LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp16 Na. 5 lup. 16
  • Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
  • Obwakabaka bwa Katonda bulijja ddi?
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
  • Waliwo Gavumenti Etebenkedde Esobola Okufuga Ensi Yonna?—Kiki Bayibuli ky’Egamba?
    Ensonga Endala
  • Amazima Agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
wp16 Na. 5 lup. 16
Ekitangaala ekiva ku ntebe y’Obwakakabaka mu ggulu kimulisa ensi

Biki Bye Tuyiga Mu Bayibuli?

Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?

ABANTU ABAMU BAGAMBA NTI Obwakabaka bwa Katonda buli mu mitima gy’abantu; ate abalala balowooza nti abantu bwe banaaleeta emirembe ku nsi, awo bujja kuba bufuga. Ggwe olowooza otya?

BAYIBULI KY’EGAMBA

“Mu biseera bya bakabaka abo, Katonda w’eggulu alissaawo obwakabaka obutalizikirizibwa. . . . Bulibetenta era bulizikiriza obwakabaka [bw’abantu] bwonna.” (Danyeri 2:44) Obwakabaka bwa Katonda gavumenti ya ddala.

EBIRALA BYE TUYIGA MU BAYIBULI

  • Obwakabaka bwa Katonda bufugira mu ggulu.​—Matayo 10:7; Lukka 10:9.

  • Katonda akozesa Obwakabaka obwo okutuukiriza by’ayagala mu ggulu ne ku nsi.​—Matayo 6:10.

Obwakabaka bwa Katonda bulijja ddi?

OLOWOOZA OTYA?

  • Tewali amanyi

  • Bunaatera okujja

  • Tebulijja

BAYIBULI KY’EGAMBA

“Amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.” (Matayo 24:14) Amawulire amalungi bwe ganaamala okubuulirwa mu bujjuvu, Obwakabaka bwa Katonda bujja kujja buggyewo omulembe guno omubi.

EBIRALA BYE TUYIGA MU BAYIBULI

  • Tewali muntu yenna amanyi kiseera Obwakabaka bwa Katonda lwe bunajja.​—Matayo 24:36.

  • Obunnabbi obuli mu Bayibuli bulaga nti Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okujja.​—Matayo 24:3, 7, 12.

Okumanya ebisingawo, laba essuula 8 ey’akatabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa

Osobola n’okukafuna ku www.pr418.com/lg

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share