Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Febwali 28
WIIKI ETANDIKA FEBWALI 28
Oluyimba 5 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 31 ¶10-17 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Eseza 1-5 (Ddak. 10)
Okwejjukanya (Ddak. 20)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Yogera ku Bintu Ebizzaamu Amaanyi. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 202. Ng’okozesa ebitabo bye tunaagaba omwezi ogujja, laga ekyokulabirako ku ngeri y’okukozesaamu amagezi agaweereddwa mu katundu akasembayo.
Ddak. 10: Ganyulwa mu Kwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku nnyanjula y’akatabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa—2011. Bwe muba temunakafuna, mukozese ennyanjula ey’akatabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa—2010. Kubiriza bonna okwekenneenya ekyawandiikibwa buli lunaku. Saba abawuliriza boogere ekiseera kye bassaawo okusomeramu ekyawandiikibwa ky’olunaku n’engeri gye baganyuddwamu. Mu bufunze yogera ku kyawandiikibwa ky’omwaka 2011. Mukubaganye ebirowoozo ku kitundu ekirina omutwe “Ekyawandiikibwa ky’Olunaku Si kya Kuddamu Kukozesebwa mu Nkuŋŋaana z’Okubuulira.”
Ddak. 10: Weeteekereteekere Okugaba Magazini mu Maaki. Kukubaganya birowoozo. Mu ddakiika emu oba bbiri nokolayo ebiri mu lukalala lw’ebyo ebiri mu magazini. Oluvannyuma londa ebitundu bibiri oba bisatu, era osabe abawuliriza boogere ebibuuzo n’ebyawandiikibwa bye bayinza okukozesa nga bazigaba. Laga engeri y’okugabamu buli emu ku magazini ezo.
Oluyimba 33 n’Okusaba