalala mu kiseera kino, ne mu nsi empya kijja kutwanguyira okukikola.—Soma Abakkolosaayi 3:12-14.

12. Kakwate ki akali wakati w’ebyo bye tusuubira mu biseera eby’omu maaso n’engeri gye tweyisaamu leero?

12 Mu nsi empya tuyinza obutafuna buli kimu kye tunaaba twagala, wonna we tunaaba tukyagalira. Kijja kuba kitwetaagisa okuba abamativu n’okusiima Yakuwa mu mbeera yonna gye tunaabaamu. Mu butuufu, tujja kwetaaga okwoleka engeri ze zimu Yakuwa z’ayagala twoleke mu kiseera kino. Bwe tufuba okweyisa nga bwe tusuubirwa okweyisa mu nsi empya, kiba kituyamba okukulaakulanya engeri ze tujja okwetaaga okwoleka emirembe gyonna. Era kituyamba okunyweza okukkiriza kwe tulina mu kisuubizo kya Katonda ‘eky’ensi egenda okujja.’ (Beb. 2:5; 11:1) Ate era kiba kiraga nti twesunga okubeera mu nsi empya ey’obutuukirivu. Mu butuufu, bwe tukola tutyo tuba tweteekateeka okubeerawo emirembe gyonna mu nsi ya Katonda empya.

KULEMBEZA EBINTU EBY’OMWOYO

Omujulirwa wa Yakuwa ng’abuulira mukozi munne mu kiseera ky’eky’emisana

Buulira n’obunyiikivu

Omujulirwa wa Yakuwa ng’abuulira mukozi munne mu kiseera ky’eky’emisana

Buulira n’obunyiikivu

13. Bintu ki bye tujja okukulembeza mu nsi empya?

13 Lowooza ku ngeri endala gye tuyinza okweteekerateekera obulamu obwa nnamaddala obugenda okujja. Wadde nga Yakuwa atusuubizza okutuwa eby’okulya bingi n’ebintu ebirala ebyetaagisa okusobola okunyumirwa obulamu mu nsi empya, ebintu eby’omwoyo bye bijja okusinga okutuleetera essanyu. (Mat. 5:3) Ebintu eby’omwoyo bye tujja okukulembeza mu bulamu bwaffe, era tujja kufuna essanyu lingi mu kuweereza Yakuwa. (Zab. 37:4) Bwe tukulembeza ebintu eby’omwoyo mu kiseera kino, tuba twetegekera obulamu obwa nnamaddala mu nsi empya.—Soma Matayo 6:19-21.

14. Biruubirirwa ki eby’omwoyo abavubuka bye basobola okweteerawo okusobola okweteekerateekera ensi empya?

14 Tuyinza tutya okwongera okufuna essanyu nga tuweereza Yakuwa? Ekimu ku bintu ebisobola okutuyamba kwe kweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo. Bw’oba oli muvubuka era ng’oyagala okukozesa obulamu bwo okuweereza Yakuwa, osobola okunoonyereza mu bitabo byaffe ku ebyo ebikwata ku buweereza obw’ekiseera kyonna obutali bumu era ne weeteerawo ekiruubirirwa okuyingira obumu ku buweereza obwo.a Osobola okwogerako n’abamu ku abo abamaze ekiseera ekiwanvu mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Bw’onookozesa obulamu bwo okuweereza Yakuwa mu bujjuvu, ekyo kijja kukuyamba okweteekateeka okuweereza Yakuwa emirembe gyonna mu nsi empya.

Abajulirwa ba Yakuwa nga bazimba ekimu ku bizimbe byabwe

Weenyigire mu mirimu gy’Obwakabaka

Abajulirwa ba Yakuwa nga bazimba ekimu ku bizimbe byabwe

Weenyigire mu mirimu gy’Obwakabaka

15. Biruubirirwa ki eby’omwoyo ababuulizi b’Obwakabaka bye basobola okweteerawo?

15 Waliwo ebiruubirirwa bingi eby’omwoyo ffenna ababuulizi b’Obwakabaka bye tusobola okweteerawo. Tusobola okweteerawo ekiruubirirwa okuyigayo obukodyo obupya bwe tuyinza okukozesa nga tubuulira. Oba tuyinza okufuba okwongera okutegeera emisingi gya Bayibuli n’engeri gye tuyinza okugikolerako mu bulamu bwaffe. Tuyinza n’okweteerawo ekiruubirirwa okulongoosa mu ngeri gye tusomamu, mu ngeri gye tuwaamu emboozi, ne mu ngeri gye tuddamu mu nkuŋŋaana. Waliwo n’ebiruubirirwa ebirala bingi eby’omwoyo bye tusobola okweteerawo. Ensonga enkulu eri nti: Bwe tweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo, kijja kutuyamba okweyongera okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu era kijja kutuyamba okweteekerateekera ensi empya.

TWATANDIKA DDA OKUFUNA EMIKISA!

Omujulirwa wa Yakuwa nga yeesomesa

Kirage nti osiima emmere ey’eby’omwoyo

Omujulirwa wa Yakuwa nga yeesomesa

Kirage nti osiima emmere ey’eby’omwoyo

16. Lwaki okuweereza Yakuwa ye ngeri esingayo obulungi ey’okukozesaamu obulamu bwaffe?

16 Bwe tukozesa ebiseera byaffe okweteekerateekera ensi empya, kiba kitegeeza nti tetunyumirwa bulamu leero? Nedda! Okuweereza Yakuwa ye ngeri esingayo obulungi ey’okukozesaamu obulamu bwaffe leero. Tetuweereza Yakuwa lwa kuba nti tukakibwa okukikola oba lwa kwagala bwagazi kuwonawo mu kibonyoobonyo ekinene. Twatondebwa nga tulina okuweereza Yakuwa, era ekyo kituleetera essanyu lingi. Okukolera ku bulagirizi obuva eri Yakuwa n’okuba n’enkolagana ennungi naye kisinga ekintu ekirala kyonna. (Soma Zabbuli 63:1-3.) Kya lwatu nti tekitwetaagisa kusooka kutuuka mu nsi empya tulyoke tufune emikisa egiva mu kuweereza Yakuwa n’obunyiikivu. Emikisa egyo ne leero tugifuna! Mu butuufu, abamu ku ffe tumaze emyaka mingi nga tufuna emikisa egyo, era okusinziira ku ebyo bye tuyiseemu mu bulamu, tukimanyi nti tewali kintu kyonna kiyinza kutuleetera ssanyu lisinga eryo lye tufuna mu kuweereza Yakuwa n’obunyiikivu.—Zab. 1:1-3; Is. 58:13, 14.

Omujuliraw wa Yakuwa ng’atuukiridde omukadde asobole okufuna obulagirizi okuva mu Bayibuli

Noonya obulagirizi obuva mu Bayibuli

Omujuliraw wa Yakuwa ng’atuukiridde omukadde asobole okufuna obulagirizi okuva mu Bayibuli

Noonya obulagirizi obuva mu Bayibuli

17. Ebintu ebyaffe ku bwaffe n’okwesanyusaamu binaaba na kifo ki mu nsi empya?

17 Mu nsi empya, tujja kukozesa ebimu ku biseera byaffe okukola ebintu ebitunyumira n’okwesanyusaamu. Ggwe ate oba, Yakuwa yatutonda nga twagala okwesanyusaamu n’okukola ebintu ebirala ebitunyumira. (Mub. 2:24) Mu butuufu, Yakuwa asuubiza nti ajja ‘kukkusa buli kiramu bye kyetaaga.’ (Zab. 145:16) Kyo kituufu nti twetaaga okwesanyusaamu n’okuwummulamu, naye ebintu ebyo bwe tuba ab’okubiganyulwamu mu bujjuvu, enkolagana yaffe ne Yakuwa gye tusaanidde okukulembeza mu bulamu bwaffe. Era bwe kityo bwe kijja okuba ne mu nsi empya. N’olwekyo, kiba kya magezi okuteeka ebintu ebyaffe ku bwaffe mu kifo ekituufu nga tukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwaffe era nga tukuumira ebirowoozo byaffe ku mikisa gye tufuna kati mu kuweereza Yakuwa!—Mat. 6:33.

18. Tuyinza tutya okulaga nti tweteekateeka okubeera mu Lusuku lwa Katonda emirembe gyonna?

18 Mu nsi empya, tugenda kunyumirwa obulamu n’okusinga bwe tusuubira. N’olwekyo, ka tukirage nti twagala okunyweza obulamu obwa nnamaddala nga tukola kyonna ekisoboka okubweteekerateekera. Ka tufube okukulaakulanya engeri ennungi n’okunyiikirira omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi. Era ka tufube okukulembeza ebintu eby’omwoyo mu bulamu bwaffe. Mu butuufu, tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuukiriza ebyo byonna by’asuubizza. N’olwekyo, ka tutambuza obulamu bwaffe mu ngeri eraga nti tulindirira ensi empya!

a Laba akatabo Young People Ask—Answers That Work, Muz. 2, lup. 311-318.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share