Amazima Gasobola Okukuganyula
Katonda atayinza kulimba akusuubiza okukuwa “obulamu obutaggwaawo.”—Yokaana 3:16.
KIKI KY’OTEEKWA OKUKOLA?
Yiga ebyo Ekigambo kya Katonda eky’amazima bye kigamba.—Yokaana 17:3, 17.
Salawo okugondera Katonda.—Ekyamateeka 30:19, 20.
Kolera ku bulagirizi bwa Katonda mu bulamu bwo.—Yakobo 1:25.
Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna baganyuddwa olw’okuyiga amazima agali mu Bayibuli. Bajja kuba basanyufu okukubuulira ku ebyo bye bayize.
Okusobola okumanya ebisingawo ebikwata ku kigendererwa kya Katonda eri abantu, laba essuula 3 ey’akatabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Osobola n’okukafuna ku www.pr418.com/lg.