LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 9/01 lup. 4
  • Gutulemesa Okubuulira?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Gutulemesa Okubuulira?
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • Similar Material
  • “Onjagala Okusinga Bino?”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • “Musooke Munoonye Obwakabaka”
    Sinza Katonda Omu ow’Amazima
  • Weeyagalire mu Ebyo by’Oteganira
    ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
  • Kiki ky’Okulembeza?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
km 9/01 lup. 4

Gutulemesa Okubuulira?

1 Abantu bangi bakola nnyo. Abajulirwa ba Yakuwa be bamu ku bantu abasinga okukola ennyo nga bayiga Ekigambo kya Katonda, nga bagenda mu nkuŋŋaana z’ekibiina, n’okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro. Okwongereza ku ebyo, tukola nnyo ku mirimu gyaffe egya bulijjo, okulabirira awaka oba okukola ebituweereddwa ku ssomero, okwo nga kw’ogasse n’obuvunaanyizibwa obulala bungi, ng’ate byonna bitwala ebiseera. Mazima ddala ebyo bireetawo okusoomooza kwa maanyi nnyo eri emitwe gy’amaka.

2 Olw’embeera y’eby’enfuna etali nnungi mu bifo ebitali bimu, emitwe gy’amaka balina okukola n’amaanyi okumala essaawa nnyingi basobole okuyimirizaawo amaka gaabwe. Emirimu gye bakola bwe giba nga gitwala ebiseera bingi n’amaanyi, beesanga nga basigazizzaawo biseera bitono nnyo n’amaanyi okukola omulimu gw’okubuulira. Olw’okuba balina obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ab’omu maka gaabwe, abamu bayinza okulowooza nti ne bwe bawaayo ebiseera bitono mu buweereza, kiba kimala. (1 Tim. 5:8) Awatali kubuusabuusa, leero waliwo ebizibu bingi nnyo ebikwataganyizibwa n’okufuna ebintu ebyetaagisa mu bulamu. Naye omulimu gw’okola tegwandikulemesezza kubuulira amawulire amalungi. (Mak. 13:10) N’olwekyo, kiba kirungi twekenneenye embeera zaffe.

3 Olw’okuba embeera y’ensi ekyukakyuka buli kiseera, omutwe gw’amaka ayinza okumala ebiseera bingi nnyo ku mulimu gwe ng’alina ekigendererwa eky’okukuŋŋaanya ssente z’anaakozesa singa wajjawo ebizibu. (1 Kol. 7:31) Wadde ng’okuwaayo ebiseera ebingi okukola omulimu ogwo kiyinza okulabika ng’ekikusobozesa okufuna ebintu ebirala bingi oba emikisa mingi egy’okwesanyusaamu, naye ekyo kinaaleetera amaka go essanyu erisingawo singa osuula omuguluka ebiruubirirwa eby’omwoyo n’okubeerawo mu nkuŋŋaana obutayosa? Mazima ddala, twandyewazwe ekintu kyonna ekiyinza okutukola obubi mu by’omwoyo. Kiba kya magezi okugoberera okubuulirira kwa Yesu ‘okweterekera ebintu mu ggulu’ n’okubeera ‘abagagga eri Katonda.’​—Mat. 6:19-21; Lukka 12:15-21.

4 Sooka Onoonye eby’Obwakabaka: Yesu yakubiriza abagoberezi be okukulembeza eby’omwoyo. Yabagamba: “Temweraliikiriranga nga mwogera nti Tulirya ki oba tulinywa ki oba tulyambala ki?” Lwaki yagamba bw’atyo? Yannyonnyola: “Kubanga Kitammwe ali mu ggulu amanyi nga mwetaaga ebyo byonna.” Singa mazima ddala tukkiriza ebigambo ebyo, olwo nno tewajja kubaawo kintu kyonna ekinaatulemesa okukola kino Yesu ky’addako okwogera: “Naye musooke munoonye obwakabaka bwe n’obutuukirivu bwe; era ebyo byonna [ebintu bye twetaaga] mulibyongerwako.” Katonda ajja kukakasa nti tufuna ebintu ebyo bye twetaaga! (Mat. 6:31-33) Mazima ddala kino si kye kiseera okuwugulibwa n’okweraliikirira ekisukkiridde ku bikwata ku kweyimirizaawo oba okwagala okubeera mu mbeera ennungi mu mulembe guno ogunaatera okuggwaawo.​—1 Peet. 5:7; 1 Yok. 2:15-17.

5 Ekigendererwa ky’omulimu ekikulu, kwe kusobozesa omuntu okufuna ebintu bye yeetaaga. Naye ebintu bye twetaaga byenkana wa obungi? Omutume Pawulo yawandiika: “Bwe tuba n’emmere n’ebyokwambala, ebyo binaatumalanga.” Tugeezaako okufuna ebisingawo ku ebyo? Bwe kiba bwe kityo, tuyinza okuba nga tukungula ebiva mu ekyo Pawulo bye yayogerako: “Abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego n’okwegomba okungi okw’obusirusiru okwonoona, okunnyika abantu mu kubula n’okuzikirira.” (1 Tim. 6:8, 9; Mat. 6:24; Luk. 14:33) Tuyinza tutya okumanya oba nga tukugirwa olw’okwagala okufuna ebintu bingi?

6 Bwe kiba nti olw’omulimu gwe tukola twenyigira kitono nnyo mu buweereza oba singa tulemererwa okulaba obwetaavu obw’okwerekereza olw’amawulire amalungi, olwo nno, waba waliwo obwetaavu obw’okukola enkyukakyuka mu bintu bye tutwala ng’ebikulu. (Beb. 13:15, 16) Okuba n’obulamu obwangu kiyinza okutuyamba okuggyawo ekintu ekitulemesa okubuulira. Ebiruubirirwa eby’Obwakabaka bye bisaanidde okukwata ekifo ekisooka bwe kituuka ku ngeri gye tukozesaamu ebiseera n’amaanyi gaffe.

7 Okufuba Okutali kwa Bwereere: Ebigambo bya Pawulo bitukubiriza ‘okweyongeranga bulijjo mu mulimu gwa Mukama waffe, nga tumanyi ng’okufuba kwaffe si kwa bwereere mu Mukama waffe.’ (1 Kol. 15:58) ‘Omulimu gwa Mukama waffe’ ogusingayo okuba omukulu, kwe kubuulira Obwakabaka n’okufuula abayigirizwa. (Mat. 24:14; 28:19, 20) Okusobola okugwenyigiramu nga bwe kisoboka, tusaanidde tukole enteekateeka ey’okubeera mu buweereza bw’ennimiro buli wiiki, era tufube nnyo obutakozesa biseera ebyo ku bintu ebirala. (Bef. 5:15-17) Olwo nno, ka gube mulimu gwe tukola oba ekintu ekirala kyonna, tekijja kutulemesa mu buweereza bwaffe.

8 Bwe twewaayo okubuulira abalala amazima ag’omu Baibuli, tufuna essanyu ery’ekitalo eriva mu kugaba. (Bik. 20:35) Bwe tuluubirira omulimu gw’okubuulira Obwakabaka, tusobola okuba abakakafu nti ebiseera eby’omu maaso bijja kutubeerera birungi, ‘kubanga Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu [gwaffe] n’okwagala kwe [twalaga] erinnya lye.’​—Beb. 6:10.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share