Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Noovemba 13
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Yogera ku nteekateeka y’obuweereza bw’ennimiro eya wiikendi eno.
Ddak. 13: Akasanduuko k’Ebibuuzo. Kwogera kw’omukadde.
Ddak. 22: “Okuyamba Abaasiima Amawulire g’Obwakabaka Na. 36 okukulaakulana.” Okukubaganya ebirowoozo ku butundu 1-5 nga mukozesa ebibuuzo n’okuddamu. Yogera ku nteekateeka y’ekibiina ey’okukola mu kitundu kyonna ekitakolwangamu. Mwogere ku byokulabirako ebiri mu butundu 7 ne 8 ebikwata ku kukola okudiŋŋana, era buli kimu mukirage n’ekyokulabirako. Ggumiza obukulu bw’okuddayo eri bonna abaagala okumanya ebisingawo era n’okugezaako okutandika okubayigiriza Baibuli. Fundikira nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 9 ne ku byawandiikibwa ebiragiddwa.
Oluyimba 63 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Noovemba 20
Oluyimba 111
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Lipoota y’Eby’Embalirira.
Ddak. 15: Ebyokulabirako Ebikwata ku Kugaba Amawulire g’Obwakabaka Na. 36. Wa lipoota eraga we mutuuse nga mukola mu kitundu kyammwe. Waliwo omuntu yenna mu kibiina eyennyigira mu buweereza omulundi ogusooka? Yogera ku bigambo ebirungi ebyayogerwa bannyinimu. Waliwo ababuulizi abaasobola okutandika okuyigiriza abantu Baibuli? Bwe kiba bwe kityo, bagambe bannyonnyole oba balage engeri gye baakikolamu. Bajjukize bonna okuyamba abantu abaasiima be baasanga okukulaakulana.
Ddak. 20: “Mweyongere Okubuulira!” Kwogera n’okubuuza ebibuuzo. Abamu babadde bakolagana n’entegeka ya Yakuwa era banyiikidde mu mulimu gw’okubuulira obulamu bwabwe bwonna. Nga balina endowooza ennuŋŋamu, bafunye essanyu mu kugukola. (Laba akatabo Okumanya, olupapula 179, akatundu 20, ne Watchtower aka Maayi 1, 1992, empapula 21-2, obutundu 14-15.) Saba omubuulizi amaze emyaka mingi ng’abuulira ayogere ku nsonga lwaki anyiikiridde omulimu gw’okubuulira.
Oluyimba 141 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Noovemba 27
Oluyimba 153
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza bw’ennimiro eza Noovemba. Ebitabo eby’okugaba mu Ddesemba bijja kuba ekitabo Okumanya ne New World Translation. Nnyonnyola omulimu omukulu Abajulirwa ba Yakuwa gwe bakoze mu kufulumya Baibuli mu nnimi nnyingi.—Laba Watchtower aka Okitobba 15, 1997, empapula 11-12.
Ddak. 20: Kozesa Bulungi Ekitabo Reasoning. Okukubaganya ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo n’okuddamu ku mpapula 7-8. Laga engeri ekitabo kino bwe kyategekebwa okutuyamba okweteekateeka okwenyigira mu buweereza mu ngeri esingawoko obulungi. Nnyonnyola engeri ekitabo bwe kiyinza okukozesebwa ng’obuulira ku ssimu. Laga ekyokulabirako ku ngeri gy’oyinza okuzuulamu ebinaakuyamba okuddamu ekibuuzo. Bonna bakubirize okumanya ebiri mu kitabo kino, okukiteekanga mu nsawo zaabwe ze bakozesa mu kubuulira, era n’okukikozesa buli kiseera.
Ddak. 15: Nyinza Ntya Okwefuga mu Kulaba Ttivi? Omukadde ayogera n’ow’oluganda omuto amala ebiseera ebingi buli lunaku ng’alaba ttivi. Okusooka, ow’oluganda agamba nti tekiriimu kabi konna. Agamba nti ngeri ey’okwewumuzaamu era nti tekumukolako kabi konna. Omukadde ayogera ku nsonga enkulu eziri mu katabo Young People Ask essuula 36. Annyonnyola nti okulaba ttivi ekisukkiridde kutwala ebiseera eby’omuwendo ebyandibadde bikozesebwa okwesomesa, okugenda mu buweereza, oba okuyamba mu byetaago by’ekibiina. Ow’oluganda omuto asiima okubuulirirwa era n’agamba nti olw’okuganyulwa mu by’omwoyo, ajja kukendeezaamu mu ngeri gy’alabamu ttivi. Ebibiina ebitalina kizibu kino eky’okulaba ttivi biyinza okwogera ku byetaago by’ekibiina.
Oluyimba 175 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Ddesemba 4
Oluyimba 189
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina.“Kiki ky’Ogamba ku Kyuma Ekyanukula ku Ssimu?”
Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 20: “Ekigambo Ekyogerwa mu Kiseera Ekituufu.” Okukubaganya ebirowoozo n’abakuwuliriza n’okulaga ebyokulabirako. Bangi beewulira nga tebeekakasa bwe bagezaako okutandika emboozi, mu bukyamu balowooza nti beetaaga obukugu obw’enjawulo okusobola okufuna ebibala. Nnyonnyola engeri ffenna, nga mw’otwalidde n’abappya n’ababuulizi abato, gye tuyinza okutandikamu okukubaganya ebirowoozo mu ngeri ennyangu. Weekenneenye ennyanjula eziweereddwa, laga engeri bwe ziri ennyangu, era funayo ababuulizi babiri oba basatu balage ebyokulabirako. Juliza Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Maaki 1998, olupapula 8, okusobola okufuna ennyanjula endala eziyinza okukozesebwa. Bonna bakubirize babeere n’endowooza ennuŋŋamu balyoke basobole okufuna essanyu mu buweereza.
Oluyimba 218 n’okusaba okufundikira.