Kiki ky’Okulembeza?
1 Ekibuuzo ekyo wandikizzeemu otya? Ekituufu kiri nti ffenna twagala okukulembeza eby’Obwakabaka. (Mat. 6:33) Naye oyinza okwebuuza, ‘Bye nkola bikiraga nti bwe kiri?’ Baibuli etukubiriza nti: ‘Mukakasize ddala ekyo kye muli.’ (2 Kol. 13:5, NW) Tuyinza tutya kukakasa nti ddala tukulembeza eby’Obwakabaka?
2 Ebiseera Byaffe: Tuyinza okusooka okwetegereza engeri gye tukozesaamu ebiseera byaffe. (Bef. 5:15, 16) Buli wiiki tumala ebiseera byenkana wa nga tuli ne mikwano gyaffe, nga tulaba ttivi, nga tuli ku Internet, oba nga tukola ekintu ekitunyumira? Singa tuwandiika ebiseera bye tumala ku bintu ng’ebyo ne tubigeraageranya n’ebyo bye tumala ku bintu eby’omwoyo, kiyinza okutuggya enviiri ku mutwe. Tulemererwa okwenyigira mu bintu eby’omwoyo olw’okuba tukola nnyo tusobole okwetuusaako byonna bye twagala? Mirundi emeka gye tusubwa enkuŋŋaana n’okubuulira ne tugenda okwesanyusaamu ku wiikendi?
3 Soosa Ebisinga Obukulu: Bangi ku ffe ebiseera tebitumala kukola buli kye twagala. N’olwekyo okusobola okukulembeza eby’Obwakabaka, twetaaga okumanya bye tulina okusoosa era ne tussaawo ebiseera okukola ku ebyo ‘ebisinga obukulu.’ (Baf. 1:10) Bino bizingiramu okwesomesa Ekigambo kya Katonda, okwenyigira mu kubuulira, okulabirira ab’omu maka, n’okubeerawo mu nkuŋŋaana. (Zab. 1:1, 2; Bar. 10:13, 14; 1 Tim. 5:8; Beb. 10:24, 25) Eby’okukola ebirala ng’okugolola ku binywa n’okwesanyusaamu bya mugaso. (Mak. 6:31; 1 Tim. 4:8) Naye ebintu ng’ebyo ebitali bikulu nnyo birina okuteekebwa mu kifo kyabyo.
4 Ow’oluganda omu yasalawo okukulembeza eby’Obwakabaka ng’ayingira mu buweereza obw’ekiseera kyonna mu kifo ky’okufuna obuyigirize obwa waggulu asobole okufuna omulimu omulungi. Yayiga olulimi olulala era n’agenda okuweereza mu kitundu awali obwetaavu obusingako. Yagamba nti: “Nnina essanyu lya nsusso okubeera wano. Okubuulira kunzizzaamu nnyo amaanyi! Nga kyandibadde kirungi singa buli muvubuka akola bw’ati n’afuna ku ssanyu nga lye nnina. Tewali kisinga kuweereza Yakuwa nga tukozesa buli kye tulina.” Yee, okukulembeza eby’Obwakabaka kivaamu emikisa, naye ekisinga byonna, kisanyusa Kitaffe ow’omu ggulu Yakuwa.—Beb. 6:10.