Okwejjukanya
Ebibuuzo bino wammanga bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Febwali 28, 2011. Akubiriza essomero ajja kukubiriza okwejjukanya mu ddakiika 20 ng’akwesigamya ku ebyo bye twayiga okuva nga Jjanwali 3 okutuuka Febwali 28, 2011.
1. Mulimu ki Keezeekiya gwe yakola ku ntandikwa y’obufuzi bwe era tuyinza kumukoppa tutya leero? (2 Byom. 29:16-18) [w09 6/15 lup. 9 kat. 13]
2. Ebyo ebiri mu 2 Ebyomumirembe 36:21 bikakasa bitya okutuukirizibwa kw’obunnabbi obuli mu Yeremiya 25:8-11? [w06-E 11/15 lup. 32 kat. 1-4]
3. Ebiri mu Ezera 3:1-6 bikwatagana bitya n’obukakafu obuli mu Byawandiikibwa obulaga nti emyaka 70 Yerusaalemi gye kyamala nga kiri matongo gyaggwaako mu kiseera ekituufu? [w06 1/1 lup. 25 kat. 2]
4. Lwaki Ezera yeeraliikirira nnyo bwe yakimanya nti abamu ku Baisiraeri baali bawasizza abawala b’ab’amawanga? (Ezer. 9:1-3) [w06 1/1 lup. 26 kat. 1]
5. “Abakungu” baali baani era ndowooza ki gye baalina gye tusaanidde okwewala? (Nek. 3:5) [w06 2/1 lup. 30 kat. 1; w86-E 2/15 lup. 25]
6. Kyakulabirako ki ekirungi Gavana Nekkemiya kye yateerawo abakadde mu kibiina Ekikristaayo? (Nek. 5:14-19) [si-E lup. 90 kat. 16]
7. Okufaananako Abaisiraeri abaaliwo mu biseera bya Nekkemiya, tuyinza tutya okwewala okulagajjalira ‘ennyumba ya Katonda waffe’? (Nek. 10:32-39) [w98 11/1 lup. 16 kat. 12]
8. Bwe tulowooza ku nneeyisa ya Nekkemiya, kiyinza kutuleetera kwebuuza bibuuzo ki? (Nek. 13:31) [w96 10/1 lup. 16 kat. 3]
9. Eseza yeetaba ne Kabaka Akaswero nga tebannafumbiriganwa? (Es. 2:14-17) [w06 3/1 lup. 5 kat. 4]
10. Lwaki Moluddekaayi teyakutamya ku mutwe nga Kamani ayitawo? (Es. 3:2, 4) [it-2-E lup. 431 kat. 7]