LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w15 12/1 lup. 3
  • Lwaki Kikulu Okutegeera Ebiri mu Bayibuli?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Lwaki Kikulu Okutegeera Ebiri mu Bayibuli?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Similar Material
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Kisoboka Okutegeera Bayibuli
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Okuyamba Abo Abayinza Obutakkiriza Katabo Baibuli ky’Eyigiriza
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Okozesa Brocuwa Zino?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
w15 12/1 lup. 3

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | KISOBOKA OKUTEGEERA BAYIBULI?

Lwaki Kikulu Okutegeera Ebiri mu Bayibuli?

“Bayibuli kitabo kya ddiini ekimanyiddwa ennyo. Naye si kitabo kya Bacayina era si kyamugaso gye bali.”​—BYAYOGERWA LIN, OW’OMU CHINA.

“Olaba n’ebitabo ebitukuvu eby’eddiini yange ey’Abahindu byannema okutegeera, kati olwo nnyinza ntya okutegeera Bayibuli?”​—BYAYOGERWA AMIT, OW’OMU BUYINDI.

“Bayibuli ngissaamu ekitiibwa kubanga kitabo kya dda era nnawulira nti kye kisinga okugulibwa. Naye nze sigirabangako.”​—BYAYOGERWA YUMIKO, OW’OMU JAPAANI.

Abantu bangi okwetooloola ensi Bayibuli bagissaamu nnyo ekitiibwa. Kyokka bangi tebamanyi bigirimu era n’abo abaliko bye bamanyi, bamanyi bitono ddala. Ekyo kituufu nnyo bwe kituuka ku bantu ababeera mu nsi eziri mu ssemazinga wa Asiya. Naye era ne mu nsi Bayibuli mwe zibunyisiddwa ennyo, bangi tebamanyi bigirimu.

Omukazi asoma Bayibuli

Naye oyinza okuba nga weebuuza nti, ‘Okutegeera ebiri mu Bayibuli kingasa kitya?’ Okutegeera ebiri mu kitabo ekyo ekitukuvu kijja kukusobozesa:

  • Okuba omumativu era omusanyufu

  • Okugonjoola ebizibu by’amaka

  • Okwaŋŋanga ebikweraliikiriza

  • Okukolagana obulungi n’abalala

  • Okumanya engeri y’okukozesaamu obulungi ssente zo

Ng’ekyokulabirako, Yoshiko abeera mu Japaani yayagalanga okumanya ebiri mu Bayibuli era n’asalawo okugisoma. Biki ebyavaamu? Agamba nti, “Bayibuli ennyambye okuba n’obulamu obw’amakulu era n’essuubi erikwata ku biseera eby’omu maaso. Kati obulamu bwange bulina ekigendererwa.” Amit, ayogeddwako waggulu, naye yasalawo okusoma Bayibuli. Agamba nti: “Nneewuunya nnyo okukimanya nti Bayibuli erimu amagezi agasobola okuyamba buli muntu.”

Bayibuli eyambye abantu bukadde na bukadde. Lwaki naawe togisoma n’olaba engeri gy’eyinza okukuyambamu?

Omukazi asoma Bayibuli

Okumanya engeri endala Bayibuli gy’eyinza okukuganyulamu, soma akatabo akalina omutwe Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share