Okwekenneenya Ebiri mu Vidiyo The New World Society in Action
Ng’olaba vidiyo eyo, lowooza ku ngeri gy’oyinza okuddamu ebibuuzo bino: (1) Lwaki olutambi luno lwafulumizibwa, era kiki kye lwatuukiriza? (2) Abajulirwa ba Yakuwa bakuba bitabo ki, babikubira baani era lwaki? (3) Okubunyisibwa kwa magazini Omunaala gw’Omukuumi mu kiseera kino kugeraageranyizibwa kutya n’okwo okwaliwo mu 1954? (4) Mu myaka egyakayita, omulimu gwaffe ogw’okukuba ebitabo gweyongedde gutya okuba ogw’oku mulembe? (5) Kiki ekikuwuniikiriza ennyo ku lukuŋŋaana lw’ensi yonna olwaliwo mu 1953 mu Yankee Stadium? (6) Trailer City kyali ki, era bintu ki ebikulu ennyo bye walaba ebikikwatako? (7) Kiki ekiraga nti omulimu gwaffe si gwa bantu ba ggwanga limu lyokka, oba abantu ab’ekika ekimu? (8) Olabye otya omwoyo gw’okwagala entegeka ya Yakuwa gw’ekolerako? (Zab. 133:1) (9) Ani gw’olowooza nti yandyagadde okulaba vidiyo ekwata ku byafaayo by’Abajulirwa ba Yakuwa mu myaka gya 1950?