Okwejjukanya kw’Essomero ly’Obuweereza Bwa Teyokulase
Okwejjukanya ebibadde mu Ssomero ly’Obuweereza bwa Teyokulase okuva mu wiiki eya Ssebutemba 4 okutuuka Ddesemba 18, 2000. Kozesa olupapula olulala okuwandiikako eby’okuddamu mu bibuuzo bingi nga bw’osobola mu kiseera ekikuweereddwa.
[Weetegereze: Mu kwejjukanya kuno, Baibuli yokka y’eyinza okukozesebwa mu kuddamu ebibuuzo. Ebitabo ebijuliziddwa oluvannyuma lw’ebibuuzo bya kweyambisibwa ng’onoonyereza. Olupapula n’akatundu The Watchtower w’ejulizibwa biyinza obutalagibwa.]
Bino ebiddirira ddamu nti Kituufu oba Kikyamu:
1. Dawudi yaziyiza Abisaayi okutta Simeeyi olw’okuba Dawudi yali yazza emisango egyo Simeeyi gye yali amulumiriza. (2 Sam. 16:5-13) [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w99 5/1 lup. 32 kat. 3.]
2. Okubeera n’omuntu ow’omunda omuyonjo era atendekeddwa obulungi tekireetawo nkolagana nnungi yokka ne Katonda naye kikulu nnyo eri obulokozi bwaffe. (Beb. 10:22; 1 Peet. 1:15, 16) [w98 9/1 lup. 4 kat. 4]
3. Ebyogerwako mu 1 Bassekabaka, Omukristaayo abiganyulwamu byafaayo byokka kubanga ku bakabaka 14 abaafuga mu Isiraeri ne Yuda oluvannyuma lw’okufa kwa Sulemaani, bakabaka 2 bokka be baasobola okukola ekituufu mu maaso ga Yakuwa. [si lup. 64 kat. 1]
4. Obufuzi bwa Yesu obw’Emyaka Olukumi busobola okugeraageranyizibwa n’obufuzi bwa Sulemaani obw’emirembe obwamala emyaka 40. (1 Bassek. 4:24, 25, 29) [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w90-E 6/1 lup. 6 kat. 5.]
5. Okuziikibwa kwa Abiya mu ngeri ennungi bukakafu obulaga nti yali musinza wa Yakuwa mwesigwa, oyo yekka eyava mu nnyumba ya Yerobowaamu. (1 Bassek. 14:10, 13) [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w95 4/1 lup. 12 kat. 11.]
6. Okubatizibwa kw’Ekikristaayo kulaga nti omuntu afuuse omuweereza wa Katonda omukulu mu by’omwoyo. [w98 10/1 lup. 28 kat. 2]
7. Yakuwa yawa Eriya obuvumu obutali bwa bulijjo era n’amumalamu okutya kwonna. (1 Bassek. 18:17, 18, 21, 40, 46) [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w98 1/1 lup. 31 kat. 2.]
8. Yeekaalu ya Sulemaani kyali kizimbe kya njawulo si olw’ekitiibwa n’okutemagana kwayo kwokka naye olw’okuba yali ekiikirira yeekaalu ya Yakuwa ey’eby’omwoyo esingawo ekitiibwa. [si lup. 69 kat. 26]
9. Obuzibe bw’amaaso obwaleetebwa ku ggye ly’Abasuuli okusinziira ku kigambo kya Erisa, bulabika bwali bukwata ku bwongo kubanga baali basobola okulaba Erisa naye nga tebasobola kumutegeera. (2 Bassek. 6:18, 19) [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba si emp. 70-1 kat. 10.]
10. Okuweebwa “obujulirwa,” okwogerwako mu 2 Bassekabaka 11:12, kaali kabonero akalaga nti kabaka ky’annyonnyola okuva mu Mateeka ga Katonda kiba kya nkomerero era nga kirina okugobererwa. [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w91 2/1 lup. 31 kat. 6.]
Ddamu ebibuuzo bino ebiddirira:
11. Nga kituukagana ne 1 Yokaana 2:15-17, kiki abazadde abatya Katonda kye bandikubirizza abaana baabwe okwewala nga babawa obulagirizi mu kulondawo emirimu egisaanira? [w98 7/15 lup. 5 kat. 2]
12. Kiki ekitegeezebwa mu 2 Samwiri 18:8, awagamba nti: “Ekibira ne kitta abantu bangi ku lunaku olwo okusinga ekitala be kyatta”? [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w87 3/15 lup. 31 kat. 2.]
13. Baani leero abayinza okugeraageranyizibwa ku bantu ba Goliyaasi, Abalefayimu, era bagezaako kukola ki? (2 Sam. 21:15-22, NW) [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w89 1/1 lup. 20 kat. 8.]
14. Musingi ki ogwa Baibuli ogw’omuganyulo gwe tuyiga okuva mu 2 Samwiri 6:6, 7? [si lup. 63 kat. 30]
15. Musingi ki omukulu oguyinza okuyigibwa ku kyaliwo ekikwata ku musajja eyattibwa olw’okumenya etteeka lya Ssabbiiti? (Kubal. 15:35) [w98 9/1 lup. 20 kat. 2]
16. Tusobola okukoppa kwiini w’e Seeba, eyatindigga olugendo oluwanvu okuwulira ‘amagezi ga Sulemaani’ singa tukola ki? (1 Bassek. 10:1-9) [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w99-E 7/1 lup. 31 but. 1-2.]
17. Okusinziira ku 1 Bassekabaka 17:3, 4, 7-9, 17-24, mu ngeri ki esatu Eriya mwe yalagira nti akkiririza mu Yakuwa? [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w92-E 4/1 lup. 19 kat. 5.]
18. Lwaki Nabosi okugaana okuwa Akabu olusuku lwe olw’emizabibbu tekyali bubeezi kikolwa ekiraga emputtu? (1 Bassek. 21:2, 3) [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w97 8/1 lup. 13 kat. 18.]
19. Ebigambo ebiri mu 2 Bassekabaka 6:16 bizzizzaamu bitya abaweereza ba Yakuwa amaanyi leero? [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w98 6/15 lup. 18 kat. 5.]
20. Abakristaayo ab’amazima leero bandyekuumye batya enkola ya simony? [w98 11/15 lup. 28 kat. 5]
Wa ekigambo oba ebigambo ebyetaagibwa okumalayo mu bujjuvu ebigambo ebiddirira:
21. Omukristaayo ow’amazima tasaanidde ․․․․․․․․ ne yenyigira mu bulombolombo obutasanyusa ․․․․․․․․ (Nge. 29:25; Mat. 10:28) [w98 7/15 lup. 20 kat. 5]
22. Mu kuwa obujulirwa mu maaso ga Kabaka Agulipa, Pawulo yakozesa ․․․․․․․․, n’aggumiza ensonga ze yali ․․․․․․․․ ne Agulipa. (Bik. 26:2, 3, 26, 27) [w98 9/1 lup. 31 kat. 3]
23. Olw’okuba Katonda ․․․․․․․․, abamu bayinza okulowooza nti si muntu wa ddala, naye okunyiikirira ․․․․․․․․ kisobozesa omuntu ‘okulaba Oyo atalabika.’ (Beb. 11:27) [w98 9/15 lup. 21 but. 3-4]
24. Nga bwe kirabibwa ku byatuuka ku mugabe Omusuuli ayitibwa ․․․․․․․․, emiganyulo egy’amaanyi giyinza okufunibwa olw’okulaga ․․․․․․․․ [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w99 2/1 lup. 3 kat. 6–lup. 4 kat. 1.]
25. Ng’omutima gwa Yekonadabu bwe gwali n’ogwa Kabaka Yeku, ․․․․․․․․ leero bakkiriza era ne bakolera wamu ne Yeku Omukulu, ․․․․․․․․, akiikirirwa ku nsi ․․․․․․․․ (2 Bassek. 10:15, 16) [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w98 1/1 lup. 13 but. 5-6.]
Londako eky’okuddamu ekituufu mu bigambo ebiddirira:
26. (Setaani; Yakuwa; Yowaabu) ye yaleetera Dawudi okwonoona ‘ng’abala Isiraeri.’ (2 Sam. 24:1) [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w92 7/15 lup. 5 kat. 2.]
27. Nga kituukagana ne 1 Bassekabaka 8:1 ne Omubuulizi 1:1, Sulemaani yakuŋŋaanya abantu (okuzimba yeekaalu; okugoba abalabe ba Isiraeri; okusinza Yakuwa). [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba si lup. 112 kat. 3.]
28. Ekiseera eky’emyaka 20 Sulemaani mwe yazimbira yeekaalu n’ennyumba ye mu Yerusaalemi kigeraageranyizibwa n’ekiseera ekyalimu enkyukakyuka mu njigiriza n’entegeka ekyatandika mu (1919; 1923; 1931) era ne kiggwaako mu (1938; 1942; 1950). (1 Bassek. 9:10) [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w92 3/1 lup. 20 akasanduuko.]
29. Ekigambo “eggulu” ekikozesebwa mu 2 Bassekabaka 2:11 kitegeeza (ekifo eky’eby’omwoyo Katonda ky’abeeramu; eggulu erirabika; ebbanga waggulu w’ensi, eririmu ebinyonyi n’empewo). [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w97 9/15 lup. 15 akasanduuko.]
30. (Kerode Omukulu; Kayisaali Agusito; Kayisaali Tiberiyo) ye yalagira okubala abantu okwaviirako Yesu okuzaalirwa e Besirekemu mu kifo ky’e Nazaleesi. [w98 12/15 lup. 7 akasanduuko]
Kwataganya ebyawandiikibwa ebiddirira n’ebigambo ebiweereddwa wammanga:
Zab. 15:4; 2 Sam. 12:28; 2 Sam. 15:18-22; 2 Bassek. 3:11; Bak. 3:13
31. Obukulembeze mu nteekateeka ya Yakuwa eya teyokulase busaanidde okussibwamu ekitiibwa. [si lup. 63 kat. 30]
32. Obwesigwa eri entegeka ya Yakuwa n’abo abagikiikirira buteekwa okukuumibwa. [si lup. 63 kat. 30]
33. Okusiima obusaasizi bwa Yakuwa kuyinza okuleetera omuntu okwefuga n’okugumira ensobi z’abalala. [w98 11/1 lup. 6 kat. 3]
34. Nkizo okusembeza abagenyi n’okuweereza abaweereza ba Yakuwa abeesigwa abali mu buweereza obw’enjawulo. [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w97 11/1 lup. 31 kat. 1.]
35. Omuntu atya Katonda akola ky’asobola okutuukiriza ekisuubizo kye eky’okusasula ebimubanjibwa, ka kibe nti embeera ezaali zitasuubirwa zikifuula kizibu okukikola. [w98 11/15 lup. 27 kat. 1]