LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w16 Ddesemba lup. 29-31
  • Okuba Omukkakkamu—Kya Magezi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okuba Omukkakkamu—Kya Magezi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Subheadings
  • Similar Material
  • LWAKI KYA MAGEZI OKUBA OMUKKAKKAMU?
  • Obukkakkamu—Butuganyula Butya?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • “Ani mu Mmwe Alina Amagezi n’Okutegeera?”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Bw’Oba Omukkakkamu, Oba wa Maanyi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
w16 Ddesemba lup. 29-31
Omukazi alabirira bannamukadde ng’ayogera n’omukazi omunyiivu

Okuba Omukkakkamu—kya Magezi

Mwannyinaffe ayitibwa Toñi, omulimu gw’akola gwa kulabirira bannamukadde. Lumu yakeera ku makya n’agenda okulabirira maama w’omukazi omu. Bwe yatuukayo, omukazi oyo yamuyombesa ng’agamba nti yali atuuse kikeerezi ku mulimu. Naye Toñi yali tatuuse kikeerezi ku mulimu. Wadde kyali kityo, yeetondera omukazi oyo.

NE KU lunaku olwaddako, omukazi oyo yaddamu okuyombesa Toñi. Kiki Toñi kye yakola? Agamba nti: “Embeera eyo teyali nnyangu. Omukazi oyo yali annyombeseza bwereere.” Wadde kyali kityo, ne ku mulundi ogwo Toñi yeetondera omukazi oyo, era n’amugamba yali ategeera ennaku gye yali ayitamu.

Singa ggwe wali Toñi, kiki kye wandikoze? Wandisigadde ng’oli mukkakkamu? Oba kyandikuzibuwalidde okusigala ng’oli mukkakkamu? Ekituufu kiri nti si kyangu kusigala ng’oli mukkakkamu mu mbeera ng’eyo eyogeddwako waggulu. Bwe wabaawo ebintu ebitusumbuwa oba bwe tuyisibwa mu ngeri eteri nnungi, tekitera kuba kyangu kusigala nga tuli bakkakkamu.

Kyokka Bayibuli ekubiriza Abakristaayo okuba abakkakkamu. Mu butuufu, Ekigambo kya Katonda kiraga nti waliwo akakwate wakati w’obukkakkamu n’amagezi. Yakobo yagamba nti: “Ani mu mmwe alina amagezi n’okutegeera? Omuntu oyo abe n’empisa ennungi eziraga nti buli ky’akola akikola mu bukkakkamu obusibuka mu magezi.” (Yak. 3:13) Mu ngeri ki okuba omukkakkamu gye kiraga nti omuntu alina amagezi agava waggulu? Era kiki ekiyinza okutuyamba okukulaakulanya engeri eyo?

LWAKI KYA MAGEZI OKUBA OMUKKAKKAMU?

Okuba omukkakkamu kikkakkanya embeera. “Okuddamu n’eggonjebwa kukkakkanya ekiruyi, naye ekigambo eky’ekkayu kireeta obusungu.”​—Nge. 15:1.

Okuddamu n’obusungu kisobola okuviirako embeera okwongera okwonooneka kubanga ekyo kibanga okwongera enku mu muliro. (Nge. 26:21) Ku luuyi olulala, okuddamu n’obukkakkamu kisobola okukkakkanya embeera. Kisobola n’okukyusa endowooza y’omuntu ow’obusungu.

Ekyo Toñi yakirabako n’agage. Toñi bwe yaddamu omukazi oyo n’obukkakkamu, omukazi oyo yakaaba. Omukazi oyo yagamba Toñi nti ebizibu byali bimuyitiriddeko. Toñi yakozesa akakisa ako okubuulira omukazi oyo era n’atandika okumuyigiriza Bayibuli. Ekyo kyasoboka kubanga Toñi yali mukkakkamu.

Okuba abakkakkamu kituyamba okuba abasanyufu. “Balina essanyu abateefu [abakkakkamu], kubanga balisikira ensi.”​—Mat. 5:5.

Lwaki abantu abakkakamu basanyufu? Abantu bangi edda abaali abakambwe naye oluvannyuma ne bayiga okuba abakkakkamu kati basanyufu. Obulamu bwabwe bulongoose nnyo era bakimanyi nti ebiseera byabwe eby’omu maaso bijja kuba birungi nnyo. (Bak. 3:12) Adolfo, kati aweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina mu Sipeyini, atubuulira ebikwata ku bulamu bwe nga tannayiga mazima.

Adolfo agamba nti: “Obulamu bwange tebwalina kigendererwa. Emirundi mingi nnalemererwanga okufuga obusungu bwange era n’abamu ku mikwano gyange baali bantya. Naye lumu ebintu tebyaŋŋendera bulungi. Nnalwana era okukkakkana nga nfumitiddwa ebiso. Nnavaamu omusaayi mungi ne mbulako katono okufa.”

Kati, Adolfo yayiga amazima era ayigiriza abalala okuba abakkakkamu. Abantu bangi bamwagala nnyo olw’okuba mukkakkamu. Adolfo agamba nti musanyufu nnyo olw’enkyukakyuka ze yakola. Era yeebaza nnyo Yakuwa olw’okumuyamba okuyiga okuba omukkakkamu.

Bwe tuba abakkakkamu tusanyusa Yakuwa. “Mwana wange beeranga wa magezi osanyusenga omutima gwange, ndyoke mbeere n’eky’okuddamu eri oyo ansoomooza.”​—Nge. 27:11.

Sitaani, omulabe wa Katonda lukulwe, asoomooza Yakuwa. Katonda yandibadde n’ensonga entuufu emuleetera okusunguwala. Wadde kiri kityo, Bayibuli egamba nti Yakuwa “alwawo okusunguwala.” (Kuv. 34:6) Bwe tukoppa Katonda nga tulwawo okusunguwala era nga tuba bakkakkamu, tumusanyusa.​—Bef. 5:1.

Leero abantu bangi ‘beepanka, ba malala, bavvoola, bawaayiriza, tebeefuga, era bakambwe.’ (2 Tim. 3:2, 3) Wadde kiri kityo, ekyo tekisaanidde kuleetera Bakristaayo butaba bakkakkamu. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: ‘Amagezi agava waggulu ga mirembe era si makakanyavu.’ (Yak. 3:17) Bwe tuba abantu ab’emirembe era abatali bakakanyavu kiba kiraga nti tulina amagezi agava eri Katonda. Amagezi ago gatuyamba okuba abakkakkamu nga tuyisiddwa bubi, era ekyo kituleetera okwongera okusemberera Yakuwa ensibuko y’amagezi.

Ebisobola Okukuyamba Okuba Omukkakkamu

Singa wabaawo omuntu akuyisa obubi, kiki ekiyinza okukuyamba okusigala ng’oli mukkakkamu osobole okusanyusa Yakuwa? Lowooza ku magezi gano wammanga.

  1. 1 WEEWALE ‘OMWOYO GW’ENSI.”​—1 Kol. 2:12. Abantu bangi leero balowooza nti omuntu omukkakkamu aba munafu. Balowooza nti omuntu w’amaanyi alina kuba mukambwe. Endowooza ng’eyo eyoleka omwoyo gw’ensi era teyoleka magezi gava wa Katonda. Mu butuufu Bayibuli eraga nti omuntu omukkakkamu aba wa maanyi. Egamba nti: “Obugumiikiriza bugonza omukulembeze, era olulimi olugonvu lusobola okumenya eggumba.”​—Nge. 25:15.

    Ebibuuzo eby’okufumiitirizaako:

    Okuba omukkakkamu nkitwala ng’akabonero akalaga nti omuntu wa maanyi oba munafu?

    Nfuba okwewala “ebikolwa eby’omubiri,” gamba ng’obusungu n’okuyomba?​—Bag. 5:19, 20.

  2. 2 FUMIITIRIZA. Bayibuli egamba nti: “Omutima gw’omutuukirivu gufumiitiriza nga tannaba kwanukula, naye akamwa k’ababi kafubutukamu ebintu ebibi.” (Nge. 15:28) Bwe twogera nga tuli basunguwavu, tuyinza okwogera ebigambo oluvannyuma bye tuyinza okwejjusa. Naye bwe tufumiitiriza nga tetunnaba kwogera, kisobola okutuyamba okwogera mu ngeri ey’obukkakkamu era ereetawo emirembe.

    Ebibuuzo eby’okufumiitirizaako:

    Okusunguwala amangu kiyinza kunviiramu ki?

    Okwagala emirembe kinankubiriza okubuusa amaaso ensobi z’abalala? —Nge. 19:11.

  3. 3 SABA OBUTAYOSA. Saba Katonda akuwe omwoyo omutukuvu, nga gano ge maanyi agasingayo mu butonde bwonna. (Luk. 11:13) Kijjukire nti ekibala ky’omwoyo omutukuvu kizingiramu obukkakkamu n’okwefuga. Adolfo agamba nti: “Okunyiikirira okusaba Yakuwa kinnyamba nnyo, nnaddala mu mbeera eziyinza okundeetera okusunguwala.” Naffe Yakuwa ajja kutuwa omwoyo omutukuvu singa ‘tunyiikirira okusaba.’​—Bar. 12:12.

    Ebibuuzo eby’Okufumiitirizaako:

    Ntera okusaba Yakuwa okukebera omutima gwange n’ebiruubirirwa byange?

    Ntera okumusaba ampe omwoyo gwe omutukuvu n’amagezi nsobole okweyisa mu ngeri emusanyusa?​—Zab. 139:23, 24; Yak. 1:5.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share