Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda
ABANTU ABAMU BALOWOOZA NTI . . .
Katonda tatufaako, oba nti ali wala nnyo era tatuukirikika.
BAYIBULI KY’EGAMBA
“Musemberere Katonda naye anaabasemberera.”—Yakobo 4:8.
‘Mumukwase byonna ebibeeraliikiriza kubanga abafaako.’—1 Peetero 5:7.
BIKI BY’OYINZA OKUKOLA OKUSOBOLA OKUBEERA MUKWANO GWA KATONDA?
- Musabe.—Zabbuli 145:18, 19. 
- Muwulirize.—Zabbuli 32:8. 
- Kola by’ayagala.—Engero 3:5, 6. 
- Tolekulira.—Matayo 7:7, 8.