Ekyawandiikibwa ky’Olunaku Si kya Kuddamu Kukozesebwa mu Nkuŋŋaana z’Okubuulira
Gye buvuddeko awo, ng’oluusi ekyawandiikibwa ekya buli lunaku kikozesebwa mu kukubiriza enkuŋŋaana z’okugenda okubuulira bwe kiba nga kikwatagana n’omulimu gw’okubuulira. Kino kikyusiddwamu. Akatabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku si ka kuddamu kukozesebwa mu lukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira. Nga bwe kibadde mu kusooka, abakubiriza olukuŋŋaana olwo bayinza okukozesa Bayibuli, Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka, ekitabo Ssomero ly’Omulimu, akatabo Reasoning, n’ebitabo ebirala ebikwatagana n’okubuulira. Abo ababa bagenda okukubiriza olukuŋŋaana olwo basaanidde okuteekateeka ebintu ebituukirawo ebinaayamba abo abagenda okubuulira okutuukiriza obulungi obuweereza bwabwe olunaku olwo. Nga bwe kibadde, olukuŋŋaana lw’okugenda mu nnimiro lulina okukubirizibwa mu ddakiika 10 oba obutasukka 15, era lusaanidde okuba olumpimpi bwe lubaawo oluvannyuma lw’enkuŋŋaana z’ekibiina.