LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 9/01 lup. 3
  • Akasanduuko K’ebibuuzo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Akasanduuko K’ebibuuzo
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • Similar Material
  • Enkuŋŋaana z’Okugenda Okubuulira Zituganyula Nnyo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
  • Ganyulwa mu Nkuŋŋaana z’Okugenda mu Nnimiro
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Enkuŋŋaana z’Obuweereza bw’Ennimiro
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Ekyawandiikibwa ky’Olunaku Si kya Kuddamu Kukozesebwa mu Nkuŋŋaana z’Okubuulira
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
km 9/01 lup. 3

Akasanduuko K’ebibuuzo

◼ Kiki ekirina okwogerwako mu lukuŋŋaana lw’okugenda mu buweereza bw’ennimiro?

Ekigendererwa ky’olukuŋŋaana lw’okugenda mu nnimiro kwe kutuyamba okussa ebirowoozo byaffe ku mulimu gw’obuweereza. N’olwekyo, alukubiriza asaanidde okweteekateeka obulungi asobole okwogera ebigambo ebizzaamu amaanyi, ebizimba, era ebituukira ddala ku nsonga. Ekyawandiikibwa eky’olunaku bwe kiba nga kikwatagana n’omulimu gw’okubuulira, kiyinza okusomebwa era ne kikubaganyizibwako ebirowoozo mu bufunze. Kyokka, okusingira ddala olukuŋŋaana olwo lusaanidde okussa essira ku mulimu gw’obuweereza, nga bonna abagenda okubuulira bayambibwa okwetegeka obulungi okutuukiriza obuweereza bwabwe olunaku olwo.​—2 Tim. 4:5.

Ensonga ennungi okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka ziyinza okukubaganyizibwako ebirowoozo bonna basobole okumanya ekitabo ekirina okugabibwa omwezi ogwo n’engeri y’okukigabamu. Ku lunaku olw’okugabirako magazini, ebyokulabirako ebiva mu kitundu ekirina omutwe “Kye Tulina Okwogera nga Tugaba Magazini” biyinza okulagibwa. Ku kaweefube omulala, ennyanjula emu oba bbiri eziri mu katabo Reasoning era nga zituukagana n’ekitundu, ziyinza okwogerwako. Ensonga ekwata ku buweereza eyinza okukubaganyizibwako ebirowoozo oba okulagibwa ng’ekyokulabirako, gamba ng’engeri y’okukozesamu Baibuli ng’oli mu maka g’omuntu, engeri y’okwanukulamu abaziyiza, engeri y’okutegeezaamu omuntu ku nteekateeka y’okumuyigiriza Baibuli, oba engeri y’okukolamu okuddiŋŋana.

Enkuŋŋaana ez’okugenda mu nnimiro tezirina kusukka ddakiika 10 oba 15, ng’ekyo kitwaliramu okuteekateeka akabinja ako, okubawa ekitundu eky’okukolamu n’okusaba. Ng’olukuŋŋaana olwo luwedde, bonna ababaawo basaanidde okumanya ani gwe bagenda okukola naye ne gye bagenda okukola, era basaanidde bagenderewo amangu ago mu kitundu kye bagenda okukolamu. Olw’obumpi bw’olukuŋŋaana olwo, kiba kirungi bonna okukwata ebiseera. Singa olukuŋŋaana olw’okugenda mu nnimiro lubaawo oluvannyuma lw’olukuŋŋaana olulala, gamba ng’olukuŋŋaana olw’Okuyiga Omunaala gw’Omukuumi, lusaanidde okuba nga lumpi ddala. Kiba tekyetaagisa kukubaganya birowoozo ku kyawandiikibwa eky’olunaku kubanga baba bamaze okuganyulwa mu lukuŋŋaana olwo olwakaggwa.

Ab’oluganda ababatize era abalina ebisaanyizo basaanidde okulondebwa nga bukyali okukubiriza buli lukuŋŋaana olw’okugenda mu nnimiro. Bwe kiba nti mu nnaku ezimu ab’oluganda tebabaawo kuzikubiriza, abakadde basaanidde okulonda bannyinaffe ababatize abayinza okukikola singa obwetaavu ng’obwo bubaawo. Ng’atudde, mwannyinaffe ayinza okukubaganya ebirowoozo n’abo abagenda mu nnimiro ku kyawandiikibwa eky’olunaku awamu n’ensonga endala ezikwatagana n’obuweereza bw’ennimiro. Kyokka, by’ayogera birina okuba mu bufunze. Asaanidde okwesiba ekitambaala ku mutwe.

Enkuŋŋaana z’okugenda mu buweereza bw’ennimiro zituwa omukisa gw’okuzzibwamu amaanyi n’okweteekateeka okwenyigira mu buweereza. Akubiriza gy’akoma okuteekateeka obulungi, bonna gye bakoma okuganyulwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share