LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • be essomo 34 lup. 202-lup. 205 kat. 4
  • Mu Ngeri Ezimba era Ezzaamu Amaanyi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Mu Ngeri Ezimba era Ezzaamu Amaanyi
  • Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Similar Material
  • Okulongoosa mu Ngeri gye Tunyumyamu
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Ebizimba era Ebizzaamu Amaanyi
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Olina ky’Okola Okulaba Nti Enkuŋŋaana z’Ekikristaayo Zizimba?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okutandika Emboozi Osobole Okubuulira Embagirawo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
See More
Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
be essomo 34 lup. 202-lup. 205 kat. 4

ESSOMO 34

Mu Ngeri Ezimba era Ezzaamu Amaanyi

Kiki ky’osaanidde okukola?

Mu kifo ky’okwemalira ku bintu ebimalamu amaanyi, yogera ku bintu ebizzaamu amaanyi oba ebiwa essuubi.

Lwaki Kikulu?

Abantu baweddemu amaanyi olw’okuba ensi teriimu kwagala. Bangi balina ebizibu eby’amaanyi. Abantu abawombeefu basobola okufuna essuubi singa babuulirwa obubaka bwa Baibuli mu ngeri ennungi.

TUWEEREDDWA omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi. Yesu yagamba: “Amawulire amalungi kigagwanira okusooka okubuulirwa mu mawanga gonna.” (Mak. 13:10, NW) Yesu kennyini yatuteerawo ekyokulabirako ng’abuulira ‘amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda.’ (Luk. 4:43) N’obubaka abatume bwe baabuuliranga bwogerwako ‘ng’amawulire amalungi agakwata ku Katonda’ era ‘ng’amawulire amalungi agakwata ku Kristo.’ (1 Bas. 2:2; 2 Kol. 2:12) Obubaka ng’obwo buzzaamu amaanyi era buzimba.

Nga tukolera ku bigambo bya ‘malayika abuuka mu bbanga ery’omu ggulu ng’alina enjiri ey’emirembe n’emirembe,’ naffe tukubiriza abantu nti: “Mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa.” (Kub. 14:6, 7) Tubuulira abantu buli wamu ebikwata ku Katonda ow’amazima, erinnya lye, engeri ze ennungi ennyo, ebikolwa bye eby’ekitalo, ekigendererwa kye eky’okwagala, obuvunaanyizibwa bwe tulina gy’ali n’ebyo by’atwetaagisa. Amawulire amalungi gazingiramu okutegeeza abantu nti Yakuwa Katonda ajja kuzikiriza abantu ababi, abatamuwa kitiibwa era abakaluubiriza obulamu bw’abalala . Kyokka, si buvunaanyizibwa bwaffe okusalira omusango abantu be tubuulira. Ekiruubirirwa kyaffe kwe kulaba nti abantu bangi nnyo nga bwe kisoboka bakkiriza obubaka bwa Baibuli era basobole okuganyulwa mu mawulire amalungi agababuuliddwa.​—Nge. 2:20-22; Yok. 5:22.

Toteeka Nnyo Ssira ku Nsonga Ezimalamu Amaanyi. Kya lwatu, waliwo ebintu ebimalamu amaanyi mu bulamu. Ebintu ng’ebyo tetubibuusa maaso. Ng’otandika okunyumya n’omuntu, oyinza okunokolayo ekizibu ekikwata ku bantu b’omu kitundu ky’obuuliramu era ne mukikubaganyaako ebirowoozo. Kyokka, tekigasa okuteeka essira ku kizibu ekyo. Abantu bawulira amawulire agenyamiza buli kiseera, n’olwekyo okwogera ennyo ku bintu ebimalamu amaanyi kiyinza okulemesa abantu okuwuliriza. Amangu ddala nga wakatandika okwogera n’omuntu, fuba okumulaga amazima agazzaamu amaanyi agali mu Kigambo kya Katonda. (Kub. 22:17) Omuntu ne bw’aba tayagala oyongere kwogera naye, ojja kuba omaze okumutegeezayo ekintu ekizimba ky’ayinza okulowoozaako. Ekyo kiyinza okumuleetera okwagala okuwuliriza ku mulundi omulala.

Mu ngeri y’emu, bw’oba osabiddwa okuwa emboozi, tomala kiseera kiwanvu ng’oyogera ku bintu ebimalamu amaanyi. Singa omwogezi amala ekiseera kiwanvu ng’ayogera ku ngeri abafuzi gye balemereddwamu, ku bumenyi bw’amateeka n’ettemu ebiriwo oba ku bikolwa eby’obugwenyufu ebicaase ennyo, ajja kuba ayongera bwongezi kumalamu maanyi abamuwuliriza. Ebintu ebimalamu amaanyi byogereko awo wokka we kyetaagisiza. Bw’obyogerako we kyetaagisiza, ojja kusobola okulaga nti by’oyogera bikwatagana bulungi n’ebiriwo mu nsi. Ate era kiyinza okuyamba abakuwuliriza okutegeera ensonga lwaki embeera eyo weeri era n’okulaga engeri amagezi agali mu Baibuli gye gali ag’omuganyulo. Bwe kiba kyetaagisa, yogera ku bizibu ebiriwo naye totwala biseera biwanvu nnyo ng’obyogerako.

Kiyinza obutasoboka okwewalira ddala okwogera ebintu ebinakuwaza ng’owa emboozi. Ate era, kiyinza okubeera ekizibu okwogera ku bintu ebisanyusa n’ebinakuwaza mu ngeri eneeganyula abakuwuliriza. Okusobola okuyamba abakuwuliriza okuganyulwa, oteekwa okumanya biki by’olina okwogerako, by’onoolekayo, era ne by’olina okuteekako essira. Mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yakubiriza abaali bamuwuliriza okwewala ebikolwa eby’okwerowoozaako eby’abawandiisi n’Abafalisaayo era n’abawa ebyokulabirako ebitonotono ku nsonga eyo. (Mat. 6:1, 2, 5, 16) Kyokka, mu kifo ky’okwogera ennyo ku bintu ebimalamu amaanyi ebyakolebwanga abakulembeze b’amadiini abo, Yesu yassa essira ku kutegeera amakubo ga Katonda ag’amazima era n’okugagoberera. (Mat. 6:3, 4, 6-15, 17-34) Ekyo kyaganyula nnyo abaali bamuwuliriza.

Yogera mu Ngeri Ezzaamu Amaanyi. Singa osabibwa okuwa emboozi mu kibiina kyo ng’ekwata ku bintu ebimu ebirina okukolebwa Abakristaayo, fuba okwogera mu ngeri ezimba so si okubavumirira. Kakasa nti ekyo ky’okubiriza abalala okukola naawe ky’okolera ddala. (Bar. 2:21, 22; Beb. 13:7) Yoleka omukwano ng’oyogera, so si busungu. (2 Kol. 2:4) Bw’obeera n’endowooza nti bakkiriza banno baagala okusanyusa Yakuwa, ekyo kijja kweyolekera mu by’oyogera, era kijja kubaganyula. Weetegereze engeri omutume Pawulo gye yayolekamu endowooza efaananako bw’etyo, nga bwe kiri mu 1 Abassessalonika 4:1-12; 2 Abassessalonika 3:4, 5; Firemooni 4, 8-14, 21.

Ebiseera ebimu kiyinza okwetaagisa abakadde okulabula ekibiina ku mpisa ezitasaana. Kyokka, obwetoowaze bujja kubayamba okwogera ne baganda baabwe mu mwoyo ogw’obuwombeefu. (Bag. 6:1) Engeri gye boogeramu erina okulaga nti bawa ekitiibwa abo abali mu kibiina. (1 Peet. 5:2, 3) Baibuli ekubiriza abo abakyali abavubuka okwegendereza ennyo mu kino. (1 Tim. 4:12; 5:1, 2; 1 Peet. 5:5) Bwe kiba kyetaagisa okunenya, okukangavvula, oba okutereeza, kirina kukolebwa okusinziira ku ekyo Baibuli ky’eyogera. (2 Tim. 3:16) Omwogezi tasaanidde kukozesa Byawandiikibwa mu bukyamu okusobola okuwagira endowooza ye. Ne bwe kiba nga abawuliriza balina we beetaaga okulongoosaamu, omwogezi ayinza okwogera mu ngeri ezzaamu amaanyi singa essira aliteeka ku ngeri y’okwewalamu ekibi, engeri y’okugonjoolamu ebizibu, engeri y’okuvvuunuka empisa embi era n’okulaga engeri ebyo Yakuwa by’atwetaagisa gye bituganyula.​—Zab. 119:1, 9-16.

Ng’oteekateeka emboozi yo, lowooza nnyo ku ngeri gy’ojja okufundikiramu ensonga enkulu era n’emboozi yonna okutwalira awamu. Ebigambo by’oyogera ng’ofundikira bijjukirwa nnyo. Ebigambo ebyo binazzaamu amaanyi?

Ng’Onyumya ne Bakkiriza Banno. Abaweereza ba Yakuwa basiima nnyo okubeera awamu mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo. Ebyo biba biseera bya kuzzibwamu maanyi mu by’omwoyo. Baibuli etukubiriza ‘okuzziŋŋanamu amaanyi’ nga tukuŋŋaanye wamu okusinza. (Beb. 10:25) Ekyo tetukikola nga tuwa buwi mboozi oba nga tulina bye tuddamu mu nkuŋŋaana, naye era tukikola nga tunyumya ne bannaffe ng’olukuŋŋaana terunnatandika oba nga luwedde.

Wadde nga kirungi okunyumya ku bintu ebikwata ku bulamu bwaffe obwa bulijjo, ekisinga okuzzaamu amaanyi kwe kunyumya ku by’omwoyo. Kino kizingiramu okunyumya ku ebyo bye tusanze mu kuweereza Katonda. Ate era kizzaamu amaanyi buli omu bw’alaga nti afaayo ku munne.

Tulina okwegendereza tuleme kutwalirizibwa nsi etwetoolodde. Bwe yali awandiikira Abakristaayo ab’omu Efeso, Pawulo yagamba: “Kale mwambule obulimba, mwogerenga amazima buli muntu ne munne.” (Bef. 4:25) Okwogera amazima mu kifo ky’obulimba kizingiramu obutagulumiza bintu n’abantu ensi by’egulumiza. Ate era Yesu yalabula ku ‘bulimba bw’obugagga.’ (Mat. 13:22) N’olwekyo, bwe tuba twogera n’abalala, tulina okwegendereza tuleme okutumbula obulimba obwo nga twogera mu ngeri ekubiriza abalala okunoonya eby’obugagga.​—1 Tim. 6:9, 10.

Ng’ayogera ku bwetaavu bw’okuzimba abalala, omutume Pawulo atukubiriza obutasalira wa luganda musango oba okumufeebya olw’okuba alina ebintu ebimu by’atakola olw’okubeera ‘omunafu mu kukkiriza,’ kwe kugamba, nga tategeera bulungi byonna ebizingirwa mu ddembe ly’Ekikristaayo. Mu butuufu, okusobola okunyumya n’abalala mu ngeri ezimba, tulina okumanya ebibakwatako na wa we batuuse mu kukulaakulana mu by’omwoyo. Nga kyandibadde kibi nnyo ‘okuteeka ekyesittaza mu maaso g’ow’oluganda’!​—Bar. 14:1-4, 13, 19.

Abo abalina ebizibu eby’amaanyi​—gamba ng’obulwadde obw’olukonvuba​—basiima nnyo bwe twogera nabo ku bintu ebizimba. Omuntu ali mu mbeera ng’eyo ayinza okuba ng’afuba nnyo okusobola okubaawo mu nkuŋŋaana. Abo abamanyi embeera ye bayinza okumubuuza: “Weewulira otya kati?” Awatali kubuusabuusa ajja kusiima nnyo bwe bamufaako bwe batyo. Kyokka, kiyinza okuba nga kimunakuwaza okwogera ku bulwadde bwe. Ebigambo ebimusiima era ebimuzzaamu amaanyi biyinza okumusanyusa ennyo. Waliwo ekiraga nti akyayagala Yakuwa era nti agumiikiriza embeera enzibu gy’alimu? Owulira ng’ozziddwamu amaanyi bw’abaako ky’addamu mu nkuŋŋaana? Kyandimuzizzaamu amaanyi okusingawo singa oyogera ku ebyo by’asobola okukola mu kibiina mu kifo ky’okwogera ku ebyo by’atasobola kukola?​—1 Bas. 5:11.

Emboozi zaffe okusobola okuzimba abalala, kikulu nnyo okulowooza ku ngeri Yakuwa gy’atunuuliramu ensonga eyo eba eyogerwako. Mu Isiraeri ey’edda, Yakuwa yanyiigira nnyo abo abaayogeranga obubi ku bantu abaali bamukiikirira era n’abo abeemulugunyanga olw’emmaanu. (Kubal. 12:1-16; 21:5, 6) Tulaga nti tuganyuddwa mu byokulabirako ebyo bwe tuwa abakadde ekitiibwa era bwe tusiima emmere ey’eby’omwoyo etuweebwa okuyitira mu kibiina ky’omuddu omwesigwa.​—1 Tim. 5:17.

Tekitera kuba kizibu okufuna ebintu ebizimba eby’okwogerako nga tuli ne baganda baffe Abakristaayo. Kyokka, singa wabaawo ayogera mu ngeri evumirira, baako ky’okolawo okukyusa emboozi eyo musobole okunyumya ebizimba.

Ka tube nga tuwa balala bujulirwa, tuwa mboozi ku pulatifoomu, oba nga twogera ne bakkiriza bannaffe, tukozesenga amagezi tusobole okwogera ‘ebintu ebirungi ebyetaagisa okuzimba abo abawulira.’​—Bef. 4:29.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU

  • Jjukira nti omulimu gwaffe gwa kubuulira mawulire malungi.

  • Yogera ebizimba abalala mu kifo ky’okubavumirira.

  • Beera n’endowooza ennuŋŋamu eri abo b’oyogera n’abo.

  • Ng’onyumya n’omuntu, lowooza ku ngeri by’oyogera gye biyinza okumuyisaamu.

EKY’OKUKOLA: Kyalira omuntu alina obulemu ku mubiri oba oyo atasobola kuva waka. Baako ebigambo ebizimba by’omugamba. Laga nti omulumirirwa, naye by’oyogera birina okuba nga bizimba. By’onooyogerako naye birowoozeeko nga bukyali.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share