BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO
Tusobola okumanya amazima agakwata ku Katonda?
Lwaki katonda ayagala tumanye amazima? Soma Yokaana 17:3
Bwe tusoma Bayibuli, Katonda aba ayogera naffe. Katonda yawa abantu omwoyo gwe omutukuvu ne gubaluŋŋamya okuwandiika Bayibuli. (2 Peetero 1:20, 21) Bayibuli esobola okutuyamba okumanya ebikwata ku Katonda.—Soma Yokaana 17:17; 2 Timoseewo 3:16.
Okuyitira mu Bayibuli, Katonda atubuulira ebintu bingi ebimukwatako. Atubuulira esonga lwaki yatonda abantu, by’ajja okubakolera, n’engeri gy’ayagala tukozeseemu obulamu bwaffe. (Ebikolwa 17:24-27) Yakuwa Katonda ayagala tumanye amazima agamukwatako.—Soma 1 Timoseewo 2:3, 4.
Lwaki Katonda ayagala abo abaagala amazima?
Yakuwa ye Katonda ow’amazima, era yatuma Omwana we Yesu ku nsi, okuyigiriza abantu amazima. N’olwekyo abantu abaagala amazima baagala Yesu. (Yokaana 18:37) Katonda ayagala okusinzibwa abantu abali ng’abo.—Soma Yokaana 4:23, 24.
Sitaani alemesezza abantu bangi okuyiga ebikwata ku Katonda olw’okuba asaasaanyizza enjigiriza nnyingi ez’obulimba ku Katonda. (2 Abakkolinso 4:3, 4) Abantu abatayagala mazima bawuliriza enjigiriza ezo ez’obulimba. (Abaruumi 1:25) Wadde kiri kityo, abantu bukadde na bukadde basomye Bayibuli ne bategeera amazima agakwata ku Katonda.—Soma Ebikolwa 17:11.